Matayo 7 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Matayo 7:1-29

Temunoonyanga Bisobyo ku Bannammwe

17:1 Luk 6:37; Bar 14:4, 10, 13; 1Ko 4:5; Yak 4:11, 12“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. 27:2 Mak 4:24; Luk 6:38Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”

3“Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba? 4Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki? 5Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bw’oggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”

6“Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.”

Musabe, munoonye, mweyanjule

77:7 Mat 21:22; Mak 11:24; Yk 14:13, 14; 15:7, 16; 16:23, 24; Yak 1:5-8; 4:2, 3; 1Yk 3:22; 5:14, 15“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. 87:8 Nge 8:17; Yer 29:12, 13Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.”

9“Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja? 10Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota? 11Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba? 127:12 a Luk 6:31 b Bar 13:8-10; Bag 5:14Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”

Omulyango omufunda n’omugazi

137:13 Luk 13:24“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi. 14Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”

Omuti n’Ebibala

157:15 a Yer 23:16; Mat 24:24; Mak 13:22; Luk 6:26; 2Pe 2:1; 1Yk 4:1; Kub 16:13 b Bik 20:29“Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula. 167:16 a Mat 12:33; Luk 6:44 b Yak 3:12Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ng’omuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo. 17Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi. 18Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n’omuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi. 197:19 Mat 3:10Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro. 20Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”

217:21 a Kos 8:2; Mat 25:11 b Bar 2:13; Yak 1:22“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala. 227:22 a Mat 10:15 b 1Ko 13:1-3Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’ 237:23 Zab 6:8; Mat 25:12, 41; Luk 13:25-27Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi

247:24 Yak 1:22-25“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. 25Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. 27Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”

287:28 a Mat 11:1; 13:53; 19:1; 26:1 b Mat 13:54; Mak 1:22; 6:2; Luk 4:32; Yk 7:46Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe. 29Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.