Matayo 9 – LCB & TNCV

Luganda Contemporary Bible

Matayo 9:1-38

Yesu Awonya eyali Akoozimbye

19:1 Mat 4:13Awo Yesu n’asaabala mu lyato n’awunguka n’atuuka mu kibuga ky’ewaabwe, Kaperunawumu. 29:2 a Mat 4:24 b nny 22 c Yk 16:33 d Luk 7:48Amangwago ne bamuleetera omuntu eyali akoozimbye nga bamusitulidde ku katanda. Bwe yalaba okukkiriza kwabwe n’agamba omulwadde nti, “Mwana wange, guma omwoyo, nkusonyiye ebibi byo!”

39:3 Mat 26:65; Yk 10:33Naye waaliwo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne boogeraganya bokka na bokka nti, “Omuntu ono avvoola! Alowooza nti Ye Katonda!”

49:4 Zab 94:11; Mat 12:25; Luk 6:8; 9:47; 11:17Yesu n’amanya bye balowooza. N’abagamba nti, “Lwaki mubeera n’ebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe? 5Ekyo buli muntu ayinza okukyogera, kubanga kwogera bwogezi. 69:6 Mat 8:20Naye mutegeere nga Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n’agamba akoozimbye nti, “Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!” 7N’ayimirira ng’awonye, ne yeddirayo eka. 89:8 Mat 5:16; 15:31; Luk 7:16; 13:13; 17:15; 23:47; Yk 15:8; Bik 4:21; 11:18; 21:20Naye abantu abaali mu bibiina bwe baalaba ekyamagero kino ne beewuunya nnyo! Ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkaniddaawo!

Okuyitibwa kwa Matayo

9Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo n’alaba omuntu, erinnya lye Matayo, ng’atudde mu kifo we basolooleza omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Bw’atyo naye n’asitukiramu n’agoberera Yesu.

10Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku mmere mu nnyumba ya Matayo, abawooza bangi n’abantu abaali bamanyiddwa mu kitundu ekyo nti babi ne bajja ne batuula naye n’abayigirizwa be ku mmere ne balya. 119:11 Mat 11:19; Luk 5:30; 15:2; Bag 2:15Naye Abafalisaayo bwe baakiraba, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki Mukama wammwe alya n’abawooza n’abantu abalina ebibi?”

12Yesu bwe yawulira n’abaddamu nti, “Abalamu tebeetaaga musawo wabula abalwadde. 139:13 a Kos 6:6; Mi 6:6-8; Mat 12:7 b 1Ti 1:15Mugende muyige amakulu g’Ekyawandiikibwa kino nti, ‘Ssaddaaka zammwe n’ebirabo byammwe si bye neetaaga, wabula neetaaga mubeerenga ba kisa.’ Najjirira kuyita boonoonyi, so sajjirira abo abeerowooza nti batuukirivu.”

149:14 Luk 18:12Lwali lumu abayigirizwa ba Yokaana ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebasiiba nga ffe n’Abafalisaayo bwe tukola?”

159:15 a Yk 3:29 b Bik 13:2, 3; 14:23Yesu n’ababuuza nti, “Mikwano gy’omugole bayinza okunakuwala ng’omugole akyali nabo? Naye ekiseera kirituuka omugole lwalibaggibwako. Olwo nno balisiiba.

16“Tewali muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye lukadde, kubanga, ekiwero bwe kyetugga kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kigaziwa. 17Era tewali ateeka wayini musu mu nsawo ez’amaliba enkadde. Ensawo9:17 Ensawo Ensawo ezoogerebwako wano zaali z’amaliba ga mbuzi. Wayini bwe yakaatuukanga, ng’ensawo zigaziwa, kumpi kwabika. enkadde zaabika wayini n’ayiika n’ensawo ne zoonooneka. Wayini omusu bamuteeka mu nsawo z’amaliba maggya, byombi ne bitayonooneka.”

189:18 a Mat 8:2 b Mak 5:23Bwe yali ng’akyayogera nabo omufuzi n’ajja, n’amusinza n’amugamba nti, “Omwana wange omuwala anfuddeko, naye singa ojja n’omukwatako anaalamuka.” 19Yesu bwe yasituka n’abayigirizwa be okugenda mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, 209:20 Mat 14:36; Mak 3:10omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi, okumala emyaka kkumi n’ebiri, n’ajja emabega we n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kye. 21Kubanga y’agamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.”

229:22 a Mak 10:52; Luk 7:50; 17:19; 18:42 b Mat 15:28Yesu n’akyuka n’alaba omukazi n’amugamba nti, “Muwala, guma omwoyo! Owonye olw’okukkiriza kwo.” Omukazi n’awonera mu kiseera ekyo.

239:23 2By 35:25; Yer 9:17, 18Awo Yesu bwe yatuuka mu maka g’omufuzi n’asanga abafuuyi b’amakondeere n’ekibiina nga kijagaladde, 249:24 a Bik 20:10 b Yk 11:11-14n’agamba nti, “Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi.” Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza. 25Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu n’ayingira, n’akwata omukono gw’omuwala, n’agolokosa omuwala. 269:26 Mat 4:24Ebigambo ebyo ne bibuna mu kitundu ekyo kyonna.

Yesu Awonya Bamuzibe ne Bakiggala

279:27 Mat 15:22; Mak 10:47; Luk 18:38-39Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!”

28Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja w’ali. Yesu n’ababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.”

299:29 nny 22Awo n’akoma ku maaso gaabwe n’abagamba nti, “Kale, olw’okukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.” 309:30 Mat 8:4Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n’abakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna ng’abagamba nti, “Mulabe nga tewaba n’omu ategeera bibaddewo.” 319:31 nny 26; Mak 7:36Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.

329:32 a Mat 4:24 b Mat 12:22-24Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni. 339:33 Mak 2:12Yesu n’amugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala n’ayogera. Ekibiina ky’abantu ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”

349:34 Mat 12:24; Luk 11:15Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni lwa kubanga ye mukulu wa baddayimooni!” 359:35 Mat 4:23Yesu n’agenda ng’ayita mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo, ne mu byalo ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka. Era buli we yatuukanga n’awonya abalwadde n’abakoozimbye bonna. 369:36 a Mat 14:14 b Kbl 27:17; Ez 34:5, 6; Zek 10:2; Mak 6:34Awo bwe yatunuulira ekibiina ky’abantu nga bajja gy’ali, nga bakooye nnyo, era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba, n’abasaasira nnyo. 379:37 a Yk 4:35 b Luk 10:2N’agamba abayigirizwa be nti, “Eby’okukungula bingi nnyo, naye abakozi abakungula batono. 38Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye.”

Thai New Contemporary Bible

มัทธิว 9:1-38

พระเยซูทรงรักษาคนเป็นอัมพาต

(มก.2:3-12; ลก.5:18-26)

1พระเยซูจึงเสด็จลงเรือข้ามฟากไปยังเมืองของพระองค์ 2มีผู้หามคนเป็นอัมพาตซึ่งนอนอยู่บนที่นอนมาหาพระเยซู เมื่อทรงเห็นความเชื่อของพวกเขาก็ตรัสกับคนเป็นอัมพาตนั้นว่า “ลูกเอ๋ยจงชื่นใจเถิด บาปของเจ้าได้รับการอภัยแล้ว”

3พวกธรรมาจารย์บางคนได้ยินเช่นนั้นก็คิดในใจว่า “ชายคนนี้กำลังพูดหมิ่นประมาทพระเจ้า!”

4พระเยซูทรงทราบความคิดของเขาจึงตรัสว่า “เหตุใดพวกท่านจึงคิดชั่วอยู่ในใจ? 5ที่จะพูดว่า ‘บาปของท่านได้รับการอภัยแล้ว’ กับ ‘จงลุกขึ้นเดินไป’ อย่างไหนจะง่ายกว่ากัน? 6แต่ทั้งนี้ก็เพื่อให้พวกท่านรู้ว่าบุตรมนุษย์มีสิทธิอำนาจในโลกที่จะอภัยบาป” แล้วพระองค์ตรัสกับคนเป็นอัมพาตว่า “จงลุกขึ้นแบกที่นอนกลับไปบ้านเถิด” 7และชายคนนั้นก็ลุกขึ้นกลับไปบ้าน 8เมื่อฝูงชนเห็นดังนี้ก็ยำเกรงและสรรเสริญพระเจ้าผู้ประทานสิทธิอำนาจเช่นนี้แก่มนุษย์

ทรงเรียกมัทธิว

(มก.2:14-17; ลก.5:27-32)

9เมื่อพระเยซูเสด็จจากที่นั่น พระองค์ทรงเห็นชายคนหนึ่งชื่อ มัทธิวนั่งอยู่ที่ด่านเก็บภาษี จึงตรัสกับเขาว่า “จงตามเรามา” มัทธิวก็ลุกขึ้นติดตามพระองค์ไป

10ขณะพระเยซูเสวยพระกระยาหารที่บ้านของมัทธิว คนเก็บภาษีและ “คนบาป” หลายคนมาร่วมรับประทานกับพระองค์และเหล่าสาวก 11เมื่อพวกฟาริสีเห็นเช่นนั้นก็ถามสาวกของพระองค์ว่า “ทำไมอาจารย์ของท่านจึงรับประทานอาหารร่วมกับคนเก็บภาษีและ ‘คนบาป’?”

12เมื่อพระเยซูทรงได้ยินเช่นนี้จึงตรัสว่า “คนสุขภาพดีไม่ต้องการหมอ แต่คนป่วยต้องการ 13จงไปศึกษาให้เข้าใจความหมายของข้อความที่ว่า ‘เราประสงค์ความเมตตา ไม่ใช่เครื่องบูชา’9:13 ฮชย. 6:6 เพราะเราไม่ได้มาเพื่อเรียกคนชอบธรรม แต่มาเพื่อเรียกคนบาป”

ถามพระเยซูเรื่องการถืออดอาหาร

(มก.2:18-22; ลก.5:33-39)

14ฝ่ายสาวกของยอห์นมาทูลถามพระองค์ว่า “พวกข้าพระองค์กับพวกฟาริสีถืออดอาหาร แต่ทำไมสาวกของพระองค์ไม่ถืออดอาหาร?”

15พระเยซูทรงตอบว่า “จะให้แขกของเจ้าบ่าวทุกข์โศกขณะเจ้าบ่าวอยู่ด้วยได้อย่างไร? สักวันหนึ่งเจ้าบ่าวจะถูกนำตัวไปจากเขาแล้วพวกเขาจะอดอาหาร

16“ไม่มีใครเอาผ้าใหม่ที่ยังไม่หดไปปะเสื้อผ้าเก่าเพราะผ้าใหม่จะหดรั้งผ้าเก่าให้ขาดมากกว่าเดิม 17และไม่มีใครเทเหล้าองุ่นใหม่ใส่ถุงหนังเก่า ถ้าทำเช่นนั้นถุงหนังจะขาด เหล้าองุ่นจะไหลออกมาหมด และถุงหนังจะเสียหาย ไม่หรอก เขาย่อมเทเหล้าองุ่นใหม่ใส่ในถุงหนังใหม่และเก็บรักษาไว้ได้ทั้งสองอย่าง”

เด็กที่เสียชีวิตและหญิงที่ป่วย

(มก.5:22-43; ลก.8:41-56)

18ขณะที่พระองค์ตรัสอยู่นั้น นายธรรมศาลาคนหนึ่งมาคุกเข่าทูลพระองค์ว่า “ลูกสาวของข้าพระองค์เพิ่งเสียชีวิต แต่ขอโปรดเสด็จไปทรงวางมือให้แล้วเธอจะเป็นขึ้นมา” 19พระเยซูทรงลุกขึ้นไปกับเขาเหล่าสาวกก็ไปด้วย

20ขณะนั้นเองหญิงคนหนึ่งซึ่งตกเลือดเรื้อรังมาสิบสองปีแล้วได้เข้ามาข้างหลังพระองค์และแตะชายฉลองพระองค์ 21นางคิดในใจว่า “ถ้าเพียงแต่เราแตะฉลองพระองค์ เราก็จะหายโรค”

22พระเยซูทรงหันมาเห็นนางจึงตรัสว่า “ลูกสาวเอ๋ย จงชื่นใจเถิด ความเชื่อของเจ้าทำให้เจ้าหายโรคแล้ว” นางก็หายโรคตั้งแต่วินาทีนั้น

23เมื่อพระเยซูเสด็จเข้าไปในบ้านของนายธรรมศาลาแล้วทรงเห็นพวกเป่าปี่และผู้คนส่งเสียงอึกทึก 24พระองค์ก็ตรัสว่า “ไปเสียเถิด เด็กหญิงนี้ยังไม่ตาย เพียงแต่หลับอยู่” แต่พวกเขาพากันหัวเราะเยาะพระองค์ 25หลังจากผู้คนออกไปแล้ว พระองค์ทรงเข้ามาจับมือเด็กน้อย เด็กหญิงนั้นก็ลุกขึ้น 26ข่าวนี้จึงเลื่องลือไปทั่วแคว้น

พระเยซูทรงรักษาคนตาบอดและคนใบ้

27ขณะพระเยซูเสด็จจากที่นั่น มีชายตาบอดสองคนเดินตามพระองค์มาพลางร้องว่า “บุตรดาวิดเจ้าข้า เมตตาพวกข้าพระองค์ด้วยเถิด!”

28เมื่อทรงเข้าไปในบ้านแล้ว คนตาบอดทั้งสองก็มาหาพระองค์ พระเยซูตรัสถามเขาว่า “ท่านเชื่อหรือว่าเราสามารถทำการนี้ได้?”

ทั้งสองทูลตอบว่า “เชื่อ พระเจ้าข้า”

29พระองค์จึงทรงแตะตาของพวกเขาและตรัสว่า “ให้เป็นไปตามความเชื่อของเจ้าเถิด” 30ทั้งสองก็กลับมองเห็นได้ พระเยซูทรงกำชับเขาอย่างหนักแน่นว่า “อย่าให้ใครรู้เรื่องนี้” 31แต่เขาก็ออกไปป่าวประกาศข่าวเกี่ยวกับพระองค์ทั่วแคว้น

32ขณะที่พวกเขากำลังจะพากันออกไป มีคนนำชายผู้หนึ่งซึ่งถูกผีสิงและพูดไม่ได้มาพบพระเยซู 33และเมื่อทรงขับผีออกแล้ว ชายที่เคยเป็นใบ้ก็พูดได้ ประชาชนพากันประหลาดใจและพูดว่า “ไม่เคยพบเห็นอะไรเช่นนี้เลยในอิสราเอล”

34แต่พวกฟาริสีพูดว่า “เขาขับผีออกด้วยฤทธิ์ของนายผี”

คนงานยังน้อยอยู่

35พระเยซูเสด็จไปตามเมืองและหมู่บ้านต่างๆ ทรงเทศนาในธรรมศาลา ประกาศข่าวประเสริฐเรื่องอาณาจักรของพระเจ้า และรักษาโรคภัยไข้เจ็บทั้งปวง 36เมื่อพระองค์ทอดพระเนตรเห็นประชาชนก็ทรงสงสารเขาเพราะพวกเขาถูกรังควานและไร้ที่พึ่งเหมือนลูกแกะขาดคนเลี้ยง 37แล้วพระองค์ก็ตรัสกับเหล่าสาวกว่า “งานเก็บเกี่ยวมีมากแต่คนงานมีน้อยนัก 38เพราะฉะนั้นจงทูลขอพระองค์ผู้ทรงเป็นเจ้าแห่งการเก็บเกี่ยวให้ส่งคนงานมายังทุ่งแห่งการเก็บเกี่ยวของพระองค์”