Matayo 24 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Matayo 24:1-51

Ebikangabwa n’Omulembe Okuggwaako

1Awo Yesu bwe yali ng’ava mu luggya lwa Yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja w’ali okumulaga enzimba ya Yeekaalu, 224:2 Luk 19:44naye n’abagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.”

324:3 Mat 21:1Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?”

4Yesu n’abaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba. 524:5 nny 11, 23, 24; 1Yk 2:18Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi. 6Munaatera okuwulira entalo n’eŋŋambo z’entalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka. 724:7 a Is 19:2 b Bik 11:28Amawanga galirwana ne gannaago, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi. 8Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ng’ey’okulumwa okuzaala.”

924:9 a Mat 10:17 b Yk 16:2“Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange. 10Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, n’abalala baliryamu bannaabwe olukwe, n’abalala ne bakyawagana. 1124:11 Mat 7:15Era bannabbi ab’obulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi. 12Olw’obujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola. 1324:13 Mat 10:22Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa. 1424:14 a Mat 4:23 b Luk 2:1; 4:5; Bik 11:28; 17:6; Bar 10:18; Bak 1:6, 23; Kub 3:10; 16:14Era Enjiri ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna n’oluvannyuma enkomerero n’eryoka etuuka.”

1524:15 a Bik 6:13 b Dan 9:27; 11:31; 12:11“Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere, 16n’abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi. 1724:17 1Sa 9:25; Mat 10:27; Luk 12:3; Bik 10:9Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu. 18N’oyo alibeera mu nnimiro taddangayo eka okunonayo olugoye lwe. 1924:19 Luk 23:29Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 20Naye musabe ekiseera ky’okudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti. 2124:21 Dan 12:1; Yo 2:2Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana. 2224:22 nny 24, 31Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde n’omu alokolebwa. Naye olw’abalonde be ennaku ezo zirikendezebwako. 2324:23 Luk 17:23; 21:8Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga. 2424:24 2Bs 2:9-11; Kub 13:13Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda. 25Laba mbalabudde nga bukyali!”

26“Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga. 2724:27 a Luk 17:24 b Mat 8:20Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo. 2824:28 Luk 17:37Era mukimanyi nti awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”

2924:29 Is 13:10; 34:4; Ez 32:7; Kub 6:12, 13; 8:12“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa

“kw’omu nnaku ezo kuwedde,

‘enjuba eriggyako ekizikiza

era n’omwezi teguliyaka,

n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”

3024:30 Dan 7:13; Kub 1:7“Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. 3124:31 a Mat 13:41 b Is 27:13; Zek 9:14; 1Ko 15:52; 1Bs 4:16; Kub 8:2; 10:7; 11:15Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”

32“Kale muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 3324:33 Yak 5:9Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 3424:34 Mat 16:28; 23:36Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 3524:35 Mat 5:18Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

Olunaku n’Essaawa Tebimanyiddwa

3624:36 Bik 1:7“Naye eby’olunaku olwo wadde essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika ab’omu ggulu nabo tebakimanyi, wadde Omwana, okuggyako Kitaffe yekka. 3724:37 Lub 6:5; 7:6-23Kubanga nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, okujja kw’Omwana w’Omuntu nakwo bwe kuliba. 3824:38 Mat 22:30Nga bwe kyali mu biseera by’amataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa n’abalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa n’ayingira mu lyato, 39abantu ne batamanya, amataba ne gajja ne gabasaanyaawo ne buli kintu, bwe kutyo n’okudda kw’Omwana w’Omuntu bwe kulibeera. 4024:40 Luk 17:34Mu biseera ebyo abasajja babiri baliba bakola mu nnimiro, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa. 4124:41 Luk 17:35Abakazi babiri baliba basa ku mmengo zaabwe mu nnyumba y’emu, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa.”

4224:42 Mat 25:13; Luk 12:40“Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lw’aliddirako temulumanyi. 4324:43 Luk 12:39Naye mutegeere kino: ssinga ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, yandisigadde ng’atunula, n’ataganya mubbi kumuyingirira. 4424:44 1Bs 5:6Noolwekyo nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”

4524:45 Mat 25:21, 23“Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu? 4624:46 Kub 16:15Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo. 4724:47 Mat 25:21, 23Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna. 48Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’ 4924:49 Luk 21:34n’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda. 50Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi, 5124:51 Mat 8:12alimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”