Okuva 26 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 26:1-37

Eweema ya Mukama

1“Onookola Weema n’emitanda gy’entimbe kkumi, nga girukiddwa mu wuzi eza linena omulebevu alangiddwa n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu. Omutunzi ow’amagezi ennyo akoleremu bakerubi. 2Emitanda gy’entimbe gyonna gijja kwenkanankana: obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana. 3Emitanda gy’entimbe etaano onoogigatta wamu, ng’ogisengese gumu ku gunnaagwo, era ne ginnaagyo ettaano ogikole bw’otyo. 4Otunge eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe ettaano, era okole bw’otyo ne ku ŋŋango ekomererayo mu kitundu ekyokubiri. 5Otunge eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gw’entimbe ogumu, n’eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe mu kitundu ekikomererayo, eŋŋango ezo nga zoolekaganye. 6Okole ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, okwase wamu emitanda gy’entimbe gyombi n’ebikwaso ebyo, olwo Eweema ya Mukama ebeere wamu nga nnamba.

Eby’okussa mu Weema

7“Okole entimbe kkumi na lumu nga zilukiddwa mu bwoya bw’embuzi, ozibikke ku Weema. 8Entimbe zonna ekkumi n’olumu zijja kwenkanankana obunene: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana. 9Ogatte entimbe ttaano wamu, n’entimbe omukaaga ozigatte wamu. Olutimbe olw’omukaaga oluwetemu mu maaso g’Eweema. 10Ojja kutunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ky’entimbe ekimu, ne ku mukugiro gw’olutimbe olukomererayo mu kitundu ekyokubiri. 11Okole ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, obiyise mu ŋŋango, bikwate ekibikka ku Weema, ebeere wamu nga nnamba. 12Ekitundu ky’entimbe ekisigaddewo ku masuuka g’ebibikka ku Weema kijja kuleebeetera emabega wa Weema. 13Entimbe z’ekibikka ku Weema mu mbiriizi zombi ziyise Eweema ya Mukama kitundu kya mita emu mu buwanvu. Ebitundu bino byombi bijja kuleebeetera mu mbiriizi zombi eza Weema nga bigibisse. 1426:14 Kuv 36:19; Kbl 4:25Ekibikka ku Weema okikolereko ekibikkako eky’amaliba g’endiga nga gasiigiddwa erangi emyufu, okwo obikkeko amaliba g’ente ey’omu nnyanja.

15“Obajje embaawo mu muti gwa akasiya oziyimirize zikole omudaala gw’Eweema kweneetuula. 16Buli lubaawo lube obuwanvu mita nnya n’ekitundu, ate obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 17Buli lubaawo oluteekeko obubaawo obuyiseemu bubiri, nga butunulaganye n’embaawo zonna. Embaawo zonna ez’omudaala gw’Eweema ya Mukama ozikole bw’otyo. 18Okole embaawo amakumi abiri ozisse ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema, 19era okole entobo eza ffeeza amakumi ana, zibeere wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo. 20Ku ludda olwa bukiikakkono olw’Eweema ya Mukama okolereyo embaawo amakumi abiri, 21n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri wansi wa buli lubaawo. 22Okole embaawo mukaaga oziteeke ku ludda olw’emabega, lwe lw’ebugwanjuba bwa Weema; 23era okole embaawo bbiri ez’okussa ku nsonda ku ludda olwo. 24Ku nsonda zino ebbiri embaawo zombi ozisibe wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ozinyweze n’empeta. 25Kwe kugamba nti wajja kubeerawo embaawo zonna awamu munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga ku buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri.

26“Osale buliti mu muti gwa akasiya: buliti ttaano ez’okukozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu, 27ne buliti ttaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, ne buliti ttaano okukozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba. 28Omulabba guyite wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala. 29Embaawo ozibikkeko zaabu, era okole empeta eza zaabu ozisibise buliti; ne buliti nazo ozibikkeko zaabu. 3026:30 Kuv 25:9, 40; Bik 7:44; Beb 8:5Eweema ya Mukama onoogizimba ng’ogoberera ekifaananyi ekyakulagibwa ng’oli ku lusozi.

Eggigi

3126:31 a 2By 3:14; Mat 27:51; Beb 9:3 b Kuv 36:35“Okole eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; era omukozi omukugu atungiremu bakerubi. 32Oliwanike n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezibajjiddwa mu muti gwa akasiya nga zibikkiddwako zaabu, era nga ziyimiriziddwa mu ntobo eza ffeeza. 3326:33 a Kuv 40:3, 21; Lv 16:2 b Beb 9:2-3Eggigi olinyweze n’ebikwaso; olyoke otereeze Essanduuko ey’Endagaano munda waalyo. Eggigi liryoke lyawule Ekifo Ekitukuvu n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo.26:33 Ekifo Ekitukuvu Ennyo Kabona Asinga Obukulu yekka ye yakkirizibwanga okuyingira mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, omulundi gumu gwokka mu mwaka, era lwe lunaku olw’okutangiririrako 3426:34 Kuv 25:21; 40:20; Beb 9:5Onosse ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira ku Ssanduuko ey’Endagaano munda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo. 3526:35 a Beb 9:2 b Kuv 40:22, 24Oddire emmeeza ogisse ku ludda olwa ddyo mu kisenge ebweru w’eggigi mu Weema, n’ettaala ogisse ku ludda olwa kkono ng’eyolekedde emmeeza.

36“Okole olutimbe lw’omu mulyango gw’Eweema ya Mukama mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa omulungi; nga byonna bitungiddwa bulungi. 37Olutimbe olukolere empagi ttaano ng’ozibazze mu muti gwa akasiya, ozibikkeko zaabu, n’amalobo gaalwo gabe zaabu; ogiweeseze entobo ttaano ez’ekikomo.”