Okubikkulirwa 9 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 9:1-21

19:1 a Kub 8:10 b nny 2, 11; Luk 8:31Awo malayika owookutaano n’afuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ng’eva mu ggulu ng’egwa ku nsi era n’eweebwa ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma. 29:2 a Lub 19:28; Kuv 19:18 b Yo 2:2, 10Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ng’oguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olw’omukka ogw’omu bunnya. 39:3 a Kuv 10:12-15 b nny 5, 10Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ng’enjaba ez’obusagwa. 49:4 a Kub 6:6 b Kub 8:7 c Kub 7:2, 3Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe. 59:5 a nny 10 b nny 3Tezaagambibwa kubatta wabula okubabonyaabonya okumala emyezi etaano nga zibaluma bulumi, ng’obulumi bwazo buli ng’obuva mu kubojjebwa enjaba ez’obusagwa. 6Mu biro ebyo abantu balyagala okwetta naye tekirisoboka kubanga okufa kuliba kubeesamba; balyegomba okufa naye kwo, nga kubadduka buddusi!

7Enzige zino zaali zifaanana ng’embalaasi ezitegekeddwa okugenda ku lutalo okulwana, ne ku mitwe gyazo nga kuli ng’okutikkiddwa engule za zaabu ate ebyenyi byazo nga biri ng’eby’abantu. 8Obwoya bwazo nga buli ng’enviiri z’abakazi, ate go amannyo gaazo gaali ng’ag’empologoma. 99:9 Yo 2:5Zaali zambadde eby’omu bifuba ebiri ng’eby’ebyuma, nga n’ebiwaawaatiro byazo biwuluguma ng’eddoboozi lya nnamuziga w’amagaali, ag’embalaasi ennyingi nga zifubutuka okulaga mu lutalo. 109:10 nny 3, 5, 19Zaalina emikira egibojja ng’egy’enjaba ez’obusagwa. N’obuyinza bwazo obw’okubonyaabonya obwaziweebwa obw’emyezi etaano bwali mu mikira omwo. 119:11 nny 1, 2Kabaka waazo ye malayika ow’obunnya obutakoma, erinnya lye mu Lwebbulaniya ye Abadoni9:11 Abadoni kitegeeza muzikiriza ate mu Luyonaani ye Apolwoni.9:11 Apolwoni kitegeeza nnamuzisa

129:12 Kub 8:13Eky’entiisa ekisooka ne kiyita, naye ng’ekyaliyo bya mirundi ebiri ebijja!

139:13 a Kuv 30:1-3 b Kub 8:3Awo malayika ow’omukaaga n’afuuwa ekkondeere lye, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda, 149:14 Kub 16:12nga ligamba malayika oyo ow’omukaaga nti, “Sumulula bamalayika abana abaasibirwa ku mugga omunene Fulaati.” 159:15 nny 18Bamalayika abana abaali basibiddwa nga balindirira omwaka n’omwezi ogwo, n’olunaku olwo, n’essaawa eyo, ne basumululwa okutta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu. 169:16 Kub 5:11; 7:4Ne mpulira omuwendo ogw’eggye ery’abaserikale nga bali obukadde ebikumi bibiri.

179:17 a Kub 11:5 b nny 18Ne ndaba mu kwolesebwa, ng’embalaasi n’abaali bazeebagadde nga bambadde eby’omu bifuba ebimyufu, era mwalimu n’abambadde ebya bbululu n’ebya kyenvu. Emitwe gy’embalaasi gyali gifaanana ng’egy’empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muvaamu omuliro n’omukka ne salufa. 189:18 a nny 15 b nny 17Ebibonyoobonyo ebyo ebisatu: Omukka n’omuliro n’obuganga ebyava mu bumwa bwazo ne bitta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu. 19Amaanyi gaazo ag’okutta tegaali mu bumwa bwazo mwokka, naye gaali ne mu mikira gyazo, kubanga emikira egyo gyali ng’emitwe gy’emisota, nga gye zibojjesa.

209:20 a Ma 31:29 b 1Ko 10:20 c Zab 115:4-7; 135:15-17; Dan 5:23Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lw’ebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’eby’ebikomo, n’eby’amayinja n’omuti, ebitalaba yadde okuwulira so n’okutambula tebitambula. 219:21 a Kub 2:21 b Kub 18:23 c Kub 17:2, 5Era tebeenenya butemu bwabwe, wadde obulogo, wadde obwenzi, wadde obubbi bye baakolanga.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

启示录 9:1-21

1第五位天使吹号的时候,我见有一颗星从天上坠落到地上,有无底坑的钥匙赐给它。 2它打开无底坑时,浓烟从坑里冒出来,好像大火炉的烟一样,太阳和天空都变得昏暗了。 3有蝗虫从烟里飞出来,落到地上,有地上蝎子的能力赐给它们。 4它们得到命令,不得毁坏地上的青草、树木和其他植物,只伤害额上没有上帝印记的人, 5但不可杀死他们,只折磨他们五个月。那种折磨就像被蝎子蛰到一样。 6那时候,人求死,却求不到;想死,死却躲避他们。

7那些蝗虫好像预备出征的战马一样,头上好像戴了金冠,面孔好像人脸, 8毛发好像女人的头发,牙齿好像狮子的牙, 9胸前有甲,如同铁甲,鼓动翅膀时声音如同千军万马奔赴战场。 10它们像蝎子一样尾巴上有毒钩,可以折磨人五个月。 11它们的王是无底坑的天使,希伯来文名叫亚巴顿希腊文名叫亚玻伦,意思是“毁灭者”。

12第一样灾祸过去了,另外两样接踵而来。

13第六位天使吹号的时候,我听见有一个声音从上帝面前的金祭坛的四个角发出来, 14对刚才吹号的第六位天使说:“将那捆绑在幼发拉底河的四个天使放出来!” 15那四个天使就被释放了,他们为了此年、此月、此日、此刻已经预备好了,要杀掉人类的三分之一。 16我听见他们共有二亿兵马。 17我在异象中看见了马和骑士。骑士胸甲的颜色像火焰、紫玛瑙和硫磺。马的头像狮子的头,口中喷出火、烟和硫磺。 18马口中喷出的这三样灾害杀死了世上三分之一的人口。 19这些马的杀伤力不只在口,也在尾巴。它们的尾巴像蛇,有头能咬伤人。

20其余没有被这些灾害所杀的人仍不肯悔改、停止手中的恶行,还是去拜魔鬼和那些用金、银、铜、石、木所造,不能看、不能听、不能行走的偶像。 21他们不肯为自己所犯的凶杀、邪术、淫乱和偷盗悔改。