Matayo 27 – LCB & KJV

Luganda Contemporary Bible

Matayo 27:1-66

Yuda Yeetuga

127:1 Mat 12:14; Mak 15:1; Luk 22:66Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n’abakulembeze b’Abayudaaya ne beeyongera okukuŋŋaana ne bateeseza wamu balabe ekkubo lye banaayitamu okutta Yesu. 227:2 a Mat 20:19 b Mak 15:1; Luk 13:1; Bik 3:13; 1Ti 6:13Ne bamusiba, ne bamuweereza ewa Piraato eyali gavana Omuruumi.

327:3 a Mat 10:4 b Mat 26:14, 15Awo Yuda, eyali amuliddemu olukwe, bwe yalaba nga Yesu bamusalidde omusango gwa kufa, n’azzaayo ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza eri bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya, 427:4 nny 24ng’agamba nti, “Nnyonoonye, kubanga ndiddemu olukwe omusaayi ogutalina musango.” Naye ne bamuddamu nti, “kyo kitukwatako kitya? Ezo nsoga zo.”

527:5 a Luk 1:9, 21 b Bik 1:18Kyeyava addira ensimbi eza ffeeza n’aziyiwa mu Yeekaalu n’afuluma n’agenda yeetuga! 6Bakabona abakulu ne balondalondawo ensimbi eza ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okuzissa mu ggwanika lya yeekaalu kubanga muwendo gwa musaayi.” 7Bwe baamala okukikubaganyaako ebirowoozo, ne basalawo okuzigulamu ennimiro ababumbi mwe baggyanga ebbumba. Ne bateesa ennimiro eyo okugifuula ekifo eky’okuziikangamu abagwira. 827:8 Bik 1:19Kyebaava batuuma ennimiro eyo, “Ennimiro y’Omusaayi” n’okutuusa leero. 927:9 Mat 1:22Kino ne kituukiriza nnabbi Yeremiya bye yayogera nti, “Baddira ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, nga gwe muwendo abaana ba Isirayiri gwe baamulamula, 1027:10 Zek 11:12, 13; Yer 32:6-9ne bagulamu ennimiro eyali ey’ababumbi, nga Mukama bwe yalagira.”

Yesu mu maaso ga Piraato

1127:11 Mat 2:2Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana n’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde.”

1227:12 Mat 26:63; Mak 14:61; Yk 19:9Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bwe baaleeta ensonga zaabwe ze baasinziirako okumuwawaabira, Yesu teyabaanukula. 1327:13 Mat 26:62Piraato kwe ku mubuuza nti, “Ebyo byonna bye bakwogerako tobiwulira?” 1427:14 Mak 14:61Naye Yesu n’ataddamu kigambo na kimu, era gavana ne kimwewuunyisa nnyo.

1527:15 Yk 18:39Gavana yalina empisa ey’okusumulula omusibe omu mu kiseera eky’Embaga y’Okuyitako, ng’omusibe oyo abantu be baamweronderanga. 16Mu kkomera mwalimu kkondo lukulwe ng’erinnya lye ye Balaba. 1727:17 nny 22; Mat 1:16Awo Piraato n’abuuza ekibiina ekyali kikuŋŋaanye nti, “Mwagala mbasumululire ani, Balaba oba Yesu, ayitibwa Kristo?” 18Kubanga yamanya ng’abakulembeze b’Abayudaaya bamuwaddeyo lwa buggya.

1927:19 a Yk 19:13 b nny 24 c Lub 20:6; Kbl 12:6; 1Bk 3:5; Yob 33:14-16; Mat 1:20; 2:12, 13, 19, 22Piraato yali akyali wakati mu musango ogwo, mukazi we n’amutumira n’obubaka buno nti, “Toba na nsonga na musajja oyo omutuukirivu kubanga natawaanyizibbwa n’ekirooto eky’omuntu oyo.”

2027:20 Bik 3:14Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne basendasenda ebibiina basabeyo Balaba y’aba ateebwa, naye Yesu attibwe.

21Gavana bwe yaddamu okubabuuza nti, “Ku bano bombi mbateereko aluwa?” Ekibiina kyonna ne kiddamu nti, “Balaba!”

2227:22 Mat 1:16Piraato n’ababuuza nti, “Kale Yesu, ayitibwa Kristo, mukole ntya?” buli omu n’addamu nti, “Akomererwe!”

23Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki, kiki ky’asobezza?” Naye bo ne beeyongera kuleekaanira waggulu nti, “Akomererwe!”

2427:24 a Mat 26:5 b Zab 26:6 c Ma 21:6-8 d nny 4Awo Piraato bwe yalaba ng’ensoga talina gy’aziraza, ate ng’ebibiina byagala kusasamala, n’atumya amazzi, n’anaaba engalo ze mu maaso g’ekibiina nga bw’agamba nti, “Nze siriiko musango gwonna olw’omusaayi gw’omuntu ono omulungi. Obuvunaanyizibwa bwonna buli ku mmwe!”

2527:25 Yos 2:19; Bik 5:28Abantu bonna ne baanukula nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe!”

2627:26 Is 53:5; Yk 19:1Awo Piraato n’asumulula Balaba n’abamuwa. Naye bwe yamala okukuba Yesu embooko n’amuwaayo bamukomerere. 2727:27 Yk 18:28, 33; 19:9Naye abaserikale baasooka kumutwala mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo ne bakuŋŋaanira eyo, ne bayita bannaabwe bonna. 2827:28 Yk 19:2Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu, 2927:29 Is 53:3; Yk 19:2, 3ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!” 3027:30 Mat 16:21; 26:67Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe. 3127:31 Is 53:7Eby’okumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.

Okukomererwa kwa Yesu

3227:32 a Beb 13:12 b Bik 2:10; 6:9; 11:20; 13:1 c Mak 15:21; Luk 23:26Bwe baali nga bagenda gye banaamukomerera, ne basisinkana omusajja omukuleene, erinnya lye nga ye Simooni, ne bamulagira lwa maanyi yeetikke omusaalaba gwa Yesu. 3327:33 Yk 19:17Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu nti, “Akasozi k’Ekiwanga,” 3427:34 nny 48; Zab 69:21ne bawa Yesu wayini atabuddwamu omususa, naye bwe yakombako n’amugaana. 3527:35 Zab 22:18Bwe baamala okumukomerera, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 3627:36 nny 54Bwe batyo ne batuula awo nga bamukuuma. 37Ne bawanika ekipande waggulu w’omutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti,

“Ono ye Yesu, Kabaka w’Abayudaaya.”

3827:38 Is 53:12Waaliwo n’abanyazi babiri abaakomererwa naye omu ku ddyo, n’omulala ku kkono. 3927:39 Zab 22:7; 109:25; Kgb 2:15Awo abantu abaali bayitawo, ne bamuvuma nga bamunyeenyeza emitwe 4027:40 a Mat 26:61; Yk 2:19 b nny 42 c Mat 4:3, 6nga bwe bagamba nti, “Wagamba okumenya Yeekaalu, ate ogizimbe mu nnaku ssatu! Weerokole okke wansi okuva ku musaalaba, obanga ggwe Mwana wa Katonda.”

41Bakabona abakulu n’abawandiisi, n’abakulembeze abalala ne bamuduulira, nga bagamba nti, 4227:42 a Yk 1:49; 12:13 b Yk 3:15“Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bw’ali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza! 4327:43 Zab 22:8Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ” 44N’abanyazi ababiri abaakomererwa awamu naye nabo ne bamuvuma.

Okufa kwa Yesu

4527:45 Am 8:9Okuviira ddala ku ssaawa mukaaga mu ttuntu okutuusiza ddala essaawa mwenda ez’olweggulo ensi yonna yabikkibwa ekizikiza. 4627:46 Zab 22:1Ku ssaawa nga mwenda Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”

47Naye abamu ku baali bayimiridde awo bwe baakiwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”

4827:48 nny 34; Zab 69:21Amangwago omu n’adduka n’addira ekyangwe n’akinnyika mu mwenge omukaatuufu n’akiteeka ku muti, n’akimuwa anuuneko. 49Naye abalala ne bagamba nti, “Mumuleke. Ka tulabe obanga Eriya anajja n’amulokola.”

5027:50 Yk 19:30Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu n’eddoboozi eddene, n’awaayo omwoyo gwe.

5127:51 a Kuv 26:31-33; Beb 9:3, 8 b nny 54Era laba! Eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n’ekankana, n’enjazi ne zaatika. 52Entaana ne zibikkuka era abantu ba Katonda bangi abaali bafudde ne bazuukira, 5327:53 Mat 4:5era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi.

5427:54 a nny 36 b Mat 4:3; 17:5Omuserikale omukulu w’ekibinja ky’abaserikale ekikumi, n’abaserikale abaali bakuuma Yesu, bwe baalaba okukankana kw’ensi ng’okwa musisi, n’ebirala ebyabaawo, ne batya nnyo. Ne bagamba nti, “Ddala ddala ono abadde Mwana wa Katonda.”

5527:55 Luk 8:2, 3Waaliwo n’abakazi bangi abaayitanga ne Yesu abaava naye e Ggaliraaya nga bamuweereza, baali beesuddeko akabanga, nga balaba ebigenda mu maaso. 5627:56 Mak 15:47; Luk 24:10; Yk 19:25Mu bo mmwe mwali Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina wa Yakobo ne Yusufu, ne nnyina w’abaana ba Zebbedaayo.

Okuziika Yesu

57Obudde bwe bwawungeera, ne wajja omusajja omugagga ng’ava Alimasaya, erinnya lye Yusufu eyali omu ku bagoberezi ba Yesu. 58N’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. Piraato n’alagira bagumuwe. 59Yusufu n’atwala omulambo n’aguzinga mu lugoye olulungi olwa linena, 6027:60 nny 66; Mat 28:2; Mak 16:4n’agugalamiza mu ntaana ye empya gye yatema mu lwazi, n’addira ejjinja eddene n’aliyiringisiza mu mulyango gw’entaana n’aggalawo, ne yeetambulira. 61Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu munne, bombi baali batudde awo kumpi n’entaana.

Abakuumi ku Ntaana

62Enkeera, ng’olunaku olusooka mu nnaku z’Embaga y’Okuyitako luweddeko, bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bagenda eri Piraato, 6327:63 Mat 16:21ne bamugamba nti, “Oweekitiibwa, omulimba oli tujjukira ng’akyali mulamu yagamba nti, ‘Nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.’ 64Noolwekyo tukusaba olagire entaana ye ekuumibwe, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kumubbamu, ne balyoka bategeeza abantu nti azuukidde! Singa ekyo kiba bwe kityo, ekyo kye kijja okuba ekibi ennyo okusinga n’ekyasooka.”

6527:65 nny 66; Mat 28:11Piraato n’abaddamu nti, “Mukozese abaserikale bammwe be mulina mugende mugikuume.” 6627:66 a Dan 6:17 b nny 60; Mat 28:2 c Mat 28:11Bwe batyo ne bateeka akabonero ak’envumbo ku jjinja eryaggala omulyango gw’entaana, ne bateekawo n’abakuumi.

King James Version

Matthew 27:1-66

1When the morning was come, all the chief priests and elders of the people took counsel against Jesus to put him to death: 2And when they had bound him, they led him away, and delivered him to Pontius Pilate the governor.

3¶ Then Judas, which had betrayed him, when he saw that he was condemned, repented himself, and brought again the thirty pieces of silver to the chief priests and elders, 4Saying, I have sinned in that I have betrayed the innocent blood. And they said, What is that to us? see thou to that. 5And he cast down the pieces of silver in the temple, and departed, and went and hanged himself. 6And the chief priests took the silver pieces, and said, It is not lawful for to put them into the treasury, because it is the price of blood. 7And they took counsel, and bought with them the potter’s field, to bury strangers in. 8Wherefore that field was called, The field of blood, unto this day. 9Then was fulfilled that which was spoken by Jeremy the prophet, saying, And they took the thirty pieces of silver, the price of him that was valued, whom they of the children of Israel did value; 10And gave them for the potter’s field, as the Lord appointed me. 11And Jesus stood before the governor: and the governor asked him, saying, Art thou the King of the Jews? And Jesus said unto him, Thou sayest. 12And when he was accused of the chief priests and elders, he answered nothing. 13Then said Pilate unto him, Hearest thou not how many things they witness against thee? 14And he answered him to never a word; insomuch that the governor marvelled greatly. 15Now at that feast the governor was wont to release unto the people a prisoner, whom they would. 16And they had then a notable prisoner, called Barabbas. 17Therefore when they were gathered together, Pilate said unto them, Whom will ye that I release unto you? Barabbas, or Jesus which is called Christ? 18For he knew that for envy they had delivered him.

19¶ When he was set down on the judgment seat, his wife sent unto him, saying, Have thou nothing to do with that just man: for I have suffered many things this day in a dream because of him. 20But the chief priests and elders persuaded the multitude that they should ask Barabbas, and destroy Jesus. 21The governor answered and said unto them, Whether of the twain will ye that I release unto you? They said, Barabbas. 22Pilate saith unto them, What shall I do then with Jesus which is called Christ? They all say unto him, Let him be crucified. 23And the governor said, Why, what evil hath he done? But they cried out the more, saying, Let him be crucified.

24¶ When Pilate saw that he could prevail nothing, but that rather a tumult was made, he took water, and washed his hands before the multitude, saying, I am innocent of the blood of this just person: see ye to it. 25Then answered all the people, and said, His blood be on us, and on our children.

26¶ Then released he Barabbas unto them: and when he had scourged Jesus, he delivered him to be crucified. 27Then the soldiers of the governor took Jesus into the common hall, and gathered unto him the whole band of soldiers. 28And they stripped him, and put on him a scarlet robe.

29¶ And when they had platted a crown of thorns, they put it upon his head, and a reed in his right hand: and they bowed the knee before him, and mocked him, saying, Hail, King of the Jews! 30And they spit upon him, and took the reed, and smote him on the head. 31And after that they had mocked him, they took the robe off from him, and put his own raiment on him, and led him away to crucify him. 32And as they came out, they found a man of Cyrene, Simon by name: him they compelled to bear his cross. 33And when they were come unto a place called Golgotha, that is to say, a place of a skull,

34¶ They gave him vinegar to drink mingled with gall: and when he had tasted thereof, he would not drink. 35And they crucified him, and parted his garments, casting lots: that it might be fulfilled which was spoken by the prophet, They parted my garments among them, and upon my vesture did they cast lots. 36And sitting down they watched him there; 37And set up over his head his accusation written, THIS IS JESUS THE KING OF THE JEWS. 38Then were there two thieves crucified with him, one on the right hand, and another on the left.

39¶ And they that passed by reviled him, wagging their heads, 40And saying, Thou that destroyest the temple, and buildest it in three days, save thyself. If thou be the Son of God, come down from the cross. 41Likewise also the chief priests mocking him, with the scribes and elders, said, 42He saved others; himself he cannot save. If he be the King of Israel, let him now come down from the cross, and we will believe him. 43He trusted in God; let him deliver him now, if he will have him: for he said, I am the Son of God. 44The thieves also, which were crucified with him, cast the same in his teeth. 45Now from the sixth hour there was darkness over all the land unto the ninth hour. 46And about the ninth hour Jesus cried with a loud voice, saying, Eli, Eli, lama sabachthani? that is to say, My God, my God, why hast thou forsaken me? 47Some of them that stood there, when they heard that, said, This man calleth for Elias. 48And straightway one of them ran, and took a spunge, and filled it with vinegar, and put it on a reed, and gave him to drink. 49The rest said, Let be, let us see whether Elias will come to save him.

50¶ Jesus, when he had cried again with a loud voice, yielded up the ghost. 51And, behold, the veil of the temple was rent in twain from the top to the bottom; and the earth did quake, and the rocks rent; 52And the graves were opened; and many bodies of the saints which slept arose, 53And came out of the graves after his resurrection, and went into the holy city, and appeared unto many. 54Now when the centurion, and they that were with him, watching Jesus, saw the earthquake, and those things that were done, they feared greatly, saying, Truly this was the Son of God. 55And many women were there beholding afar off, which followed Jesus from Galilee, ministering unto him: 56Among which was Mary Magdalene, and Mary the mother of James and Joses, and the mother of Zebedee’s children. 57When the even was come, there came a rich man of Arimathæa, named Joseph, who also himself was Jesus’ disciple: 58He went to Pilate, and begged the body of Jesus. Then Pilate commanded the body to be delivered. 59And when Joseph had taken the body, he wrapped it in a clean linen cloth, 60And laid it in his own new tomb, which he had hewn out in the rock: and he rolled a great stone to the door of the sepulchre, and departed. 61And there was Mary Magdalene, and the other Mary, sitting over against the sepulchre.

62¶ Now the next day, that followed the day of the preparation, the chief priests and Pharisees came together unto Pilate, 63Saying, Sir, we remember that that deceiver said, while he was yet alive, After three days I will rise again. 64Command therefore that the sepulchre be made sure until the third day, lest his disciples come by night, and steal him away, and say unto the people, He is risen from the dead: so the last error shall be worse than the first. 65Pilate said unto them, Ye have a watch: go your way, make it as sure as ye can. 66So they went, and made the sepulchre sure, sealing the stone, and setting a watch.