Okuva 16 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 16:1-36

Maanu n’Obukwale

116:1 Kbl 33:11, 12Awo abaana ba Isirayiri, nga kibiina kinene, ne basitula okuva mu Erimu; ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, nga baakamala emyezi ebiri n’ennaku kkumi na ttaano kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. 216:2 Kuv 14:11; 15:24; 1Ko 10:10Nga bali mu ddungu eryo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kyemulugunyiza Musa ne Alooni. 316:3 a Kuv 17:3 b Kbl 11:4, 34Abaana ba Isirayiri ne babagamba nti, “Singa twasigala mu nsi y’e Misiri, Mukama n’atuttira eyo n’omukono gwe! Kubanga eyo twalyanga sefuliya z’ennyama, n’emmere nnyingi nga bwe twayagalanga, ne tukkuta; naye kaakano mutuleese mu ddungu lino, ekibiina kino kyonna kife enjala.”

416:4 Ma 8:3; Yk 6:31*Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kubatonnyeseza emmere ng’eva mu ggulu. Abantu banaakuŋŋaanyanga buli lunaku ekitundu eky’olunaku olwo; ndyoke mbagezese ndabe obanga banaakwatanga amateeka gange, oba tebaagakwatenga. 516:5 nny 22Ku lunaku olw’omukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere ey’olunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana n’ey’ennaku bbiri.”

616:6 Kuv 6:6Awo Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isirayiri bonna nti, “Obudde nga buwungeera, we munaategeerera nga Mukama ye yabaggya mu nsi y’e Misiri: 716:7 a nny 10; Is 35:2; 40:5 b Is 35:12; Kbl 14:2, 27, 28 c Kbl 16:11ate enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde nga mumwemulugunyiza. Kubanga naffe ffe b’ani mmwe okutwemulugunyiza?” 816:8 1Sa 8:7; Bar 13:2Musa n’ayongera okubagamba nti, “Mujja kwongera okutegeera Mukama, olweggulo nga buwungeera bw’anaabawa ennyama ne mulya, ate enkya n’abawa emmere ebamala: kubanga Mukama awulidde nga mumwemulugunyiza. Naffe ffe b’ani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”

9Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Tegeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, ‘Musembere awali Mukama, kubanga awulidde okwemulungunya kwammwe!’ ”

1016:10 a nny 7; Kbl 16:19 b Kuv 13:21; 1Bk 8:10Awo olwatuuka, Alooni bwe yali ng’akyategeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batunula mu ddungu; era, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu kire. 11Mukama n’ayogera ne Musa, ng’agamba nti, 1216:12 nny 7“Mpulidde okwemulugunya kw’abaana ba Isirayiri. Bagambe nti, ‘Obudde nga buwungeera munaalya ennyama, n’enkya munakkusibwa emmere. Bwe mutyo munaategeera nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ”

1316:13 a Kbl 11:31; Zab 78:27-28; 105:40 b Kbl 11:9Obudde nga buwungeera enkwale ne zijja ne zijjula olusiisira; ne mu makya ne wabaawo omusulo ku ttaka mu lusiisira. 1416:14 nny 31; Kbl 11:7-9; Zab 105:40Omusulo nga gwamuse ng’obudde bukaze, laba, ku ttaka ne kulabikako obuntu obutono obwekulungirivu obufaanana ng’omusulo ogukutte olw’obunnyogovu obungi. 1516:15 nny 4; Yk 6:31Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, “Kiki kino?” Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, “Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya. 1616:16 nny 32, 36Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Buli muntu akuŋŋaanye gy’anaamalawo. Buli muntu ali mu weema zammwe mumukuŋŋaanyize kilo bbiri.’ ”

17Abaana ba Isirayiri ne bakola nga bwe baalagirwa; abamu ne bakuŋŋaanya nnyingi, n’abalala ntono. 1816:18 2Ko 8:15*Bwe baagipimiranga mu kabakuli aka oma, ze lita ebbiri, oyo eyali akuŋŋaanyizza ennyingi teyasukkirizanga, n’oyo ow’entono nga teyeeseera. Buli muntu yakuŋŋaanyanga ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga.

1916:19 nny 23; Kuv 12:10; 23:18Musa n’abagamba nti, “Tewabaawo omuntu n’omu agifissaako okutuusa enkeera.” 20Kyokka abamu Musa tebaamufaako; ne beeterekerako okutuusa enkeera; n’ezaala envunyu, era n’ewunya. Musa n’abasunguwalira.

21Buli nkya ne bakuŋŋaanyanga buli omu gye yayinzanga okulya nga anaagimalawo; naye akasana bwe kaayakanga nga kakazizza, n’esaanuuka.

Emmere y’oku Ssabbiiti

2216:22 a nny 5 b Kuv 34:31Awo ku lunaku olw’omukaaga ne bakuŋŋaanya emmere ya mirundi ebiri, ze kilo nnya buli muntu; abakulembeze bonna mu kibiina ne bajja ne bategeeza Musa. 2316:23 Lub 2:3; Kuv 20:8; 23:12; Lv 23:3N’abagamba nti, “Mukama yalagidde bw’ati nti, ‘Enkya lunaaba lunaku lwa kuwummula, ye Ssabbiiti ya Mukama Entukuvu. Leero mwokye emmere yammwe gye mwetaaga okwokya, era mufumbe gye mwagala okufumba; eneeba esigaddewo mugyeterekere okutuusa enkya.’ ”

24Bwe batyo ne bagyeterekera okutuusa enkeera, nga Musa bwe yabalagira; n’etewunya wadde okuzaala envunyu. 25Musa n’abagamba nti, “Eyo mugirye leero, kubanga leero ye Ssabbiiti ya Mukama, ku ttaka temujja kusangako mmere. 2616:26 Kuv 20:9-10Mu nnaku omukaaga mujjanga kugikuŋŋaanya, naye ku lunaku olw’omusanvu, olwa Ssabbiiti, emmere teebeerengawo.”

27Naye era abamu ku bantu baafuluma ku lunaku olw’omusanvu bagikuŋŋaanye, naye tebaasangayo kantu. 2816:28 2Bk 17:14; Zab 78:10; 106:13Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Mulituusa ddi nga mukyajeemera ebiragiro byange? 29Mutegeere nga Mukama abawadde Ssabbiiti; ku lunaku olw’omukaaga kyava abawa emmere ya nnaku bbiri. Buli muntu abeerenga mu maka ge nga tafulumye n’akatono ku lunaku olw’omusanvu.” 30Abantu bwe batyo ne bawummula ku lunaku olw’omusanvu.

3116:31 Kbl 11:7-9Ab’omu nnyumba ya Isirayiri, emmere eyo ne bagiyitanga maanu. Yali efaanana ng’akasigo ka koliyanda, nga njeru; ng’ewoomerera ng’obusukuuti obufumbiddwa n’omubisi gw’enjuki. 32Musa n’agamba nti, “Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Muddire akabakuli aka kilo bbiri mukajjuze maanu mugiterekere ab’emirembe egigenda okujja; balyoke balabe ku mmere gye nabaliisanga mu ddungu, bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri.’ ”

3316:33 Beb 9:4Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira akabakuli osseemu maanu ejjuza oma, ze lita bbiri, obungi, ogisse awali Mukama, eterekerwe ab’emirembe egigenda okujja.”

3416:34 Kuv 25:16, 21, 22; 40:20; Kbl 17:4, 10Bw’atyo Alooni n’ateeka maanu awali Endagaano, ekuumirwe awo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 3516:35 a Yk 6:31, 49 b Nek 9:21 c Yos 5:12Abaana ba Isirayiri ne balya maanu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi omuli abantu. Baalya maanu16:35 Baalekeraawo okugabulwa maanu ku lunaku olw’Embaga ey’Okuyitako eyasooka mu nsi y’e Kanani (Yos 5:10-12). okutuusa lwe baatuuka ku nsalo ya Kanani.

36Oma16:36 oma emu yenkanankana lita bbiri emu yenkana kimu kya kkumi ekya efa.16:36 efa emu yenkanankana lita nnya n’ekitundu

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 16:1-36

天粮

1以色列全体会众从以琳出发,来到以琳西奈中间的旷野,时值他们离开埃及后的第二个月的十五日。 2以色列全体会众在旷野向摩西亚伦发怨言说: 3“我们还不如当初在埃及就死在耶和华手中。在那里,我们至少可以围在肉锅旁吃个饱。现在,你把我们带到旷野来,是要叫全体会众饿死在这里吗?”

4耶和华对摩西说:“我要从天上降下食物给你们。百姓可以每天出去拾取他们当天所需的分量,这样我就可以试验他们是否遵行我的训诲。 5到第六天,他们要比平时多拾取一倍,好够两天的分量。” 6摩西亚伦以色列百姓说:“今天晚上你们就知道把你们从埃及领出来的是耶和华。 7明天早上,你们会看见祂的荣耀,因为祂听见了你们向祂所发的怨言。我们算什么,你们何必埋怨我们? 8耶和华听见你们发的怨言了,晚上祂必给你们肉吃,早晨再给你们饼吃。我们算什么?你们埋怨的其实不是我们,而是耶和华。” 9摩西亚伦说:“你去叫以色列全体会众到耶和华面前来,因为祂已听见他们的怨言。” 10亚伦以色列全体会众说话的时候,他们向旷野远望,果然看见耶和华的荣光在云彩中显现。 11耶和华对摩西说: 12“我已经听见以色列人的怨言。你告诉他们,‘到了黄昏,你们就会有肉吃,早晨就会有饼可以吃饱,这样你们就知道我是你们的上帝耶和华。’”

13到了黄昏,果然有许多鹌鹑飞来,把营地都遮盖了。到了早晨,营区四周的地上布满露水, 14露水蒸发以后,旷野便出现一层薄薄的、像白霜的东西。 15以色列人见了,不知道是何物,便彼此议论说:“这是什么?”摩西对他们说:“这就是耶和华给你们的食物。 16耶和华吩咐你们要按自己和家人的食量来拾取,每人约拾取两升。”

17于是,以色列人遵命而行,有些拾的多,有些拾的少。 18后来,他们用俄梅珥16:18 俄梅珥”,量器,约“两升”。量的时候,就发现多拾的没有剩余,少拾的也没有缺乏,刚好是每人所需要的量。 19摩西又吩咐他们说:“你们所拾取的,不可留到早晨!” 20可是,有的人不听,留了一些。到第二天早上,食物已腐烂生虫,发出恶臭,摩西就向他们发怒。 21于是,百姓每天早晨出营拾取食物,各人按着所需分量拾取,到太阳升起后,食物就融化了。 22到第六天,他们就拾取双倍的分量,也就是每人四升。会众的首领来禀告摩西23摩西对他们说:“耶和华说,‘明天是安息日,是向耶和华守的圣安息日。你们要把一切食物预备好,或烤或煮,吃剩的可以留到明天。’” 24百姓就照摩西的吩咐,把吃剩的食物留到第二天早晨,食物没有发臭生虫。 25摩西对他们说:“你们今天就吃这些吧,因为今天是耶和华的安息日,地上不会有食物让你们拾取。 26你们有六天可以拾取食物,但第七天是安息日,没有食物可以拾取。” 27到了第七天早晨,有些人仍然出去要拾取食物,结果什么也找不到。 28耶和华对摩西说:“你们到什么时候才肯遵行我的诫命和吩咐呢? 29要知道,耶和华已将安息日赐给你们,所以第六天我会赐你们双倍的食物。第七天,人人都要留在营中,不许外出。” 30于是,百姓在第七天休息。

31以色列人称这种食物为吗哪,它形状像芫荽的种子,白色,味道像用蜜糖制成的薄饼。 32摩西说:“以下是耶和华的吩咐,‘把两升的吗哪存留起来,直到世世代代,以便你们的子子孙孙可以看见上帝带你们离开埃及时在旷野赐给你们的食物。’” 33于是,摩西吩咐亚伦:“拿个罐子盛满两升的吗哪,放在耶和华面前,留到世世代代。” 34亚伦便照耶和华给摩西的吩咐,把吗哪放在约柜前保存起来。 35以色列百姓就在旷野吃了四十年的吗哪,直到他们到达有人烟的迦南为止。 36一俄梅珥等于十分之一伊法。