Nakkumu 3 – LCB & NASV

Luganda Contemporary Bible

Nakkumu 3:1-19

Ebibi bya Nineeve

13:1 Ez 22:2; Mi 3:10Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi!

Kyonna ekijjudde eby’obulimba

n’obunyazi,

ekitaggwaamu banyagiddwa.

2Muwulire okuvuga kw’embooko,

n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali

n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga

n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!

33:3 2Bk 19:35; Is 34:3Laba eggye ery’embalaasi erirumba,

n’ebitala ebitemagana,

n’amafumu agamyansa.

Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu,

ne ntuumu ennene ez’emirambo

egitamanyiddwa muwendo;

abantu bagirinnyirira.

43:4 a Is 47:9 b Is 23:17; Ez 16:25-29Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu,

kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu,

ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo,

n’olw’obulogo bwakyo.

53:5 a Nak 2:13 b Yer 13:22 c Is 47:3“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye,

“era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo.

Ensi zonna ziriraba obwereere bwo

n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.

63:6 a Yob 9:31 b 1Sa 2:30; Yer 51:37 c Is 14:16Ndikukanyugira kazambi,

era ndikufuula ekyenyinyalwa

ne nkufuula eky’okwelolera.

73:7 a Nak 1:1 b Yer 15:5 c Is 51:19Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti,

‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’

Abalikikubagiza baliva wa?”

83:8 a Am 6:2 b Yer 46:25 c Is 19:6-9Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi

ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira

ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?

Olukomera lwakyo gwali mugga

era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.

93:9 a 2By 12:3 b Ez 27:10 c Ez 30:5Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.

Ate nga Abapuuti3:9 Abapuuti ne Abapuuli balabika nga baali bantu ba mu kitundu kye kimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.

103:10 a Is 20:4 b Is 13:16; Kos 13:16Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.

Abakungu baakyo baakubirwa obululu,

n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.

113:11 a Is 49:26 b Is 2:10Nineeve naawe olitamiira,

olyekweka

ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.

123:12 Is 28:4Ebigo byo byonna biri ng’emitiini

egiriko ebibala ebisooka okwengera;

bwe ginyeenyezebwa

ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.

133:13 a Is 19:16; Yer 50:37 b Nak 2:6 c Is 45:2Laba abalwanyi bammwe balinafuwa

ne batiitiira ng’abakazi.

Enzigi z’ensi yo

nzigule eri abalabe bo.

Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.

143:14 a 2By 32:4 b Nak 2:1Weenyweze bajja kukulumba!

Weeterekere ku mazzi g’onoonywako.

Nyweza ebisenge byo.

Noonya ettaka olisambe

oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.

153:15 Yo 1:4Omuliro gulikulya,

ekitala kirikuzikiriza.

Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime.

Mweyongere obungi ng’enseenene,

mwale ng’enzige.

16Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe

okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu.

Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi

ne ziryoka zibuuka.

173:17 Yer 51:27Abakuumi bammwe bali ng’enzige,

n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige

ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti.

Enjuba bw’evaayo zibuuka

ne ziraga etamanyiddwa.

183:18 a Zab 76:5-6 b Is 56:10 c 1Bk 22:17Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli,

n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko.

Abantu bo basaasaanira ku nsozi

nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.

193:19 a Yer 30:13; Mi 1:9 b Yob 27:23; Kgb 2:15; Zef 2:15Tewali kisobola kuwonya

kiwundu kyo ekinene bwe kityo.

Bonna abawulira ebikuguddeko

bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo.

Ani ataakosebwa

olw’ettima lyo eringi?

Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?

New Amharic Standard Version

ናሆም 3:1-19

ለነነዌ

1ለደም ከተማ ወዮላት!

ሐሰት፣ ዘረፋም ሞልቶባታል፤

ብዝበዛዋ ተግዞ አያልቅም።

2የጅራፍ ድምፅ፣

የመንኰራኵር ኳኳቴ፣

የፈጣን ፈረስ ኰቴ፣

የሠረገሎች ድምፅ ተሰምቷል።

3ፈረሰኛው ይጋልባል፤

ሰይፍ ይንቦገቦጋል፤

ጦር ያብረቀርቃል።

የሞተው ብዙ ነው፤

ሬሳ በሬሳ ሆኗል፤

ስፍር ቍጥር የለውም፤

መተላለፊያ አልተገኘም።

4ይህ ሁሉ የሆነው ቅጥ ባጣች፣

አሳሳችና መተተኛ በሆነች ዘማዊት ምክንያት ነው፤

እርሷም በዝሙቷ አሕዛብን፣

በጥንቈላዋም ሕዝቦችን ባሪያ ያደረገች ናት።

5የሰራዊት ጌታ እግዚአብሔር እንዲህ ይላል፤

“እኔ በጠላትነት ተነሥቼብሻለሁ፤

ቀሚስሽን እስከ ፊትሽ እገልበዋለሁ፤

ዕርቃንሽን ለአሕዛብ፣

ኀፍረትሽንም ለነገሥታት አሳያለሁ።

6ቈሻሻ እደፋብሻለሁ፤

እንቅሻለሁ፤

ማላገጫም አደርግሻለሁ።

7የሚያዩሽ ሁሉ ከአንቺ እየሸሹ፣

‘ነነዌ ፈራርሳለች፤ ማን ያለቅስላታል?’ ይላሉ፤

የሚያጽናናሽንስ ከወዴት አገኛለሁ?”

8አንቺ በአባይ ወንዝ አጠገብ ካለችው፣

በውሃ ከተከበበችው፣

ከኖእ አሞን3፥8 አንዳንዶች ቴብስ ይላሉ። ትበልጫለሽን?

ወንዙ መከላከያዋ፣

ውሃውም ቅጥሯ ነው።

9ኢትዮጵያና ግብፅ ወሰን የለሽ ኀይሏ ናቸው፤

ፉጥና ሊቢያም ረዳቶቿ ነበሩ።

10ይሁን እንጂ በምርኮ ተወሰደች፤

ተሰድዳም ሄደች።

በየመንገዱ ማእዘን ላይ፣

ሕፃናቷ ተፈጠፈጡ፤

በመሳፍንቷ ላይ ዕጣ ተጣለ፤

ታላላቅ ሰዎቿ ሁሉ በሰንሰለት ታሰሩ።

11አንቺ ደግሞ ትሰክሪአለሽ፤

ትደበቂአለሽ፣

ከጠላትም መሸሸጊያ ትፈልጊአለሽ።

12ምሽጎችሽ ሁሉ ሊበሉ እንደ ደረሱ

የመጀመሪያ በለስ ፍሬ ናቸው፤

በሚወዛወዙበት ጊዜ፣

ፍሬዎቹ በበላተኛው አፍ ውስጥ ይወድቃሉ።

13እነሆ፤ ጭፍሮችሽ፣

ሁሉም ሴቶች ናቸው!

የምድርሽ በሮች፣

ለጠላቶችሽ ወለል ብለው ተከፍተዋል፤

መዝጊያዎቻቸውንም እሳት በልቷቸዋል።

14ለከበባው ውሃ ቅጅ፤

መከላከያሽን አጠናክሪ፤

የሸክላውን ዐፈር ፈልጊ፤

ጭቃውን ርገጪ፤

ጡቡንም ሥሪ።

15በዚያ እሳት ይበላሻል፤

ሰይፍ ይቈርጥሻል፤

እንደ ኵብኵባም ይግጥሻል።

እንደ ኵብኵባ እርቢ፤

እንደ አንበጣም ተባዢ።

16ከሰማይ ከዋክብት እስኪበልጡ ድረስ፣

የነጋዴዎችሽን ቍጥር አበዛሽ፤

ምድሪቱን ግን እንደ አንበጣ ግጠው አሟጠጡ፤

ከዚያም በርረው ሄዱ።

17ጠባቂዎችሽ እንደ አንበጣ፣

መኳንንትሽም በብርድ ቀን

በቅጥር ሥር እንደሚቀመጥ ኵብኵባ ናቸው፤

ፀሓይ ሲወጣ ግን ይበርራሉ፤

የት እንደሚበርሩም አይታወቅም።

18የአሦር ንጉሥ ሆይ፤ እረኞችህ3፥18 ገዦች ማለት ነው። አንቀላፉ፤

መኳንንትህ ዐርፈው ተኙ፤

ሕዝብህ ሰብሳቢ ዐጥተው፣

በተራራ ላይ ተበትነዋል።

19ቍስልህን ሊፈውስ የሚችል የለም፤

ስብራትህም ለሞት የሚያደርስ ነው።

ስለ አንተ የሰማ ሁሉ፣

በውድቀትህ ደስ ብሎት ያጨበጭባል፤

ወሰን የሌለው ጭካኔህ

ያልነካው ማን አለና?