1Ddala zinsanze nze.
Ndi ng’omuntu akungula ebibala
okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu;
tewali kirimba kya mizabbibu kulyako,
wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
27:2 a Zab 12:1 b Mi 3:10 c Yer 5:26Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi;
tewali n’omu mulongoofu asigaddewo.
Bonna banoonya okuyiwa omusaayi,
buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
37:3 Nge 4:16Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi;
omufuzi asaba ebirabo,
n’omulamuzi alya enguzi,
n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala
nga basala enkwe.
47:4 a Ez 2:6 b Is 22:5; Kos 9:7Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo;
asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi.
Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse,
era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
57:5 Yer 9:4Tewesiga muntu n’omu,
wadde mukwano gwo,
newaakubadde mukazi wo,
Weegendereze by’oyogera.
67:6 a Ez 22:7 b Mat 10:35-36*Kubanga omulenzi agaya kitaawe,
n’omwana alwanyisa nnyina,
muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we.
Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.
77:7 a Zab 130:5; Is 25:9 b Zab 4:3Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi,
nnindirira Katonda Omulokozi wange;
Katonda wange anampulira.
87:8 a Nge 24:17 b Zab 37:24; Am 9:11 c Is 9:2Tonjeeyereza ggwe omulabe wange,
kubanga wadde ngudde, nnaayimuka.
Ne bwe naatuula mu kizikiza,
Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
97:9 a Kgb 3:39-40 b Is 46:13Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza,
kubanga nnyonoonye mu maaso ge,
okutuusa lw’alimpolereza,
n’anziza buggya.
Alindeeta mu kitangaala,
era ndiraba obutuukirivu bwe.
107:10 a Zab 35:26 b Is 51:23 c Zek 10:5Olwo omulabe wange alikiraba,
n’aswala,
oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti,
“Ali ludda wa Mukama Katonda wo?”
Ndisanyuka ng’agudde,
era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
117:11 Is 54:11Olunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka,
olunaku olw’okugaziya ensalo yo.
127:12 Is 19:23-25Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli
nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri,
n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati,
n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,
n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
137:13 Is 3:10-11Ensi erifuuka matongo,
olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.
Okusaba N’okutendereza
147:14 a Mi 5:4 b Zab 23:4 c Yer 50:19Lunda abantu bo n’omuggo gwo,
ekisibo kye weeroboza,
ababeera bokka mu kibira
mu malundiro amagimu.
Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.
157:15 Kuv 3:20; Zab 78:12Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri,
nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.
167:16 Is 26:11Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi,
ne gamalibwamu amaanyi.
Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe
n’amatu gaabwe ne gaziba.
177:17 Is 25:3; 49:23; 59:19Balirya enfuufu ng’omusota,
ng’ebisolo ebyewalula.
Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana
ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
187:18 a Is 43:25; Yer 50:20 b Zab 103:8-13 c Mi 2:12 d Kuv 34:9 e Zab 103:9 f Yer 32:41Katonda ki omulala ali nga ggwe,
asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
naye asanyukira okusaasira.
197:19 a Is 43:25 b Yer 31:34Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe,
n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
207:20 Ma 7:8; Luk 1:72Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo,
n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu,
nga bwe weeyama eri bajjajjaffe
okuva mu nnaku ez’edda.