Okubala 15 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okubala 15:1-41

Amateeka ku Biweebwayo

1Mukama Katonda n’agamba Musa 215:2 Lv 23:10ayogere n’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Bwe mutuukanga mu nsi gye mbawadde, mwe munaabeeranga, nga ge maka gammwe, 315:3 a Lv 1:2 b nny 24; Lub 8:21; Kuv 29:18 c Kbl 28:19, 27 d Lv 22:18, 21; Ezr 1:4 e Lv 23:1-44ne muleetera Mukama Katonda ebiweebwayo ebyokye nga mubiggya mu biraalo byammwe oba mu bisibo byammwe, ekiweebwayo ku muliro oba ssaddaaka enjokye, okutuukiriza obweyamo bwammwe oba ebiweebwayo olw’okweyagalira oba ku mbaga zammwe entongole, ne muvaamu akawoowo akasanyusa Mukama; 415:4 Lv 2:1; 6:14kale nno oyo anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi, nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza nga obutundu mwenda obwa Ini15:4 Ini ze lita nnya ey’amafuta ag’omuzeeyituuni. 515:5 Kbl 28:7, 14Ku buli mwana gwa ndiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa oba ogwa ssaddaaka, munaateekerateekerangako obutundu mwenda obwa Ini ey’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa.

615:6 a Lv 5:15 b Kbl 28:12 c Ez 46:14“Bwe munaabanga muwaayo endiga ennume munaateekateekanga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu obwa Ini ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini, 7era n’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini obw’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa, eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.

815:8 Lv 1:3; 3:1“Bwe munaabanga muteekateeka ente ennume ento ey’ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda, 915:9 Lv 14:10ku nte eyo ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eweza gulaamu mukaaga n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza kilo emu n’ekitundu. 10Era munaaleetanga envinnyo eweza lita bbiri nga kye kiweebwayo ekyokunywa. Kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 11Buli nte ennume oba endiga ennume, na buli mwana gwa ndiga oba embuzi ento, zonna zinaateekebwateekebwanga mu ngeri eyo. 12Munaakolanga bwe mutyo ku buli gye munaateekateekanga nga bwe zinenkananga obungi.

1315:13 Lv 16:29“Buli nzaalwa yenna kimusaanira okugobereranga enkola eyo buli lw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro, ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 14Mu mirembe gyammwe gyonna egirijja, omugwira oba omugenyi yenna anaabeeranga mu mmwe bw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda, anaakoleranga ddala nga bwe mukola. 1515:15 nny 29; Kbl 9:14Ekibiina kyammwe kyonna kinaabeeranga n’amateeka geegamu, mmwe ge munaakwatanga era n’abagwira abali mu mmwe ge banaakwatanga; eryo linaabanga etteeka ery’enkalakkalira mu mirembe gyammwe gyonna egirijja. Mmwe nga bwe muli n’omugwira bw’atyo bw’anaabanga mu maaso ga Mukama Katonda. 1615:16 Kbl 9:14Amateeka n’ebiragiro bye munaakwatanga n’omugwira anaabeeranga mu mmwe by’anaakwatanga.”

17Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 18“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Bwe muyingiranga mu nsi mwe mbatwala, 1915:19 Yos 5:11, 12ne mulya ku mmere y’omu nsi omwo, munaaleetangako ekitundu nga kye kiweebwayo eri Mukama. 2015:20 a Kuv 34:26; Lv 23:14; Ma 26:2, 10 b Lv 2:14Munaggyanga ekitole ku mmere gye munaasookanga okusa mu gguuliro ne mukireeta nga kye kiweebwayo ekivudde mu gguuliro. 2115:21 Bar 11:16Ku mmere eyo gye munaasookerangako okusa munaaleetangako ekiweebwayo ekyo eri Mukama Katonda okuyita mu mirembe gyammwe gyonna.’ 

Ebiweebwayo olw’Ebibi Ebikolebwa mu Butagenderera

2215:22 Lv 4:2“Naye nno bwe munaalemwanga okukwata amateeka ago gonna Mukama Katonda g’awadde Musa, nga mukikoze mu butagenderera, 23amateeka ago gonna Mukama Katonda ge yalagira Musa okugabatuusaako okuva ku lunaku Mukama lwe yagamuweerako n’okweyongerayo okuyita mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja, 2415:24 a Lv 5:15 b Lv 4:14 c Lv 4:3ne mugasobya mu butagenderera n’ekibiina kyonna mu butamanya, kale nno ekibiina kyonna kinaaleetanga ekiweebwayo eky’ente ya sseddume ento emu nga kye kiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi eri Mukama Katonda, nga kuliko n’ekiweebwayo ky’emmere y’empeke n’ekyokunywa ng’etteeka bwe liragira, n’ekiweebwayo eky’embuzi ennume emu olw’ekibi. 2515:25 Lv 4:20; Bar 3:25; Beb 2:17Kabona anaatangiririranga ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, era bwe batyo banaasonyiyibwanga; kubanga baasobya mu butagenderera, ate banaabanga baleese ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa ku muliro, era n’ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’ekibi olw’ekisobyo kyabwe ekitaali kigenderere. 2615:26 nny 24Ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, bwe batyo banaasonyiyibwanga, n’abagwira abanaabeeranga mu bo nabo banaasonyiyibwanga, kubanga abantu bonna banaabanga basoberezza wamu nga tebagenderedde.

2715:27 Lv 4:27“Naye omuntu bw’anaasobyanga ng’ali bw’omu mu butagenderera, anaaleetanga embuzi enduusi ey’omwaka gumu ogw’obukulu nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 2815:28 Lv 4:35Kabona anaatangiririranga, eri Mukama, omuntu oyo asobezza mu butagenderera; bw’anaamalanga okutangiririrwa, anaasonyiyibwanga. 29Munaabeeranga n’etteeka lye limu erinaakozesebwanga ku muntu yenna anaasobyanga nga tagenderedde, bw’anaabanga enzaalwa oba ne bw’anaabanga omugwira bulijjo abeera mu mmwe.

3015:30 a Kbl 14:40-44; Ma 1:43; 17:13; Zab 19:13 b nny 14“Naye buli muntu anaakolanga ekibi mu bugenderevu, bw’anaabanga enzaalwa ne bw’anaabeeranga omugwira abeera mu mmwe, omuntu oyo anaabanga avvodde Mukama Katonda, noolwekyo anaagobwanga mu bantu be, ne bamwesalirako ddala. 3115:31 a 2Sa 12:9; Zab 119:126; Nge 13:13 b Lv 5:1; Ez 18:20Olwokubanga anaabanga anyoomye ekigambo kya Mukama Katonda, n’amenya etteeka lye, omuntu oyo anaagoberwanga ddala okuva mu bantu be, ne bamwesalirako ddala, era ekibi kye ekyo kinaasigalanga ku mutwe gwe.”

Amenya Etteeka lya Ssabbiiti Anattibwanga

3215:32 Kuv 31:14, 15; 35:2, 3Abaana ba Isirayiri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basisinkana omusajja omu ku b’omu kibiina ky’Abayisirayiri eyali atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti. 33Abo abaamusanga ng’atyaba enku ne bamuleeta eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna, 3415:34 Kbl 9:8ne bamuggalira mu kkomera, kubanga baali tebamanyi bulungi kya kumukolera. 3515:35 a Kuv 31:14, 15; Ma 21:21 b Lv 20:2; 24:14; Bik 7:58Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Omusajja oyo ateekwa kuttibwa. Ekibiina kyonna kimukubire amayinja ebweru w’olusiisira.” 36Ekibiina kyonna ne kimufulumya wabweru w’olusiisira ne kimukuba amayinja n’afa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Amatanvuuwa ag’Okujuukirirangako

37Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 3815:38 Ma 22:12; Mat 23:5“Yogera eri abaana ba Isirayiri obalagire beekolere amatanvuuwa bagatungenga ku nkugiro z’ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era ku buli ttanvuuwa batungengako akaguwa aka bbululu. 3915:39 Ma 4:23; 6:12; Zab 73:27Amatanvuuwa ago munaagatunulangako, ekyo ne kibajjukiza amateeka ga Mukama Katonda gonna ge musaanira okugonderanga, mulyoke mugagobererenga mulemenga okweyonoonyesa nga mukola ebyo ebitaliimu nsa byokka nga bye bisanyusa amaaso gammwe n’emitima gyammwe. 4015:40 Lv 11:44; Bar 12:1; Bak 1:22; 1Pe 1:15Bwe mutyo munajjukiranga amateeka gange ne mubeera batukuvu eri Katonda wammwe. 41Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri, okubeeranga Katonda wammwe; Nze Mukama Katonda wammwe.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

民数记 15:1-41

献祭的条例

1耶和华对摩西说: 2“你把以下条例告诉以色列人。

“你们进入耶和华赐给你们的那片土地后, 3要用牛羊作火祭献给耶和华,作蒙耶和华悦纳的馨香之祭。不管是献燔祭、平安祭、还愿祭、自愿献的祭还是节期的祭,都当如此。 4献祭者要同时将一公斤细面粉调上一升油作素祭献给耶和华。 5无论燔祭还是平安祭,每献一只羊羔,要同时献上一升酒作奠祭; 6每献一只公绵羊,要同时将两公斤细面粉调上一点二升油作素祭献上, 7还要献一点二升酒作奠祭。这是蒙耶和华悦纳的馨香之祭。 8如果用公牛作燔祭、平安祭、还愿祭或别的祭献给耶和华, 9就要同时将三公斤细面粉调上两升油作素祭献上, 10还要献上两升酒作奠祭。这是蒙耶和华悦纳的馨香之祭。

11“献公牛、公绵羊、绵羊羔或山羊羔时,都要这样办理。 12无论献多少牲畜,每只都要这样办理。 13以色列人献上蒙耶和华悦纳的馨香火祭时,都要这样办理。 14住在你们中间的外族人,不管是暂住还是世代居住的,若愿意献上蒙耶和华悦纳的馨香火祭,也要这样办理。 15以色列人和寄居的外族人都要遵守上面的条例,永世不变。你们在耶和华面前怎样做,外族人也要怎样做。 16你们和寄居的外族人要遵行一样的条例和规定。”

17耶和华对摩西说: 18“你把以下条例告诉以色列人。

“你们到达耶和华领你们去的地方, 19吃当地的出产时,要拿出一份作举祭献给耶和华。 20你们要用初熟的麦子磨面做饼,当作举祭献上,好像献麦场的举祭一样。 21你们世世代代都要用初熟的麦子磨面,当作举祭献给耶和华。

22“如果你们无意间违背了耶和华借摩西吩咐你们遵守的命令, 23就是吩咐你们从祂颁布之日起要世世代代遵守的命令, 24如果是因会众的无知而造成过失,全体会众就要献上一头公牛犊作燔祭,作蒙耶和华悦纳的馨香之祭,同时按规定献上素祭和奠祭,外加一只公山羊作赎罪祭。 25祭司要为以色列全体会众赎罪,这样他们就得到了赦免,因为是无心之过,并且他们已经向耶和华献上火祭和赎罪祭。 26这样,以色列全体会众和寄居的外族人都必蒙赦免,因为无心之过牵涉到所有的人。

27“倘若是个人无意间犯了罪,他就要献上一只一岁的母山羊作赎罪祭。 28祭司要为这无意间犯罪的人在耶和华面前赎罪,使他获得赦免。 29无论是以色列人或是寄居的外族人,凡是犯无心之过的都要按这规例办理。 30但不管是以色列人还是外族人,若故意妄为,亵渎了耶和华,都要被铲除, 31因为他藐视耶和华的话,违背耶和华的命令,必须被铲除,罪责自负。”

处死违犯安息日者

32以色列人在旷野的时候,发现有人在安息日捡柴, 33他们就把捡柴的人带到摩西亚伦和全体会众那里, 34把他关起来,因为不知道如何处置他。 35耶和华对摩西说:“必须处死那人,全体会众要在营外用石头打死他。” 36于是,全体会众照耶和华对摩西的吩咐,把他拉到营外,用石头打死了他。

衣服穗子的条例

37耶和华对摩西说: 38“你要吩咐以色列人世世代代在衣角缝上穗子,穗子上系一条蓝色细带。 39穗子是用来提醒他们要遵行我的一切命令,不要随从自己心中和眼目的情欲,以免玷污自己。 40这样,你们就会记得遵守我的一切命令,做你们上帝的圣洁之民。 41我是你们的上帝耶和华,我把你们从埃及领出来,是要做你们的上帝。我是你们的上帝耶和华。”