Nekkemiya 7 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 7:1-73

17:1 a 1By 9:27; 26:12-19; Nek 6:1, 15 b Zab 68:25 c Nek 8:9Bbugwe bwe yaggwa okuzimba nga n’enzigi ziwangiddwamu, abakuumi ba wankaaki, n’abayimbi, n’Abaleevi nga bamaze okulondebwa, 27:2 a Nek 1:2 b Nek 10:23 c Nek 2:8 d 1Bk 18:3ne ndyoka nonda muganda wange Kanani awamu ne Kananiya omuduumizi w’ekigo okuvunaanyizibwanga Yerusaalemi, kubanga Kananiya yali yeesigika, ate ng’atya Katonda okusinga abantu abalala bangi. 3Ne mbagamba nti, “Emiryango gya Yerusaalemi tegiteekwa kuggulwawo okutuusa ng’omusana tegunnakaalama nnyo. Abakuumi nga bakyali ku miryango, muggaleewo muginywereze ddala. Mu batuuze ba Yerusaalemi, mulondemu abanaakuumanga, abamu ku bo bakuumenga mu mpalo n’abalala bakuumenga ebifo ebiriraanye ennyumba zaabwe.”

Amannya g’Abaawaŋŋangusibwa Abaakomawo

47:4 Nek 11:1Ekibuga kyali kinene era nga kigazi naye abantu abaakibeerangamu nga batono, nga n’ennyumba tezinnaddaabirizibwa. 5Awo Katonda wange nannumiriza, okuyita abakungu n’abakulembeze, n’abantu abaabulijjo okujja okwewandiisa ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali. Ne ndaba ekitabo ekyalimu ennyiriri zaabo abaasooka okudda, ne nsangamu amannya gano:

67:6 2By 36:20; Ezr 2:1-70; Nek 1:2Bano be bantu ab’omu ssaza abaava mu buwaŋŋanguse abaali banyagiddwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni; ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe. 77:7 1By 3:19; Ezr 2:2Bajja ne Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya, ne Azaliya, ne Laamiya, ne Nakamani, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misuperesi, ne Biguvaayi, ne Nekumu ne Baana.

Gano ge mannya g’Abasajja ba Isirayiri:

8bazzukulu ba Palosi baali enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),

9bazzukulu ba Sefatiya baali bisatu mu nsavu mu babiri (372),

10bazzukulu ba Ala baali lukaaga mu ataano mu babiri (652),

11bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali ab’olunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana (2,818),

12bazzukulu ba Eramu baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),

13bazzukulu ba Zattu baali lunaana mu ana mu bataano (845),

14bazzukulu ba Zakkayi baali lusanvu mu nkaaga (760),

15bazzukulu ba Binnuyi baali lukaaga mu ana mu munaana (648),

16bazzukulu ba Bebayi baali lukaaga mu abiri mu munaana (628),

17bazzukulu ba Azugaadi baali enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322),

18bazzukulu ba Adonikamu baali lukaaga mu nkaaga mu musanvu (667),

19bazzukulu ba Biguvaayi baali enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067),

207:20 Ezr 8:6bazzukulu ba Adini baali lukaaga mu ataano mu bataano (655),

21bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya baali kyenda mu munaana (98),

22bazzukulu ba Kasumu baali bisatu mu abiri mu munaana (328),

23bazzukulu ba Bezayi baali bisatu mu abiri mu bana (324),

24bazzukulu ba Kalifu baali kikumi mu kumi na babiri (112),

25bazzukulu ba Gibyoni baali kyenda mu bataano (95).

267:26 2Sa 23:28; 1By 2:54Abaava e Besirekemu n’e Netofa baali kikumi mu kinaana mu munaana (188),

277:27 Yos 21:18ab’e Anasosi baali kikumi mu abiri mu munaana (128),

28ab’e Besuwazumavesi baali amakumi ana mu babiri (42),

297:29 a Yos 18:26 b Yos 18:25ab’e Kiriyasuyalimu, n’e Kefira n’e Beerosi baali lusanvu mu ana mu basatu (743),

30ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),

31ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),

327:32 Lub 12:8ab’e Beseri n’e Ayi baali kikumi mu abiri mu basatu (123),

33ab’e Nebo ekyokubiri baali amakumi ataano mu babiri (52),

34ab’e Eramu ekyokubiri baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),

35ab’e Kalimu baali bisatu mu abiri (320),

367:36 Nek 3:2ab’e Yeriko baali bisatu mu ana mu bataano (345),

377:37 1By 8:12ab’e Loodi, n’e Kadidi ne Ono baali lusanvu mu abiri mu omu (721),

38n’ab’e Sena baali enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930).

39Bano be bakabona:

bazzukulu ba Yedaya ow’olunnyiriri lwa Yesuwa baali lwenda mu nsavu mu basatu (973),

40bazzukulu ba Immeri baali lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),

41bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247),

42ne bazzukulu ba Kalimu baali lukumi mu kumi na musanvu (1,017).

43Ne bano be Baleevi:

bazzukulu ba Yesuwa ow’olunnyiriri lwa Kadumyeri mu nda ya Kodeva baali nsavu mu bana (74).

447:44 Nek 11:23Abayimbi:

bazzukulu ba Asafu baali kikumi mu amakumi ana mu munaana (148).

457:45 1By 9:17Abaakuumanga wankaaki baali:

bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana (138).

467:46 Nek 3:26Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano:

bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,

47bazzukulu ba Keriso, bazzukulu ba Siya, bazzukulu ba Padoni,

48bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Samulaayi,

49bazzukulu ba Kanani, bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali,

50bazzukulu ba Leyaya, bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda,

51bazzukulu ba Gazzamu, bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya,

52bazzukulu ba Besayi, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,

53bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,

54bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,

55bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,

56bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.

57Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani be bano:

bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Soferesi, bazzukulu ba Perida,

58bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,

59bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri,

bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Amoni.

607:60 1By 9:2Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali bisatu mu kyenda mu babiri (392).

61Bano wammanga be baava mu bibuga eby’e Temmeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddoni, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga lulyo lwabwe newaakubadde ensibuko gye baava, nti Bayisirayiri:

62bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda baali lukaaga mu amakumi ana mu babiri (642).

63Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya,

bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi, eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, era n’atuumibwa erinnya eryo.

64Abo waggulu ne banoonya amannya gaabwe mu biwandiiko naye nga tegaliimu, kyebaava baziyizibwa okubeera bakabona nga bayitibwa abatali balongoofu. 657:65 Kuv 28:30; Nek 8:9Era owessaza n’abagaana okulya ku bintu ebitukuvu, okutuusa nga kabona alina Ulimu ne Sumimu azze.

66Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360), 67obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano (245). 68Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245), 69n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).

70Abamu ku bakulu b’obusolya baawaayo ensimbi okukola omulimu. Gavana n’awaayo, kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebbensani amakumi ataano (50), n’ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu (530) mu ggwanika. 717:71 1By 29:7Abamu ku bakulu b’obusolya ne baawaayo kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’obutundu bubiri obwa ffeeza mu ggwanika, olw’omulimu ogwali gukolebwa. 727:72 Kuv 25:2Omuwendo gwonna awamu ogwawebwayo abantu abalala gwali kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’akatundu kamu aka ffeeza, n’ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.

737:73 a Nek 1:10; Zab 34:22; 103:21; 113:1; 135:1 b Ezr 3:1; Nek 11:1 c Ezr 3:1Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abamu ku bantu, abaaweerezanga mu yeekaalu, ne Isirayiri yenna, ne batereera mu bibuga byabwe.

Ezera Asoma Etteeka

Awo mu mwezi ogw’omusanvu,

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

尼希米记 7:1-73

1城墙建完、门扇安好、歌乐手和利未人都已指派妥当后, 2我委任我的兄弟哈拿尼和城堡官员哈拿尼雅治理耶路撒冷,因为哈拿尼雅比众人更忠心、敬畏上帝。 3我吩咐他们说:“要在太阳升高、天气变热后,才能打开耶路撒冷的城门。守卫还在值勤时要关门上闩。要指派一些耶路撒冷的居民在各自的岗位看守,一些人在自己房屋附近看守。”

流亡归来者名单

4这城很大,但人口稀少,房屋尚未重建。 5我的上帝感动我召集贵族、官员和民众,按照他们的家谱进行登记。我找到第一批回归之人的家谱,上面记着:

6巴比伦尼布甲尼撒从前把犹大省的人掳到巴比伦,这些人的子孙回到耶路撒冷犹大后,各回本城。 7他们是与所罗巴伯耶书亚尼希米亚撒利雅拉米拿哈玛尼末底改必珊米斯毗列比革瓦伊尼宏巴拿一同回来的。

8以下是回来的以色列人的数目:

巴录的子孙两千一百七十二人; 9示法提雅的子孙三百七十二人; 10亚拉的子孙六百五十二人; 11巴哈·摩押的后裔,即耶书亚约押的子孙两千八百一十八人; 12以拦的子孙一千二百五十四人; 13萨土的子孙八百四十五人; 14萨改的子孙七百六十人; 15宾内的子孙六百四十八人; 16比拜的子孙六百二十八人; 17押甲的子孙两千三百二十二人; 18亚多尼干的子孙六百六十七人; 19比革瓦伊的子孙两千零六十七人; 20亚丁的子孙六百五十五人; 21亚特的子孙,即希西迦的子孙九十八人; 22哈顺的子孙三百二十八人; 23比赛的子孙三百二十四人; 24哈拉的子孙一百一十二人; 25基遍的子孙九十五人。

26伯利恒人和尼陀法人一百八十八名; 27亚拿突人一百二十八名; 28伯·亚斯玛弗人四十二名; 29基列·耶琳人、基非拉人和比录人七百四十三名; 30拉玛人和迦巴人六百二十一名; 31默玛人一百二十二名; 32伯特利人和人一百二十三名; 33另一尼波的子孙五十二人; 34另一以拦的子孙一千二百五十四人; 35哈琳的子孙三百二十人; 36耶利哥人三百四十五名; 37罗德人、哈第人和阿挪人七百二十一名; 38西拿人三千九百三十名。

39祭司有耶大雅家,即耶书亚的子孙九百七十三人; 40音麦的子孙一千零五十二人; 41巴施户珥的子孙一千二百四十七人; 42哈琳的子孙一千零一十七人。

43利未人有何达威的后裔,即耶书亚甲篾的子孙七十四人。 44负责歌乐的有亚萨的子孙一百四十八人。 45殿门守卫有沙龙的子孙、亚特的子孙、达们的子孙、亚谷的子孙、哈底大的子孙和朔拜的子孙一百三十八人。

46殿役有西哈的子孙、哈苏巴的子孙、答巴俄的子孙、 47基绿的子孙、西亚的子孙、巴顿的子孙、 48利巴拿的子孙、哈迦巴的子孙、萨买的子孙、 49哈难的子孙、吉德的子孙、迦哈的子孙、 50利亚雅的子孙、利汛的子孙、尼哥大的子孙、 51迦散的子孙、乌撒的子孙、巴西亚的子孙、 52比赛的子孙、米乌宁的子孙、尼普心的子孙、 53巴卜的子孙、哈古巴的子孙、哈忽的子孙、 54巴洗律的子孙、米希大的子孙、哈沙的子孙、 55巴柯的子孙、西西拉的子孙、答玛的子孙、 56尼细亚的子孙和哈提法的子孙。

57所罗门仆人的后裔有琐太的子孙、琐斐列的子孙、比路大的子孙、 58雅拉的子孙、达昆的子孙、吉德的子孙、 59示法提雅的子孙、哈替的子孙、玻黑列·哈斯巴音的子孙和亚们的子孙。

60殿役和所罗门仆人的子孙共三百九十二人。

61特·米拉特·哈萨基绿押但音麦上来的人不能证明自己是以色列的后代。 62他们是第来雅的子孙、多比雅的子孙和尼哥大的子孙,共六百四十二人。

63-64祭司中哈巴雅的子孙、哈哥斯的子孙和巴西莱的子孙在谱系中找不到自己的家谱,因此他们算为不洁净,不能做祭司。巴西莱子孙的祖先娶了基列巴西莱的女儿为妻,因此得了这名字。 65省长吩咐他们不可吃至圣之物,直到使用乌陵和土明的祭司出现。

66回到犹大的人共四万二千三百六十人。 67此外,他们还有七千三百三十七名男女仆婢,二百四十五名男女歌乐手, 68七百三十六匹马,二百四十五匹骡子, 69四百三十五头骆驼和六千七百二十头驴。

70有些族长为工程捐出财物。省长捐出八点五公斤金子、五十个碗和五百三十件祭司礼服。 71族长捐出一百七十公斤金子和一千二百公斤银子。 72民众捐出一百七十公斤金子、一千一百公斤银子和六十七件祭司礼服。

73于是,祭司、利未人、殿门守卫、歌乐手、一些民众、殿役和全体以色列人都住在自己的城里。到了七月,以色列人都住在各自的城里。