Okubala 10 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

Okubala 10:1-36

Amakondeere Aga Ffeeza

1Mukama n’agamba Musa nti, 210:2 a Nek 12:35; Zab 47:5 b Yer 4:5, 19; 6:1; Kos 5:8; Yo 2:1, 15; Am 3:6“Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era n’okubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe. 3Amakondeere gombi bwe ganaafuuyibwanga, ekibiina ky’abantu bonna banaakuŋŋaaniranga w’oli ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 410:4 Kuv 18:21; Kbl 1:16; 7:2Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu b’ebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga w’oli. 510:5 nny 14Amakondeere ag’omwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olw’ebuvanjuba binaasitulanga okutambula. 610:6 nny 18Ate bwe banaafuuwanga ag’omwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere ag’omwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti basitule batambule. 710:7 a Ez 33:3; Yo 2:1 b 1Ko 14:8Naye bwe kineetaagisanga okukuba olukuŋŋaana, onoofuuwanga amakondeere naye tegaabenga ga mwanguka.

810:8 Kbl 31:6“Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja. 910:9 a Bal 2:18; 6:9; 1Sa 10:18; Zab 106:42 b Lub 8:1 c Zab 106:4Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe. 1010:10 a Zab 81:3 b Lv 23:24Mu biseera eby’essanyu, ne ku mbaga zammwe entongole ne ku mbaga z’omwezi ogwakaboneka, munaafuuwanga amakondeere nga bwe muwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe, era binaabanga bijjukizo byammwe awali Mukama Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”

Okuva mu Sinaayi

1110:11 a Kuv 40:17 b Kbl 9:17Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. 1310:13 Ma 1:6Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.

1410:14 a Kbl 2:3-9 b Kbl 1:7Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe. 15Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali, 16ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni. 1710:17 Kbl 4:21-32Eweema ya Mukama n’esimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula.

1810:18 Kbl 2:10-16Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 19Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni, 20ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi. 2110:21 a Kbl 4:20 b nny 17Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ng’emala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka.

2210:22 Kbl 2:24Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo. 23Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase; 24ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini.

2510:25 Kbl 2:31; Yos 6:9Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo. 26Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri; 27ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali. 28Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.

2910:29 a Bal 4:11 b Kuv 2:18 c Kuv 3:1 d Lub 12:7Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”

3010:30 Mat 21:29Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”

3110:31 Yob 29:15Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe. 3210:32 a Ma 10:18 b Zab 22:27-31; 67:5-7Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.”

Essanduuko ey’Endagaano, n’Ekire Ekikulemberamu

3310:33 a nny 12; Ma 1:33 b Yos 3:3Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. 3410:34 Kbl 9:15-23Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.

3510:35 a Zab 68:1 b Ma 7:10; 32:41; Zab 68:2; Is 17:12-14Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti,

“Golokoka, Ayi Mukama!

Abalabe bo basaasaane;

amaggye agakulwanyisa gakudduke.”

3610:36 a Is 63:17 b Ma 1:10Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti,

“Komawo, Ayi Mukama,

eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”

New International Version

Numbers 10:1-36

The Silver Trumpets

1The Lord said to Moses: 2“Make two trumpets of hammered silver, and use them for calling the community together and for having the camps set out. 3When both are sounded, the whole community is to assemble before you at the entrance to the tent of meeting. 4If only one is sounded, the leaders—the heads of the clans of Israel—are to assemble before you. 5When a trumpet blast is sounded, the tribes camping on the east are to set out. 6At the sounding of a second blast, the camps on the south are to set out. The blast will be the signal for setting out. 7To gather the assembly, blow the trumpets, but not with the signal for setting out.

8“The sons of Aaron, the priests, are to blow the trumpets. This is to be a lasting ordinance for you and the generations to come. 9When you go into battle in your own land against an enemy who is oppressing you, sound a blast on the trumpets. Then you will be remembered by the Lord your God and rescued from your enemies. 10Also at your times of rejoicing—your appointed festivals and New Moon feasts—you are to sound the trumpets over your burnt offerings and fellowship offerings, and they will be a memorial for you before your God. I am the Lord your God.”

The Israelites Leave Sinai

11On the twentieth day of the second month of the second year, the cloud lifted from above the tabernacle of the covenant law. 12Then the Israelites set out from the Desert of Sinai and traveled from place to place until the cloud came to rest in the Desert of Paran. 13They set out, this first time, at the Lord’s command through Moses.

14The divisions of the camp of Judah went first, under their standard. Nahshon son of Amminadab was in command. 15Nethanel son of Zuar was over the division of the tribe of Issachar, 16and Eliab son of Helon was over the division of the tribe of Zebulun. 17Then the tabernacle was taken down, and the Gershonites and Merarites, who carried it, set out.

18The divisions of the camp of Reuben went next, under their standard. Elizur son of Shedeur was in command. 19Shelumiel son of Zurishaddai was over the division of the tribe of Simeon, 20and Eliasaph son of Deuel was over the division of the tribe of Gad. 21Then the Kohathites set out, carrying the holy things. The tabernacle was to be set up before they arrived.

22The divisions of the camp of Ephraim went next, under their standard. Elishama son of Ammihud was in command. 23Gamaliel son of Pedahzur was over the division of the tribe of Manasseh, 24and Abidan son of Gideoni was over the division of the tribe of Benjamin.

25Finally, as the rear guard for all the units, the divisions of the camp of Dan set out under their standard. Ahiezer son of Ammishaddai was in command. 26Pagiel son of Okran was over the division of the tribe of Asher, 27and Ahira son of Enan was over the division of the tribe of Naphtali. 28This was the order of march for the Israelite divisions as they set out.

29Now Moses said to Hobab son of Reuel the Midianite, Moses’ father-in-law, “We are setting out for the place about which the Lord said, ‘I will give it to you.’ Come with us and we will treat you well, for the Lord has promised good things to Israel.”

30He answered, “No, I will not go; I am going back to my own land and my own people.”

31But Moses said, “Please do not leave us. You know where we should camp in the wilderness, and you can be our eyes. 32If you come with us, we will share with you whatever good things the Lord gives us.”

33So they set out from the mountain of the Lord and traveled for three days. The ark of the covenant of the Lord went before them during those three days to find them a place to rest. 34The cloud of the Lord was over them by day when they set out from the camp.

35Whenever the ark set out, Moses said,

“Rise up, Lord!

May your enemies be scattered;

may your foes flee before you.”

36Whenever it came to rest, he said,

“Return, Lord,

to the countless thousands of Israel.”