Matayo 18 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Matayo 18:1-35

Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu

1Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?”

2Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. 318:3 a Mat 19:14; 1Pe 2:2 b Mat 3:2N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 418:4 Mak 9:35Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.

518:5 Mat 10:40“Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. 618:6 Mak 9:42; Luk 17:2Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”

718:7 Luk 17:1“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. 818:8 Mat 5:29; Mak 9:43, 45Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. 918:9 a Mat 5:29 b Mat 5:22Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”

Olugero lw’Endiga Eyabula

1018:10 Lub 48:16; Zab 34:7; Bik 12:11, 15; Beb 1:14“Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 11Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula18:11 Olunyiriri luno lwateekebwamu kubanga ebigambo ebyo byali ne mu Luk 19:10. Kyokka nga mu biwandiiko eby’Oluyonaani ebyedda tebyalimu.

12“Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? 13Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.”

Owooluganda Okusonyiwa Muganda we

1518:15 Lv 19:17; Luk 17:3; Bag 6:1; Yak 5:19, 20“Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. 1618:16 Kbl 35:30; Ma 17:6; 19:15; Yk 8:17; 2Ko 13:1; 1Ti 5:19; Beb 10:28Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. 1718:17 a 1Ko 6:1-6 b Bar 16:17; 2Bs 3:6, 14Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.

1818:18 Mat 16:19; Yk 20:23“Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.

1918:19 Mat 7:7“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. 20Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

Olugero lw’Omuddu Atasonyiwa

2118:21 a Mat 6:14 b Luk 17:4Awo Peetero n’ajja n’abuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bw’ansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?”

2218:22 Lub 4:24Yesu n’amuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”

2318:23 a Mat 13:24 b Mat 25:19Awo Yesu n’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye eby’ensimbi, n’abaddu be. 24Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gw’abanja ettalanta18:24 Ettalanta ke kasiimo omukozi k’afuna oluvannyuma lw’okukolera emyaka kkumi n’ettaano omutwalo gumu. 2518:25 a Luk 7:42 b Lv 25:39; 2Bk 4:1; Nek 5:5, 8Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe.

2618:26 Mat 8:2“Naye omuddu oyo n’agwa wansi mu maaso ga mukama we, n’amwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’

27“Mukama we n’asaasira omuddu oyo n’amusonyiwa ebbanja lyonna!

28“Omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga munne gwe yali abanja eddinaali18:28 Eddinaali eddinaali emu y’empeera ey’olunaku olumu kikumi, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’

29“Naye munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula.’

30“Naye amubanja n’agaana okumuwuliriza, n’amuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna. 31Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye.

32“Awo mukama we n’atumya omuddu gwe yali asonyiye n’amugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde, 33naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’ 34Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, n’amukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna.

3518:35 Mat 6:14; Yak 2:13“Kale ne Kitange ali mu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

马太福音 18:1-35

天国里谁最伟大

1这时,门徒上前来,问耶稣:“在天国谁最伟大?”

2耶稣叫了一个小孩子来站在他们当中,然后说: 3“我实在告诉你们,你们若不变得像小孩子那样,绝不能进天国。 4所以,凡像这小孩子一样谦卑的人,在天国才是最伟大的。

5“任何人为了我的名而接待这样一个小孩子,就是接待了我。 6但不论谁使这样一个小信徒失足犯罪,他的下场比把大磨石拴在他脖子上沉到深海里还要惨。 7这世界有祸了!因为里面充满了引人犯罪的事。这样的事是免不了的,但那些引人犯罪的人有祸了!

8“如果你的手或脚使你犯罪,就砍掉它!因为肢体残缺着进入永生,总比四肢健全却被丢进永远不灭的火中好。 9如果你的一只眼睛使你犯罪,就剜出来丢掉它吧!独眼进入永生,总比双目健全却被丢进地狱的火中好。 10你们切不可轻视任何一位卑微的人。我告诉你们,他们的天使在天上常见我天父的面。

迷失的羊

11“人子到世界来,为要拯救迷失的人。 12如果一个人有一百只羊,其中有一只走迷了路,他会怎么办呢?难道不会把那九十九只撇在山上,去找那只迷失的羊吗? 13我实在告诉你们,如果找到了,他会非常欢喜,甚至比有那九十九只没有迷失的羊还欢喜。 14同样,你们的天父也不愿任何一个卑微的人失丧。

纠正信徒的过错

15“如果你的弟兄得罪了你,你要找个机会跟他单独在一起,指出他的错处。如果他肯接受劝告,你就得了一位弟兄。 16如果他不听劝告,你就带一两位弟兄去见他,让两三个人为谈话作证。 17如果他仍然不听,就应当告诉教会。如果他连教会也不听,就把他看作异教徒或税吏18:17 税吏”即犹太人眼中的“汉奸”,帮助统治犹太人的罗马政府收税,常从中牟取暴利。18我实在告诉你们,你们在地上捆绑的,在天上也要捆绑;你们在地上释放的,在天上也要释放。

19“我又告诉你们,如果你们当中有两个人在地上同心合意地祈求,不论求什么,我天上的父必为你们成就。 20因为哪里有两三个人奉我的名聚会,我就在哪里与他们同在。”

七十个七次

21彼得上前问耶稣:“主啊,如果我的弟兄得罪了我,我该饶恕他多少次呢?七次够了吧?”

22耶稣回答说:“我告诉你,不是七次,是七十个七次。

23“因此,天国就像一个王,他要跟奴仆清算债务。 24正开始清算的时候,有人带着一个欠了六千万银币18:24 六千万银币”希腊文是“一万他连得”,一他连得相当于当时一个普通工人20年的工钱。的人进来。 25因为这个人无法清还债款,王就下令把他及其妻儿和所有财产全部卖掉还债。 26那奴仆跪在王面前乞求说,‘请宽容我,我会把债务全部还清的。’ 27王可怜他,不但释放了他,而且免了他全部的债。

28“可是,那奴仆出去后,遇见一位欠他一百个银币18:28 一个银币相当于当时普通工人一天的工钱。的同伴,就揪住同伴,掐着他的喉咙说,‘还我钱!’ 29同伴跪下哀求道,‘请宽容我,我会还你的。’

30“那奴仆却不肯,竟把同伴送进监狱,直到他还清债务为止。 31其他的奴仆目睹这一切,都愤愤不平,把这件事告诉了王。

32“于是,王把那奴仆召来,说,‘你这可恶的奴才!你哀求我,我就免了你所有的债。 33难道你不应该怜悯你的同伴,就像我怜悯你一样吗?’ 34王大怒,下令把他交给狱卒受刑,直到他还清全部的债务。 35如果你们不从心里饶恕自己的弟兄,我的天父也要这样对待你们。”