Matayo 15 – LCB & HHH

Luganda Contemporary Bible

Matayo 15:1-39

Obulongoofu n’Obutali Bulongoofu

1Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti: 215:2 Luk 11:38“Abayigirizwa bo lwaki banyoomoola obulombolombo bw’Abakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”

3Naye Yesu naye n’ababuuza nti, “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda, nga mwerimbika mu bulombolombo bwammwe? 415:4 a Kuv 20:12; Ma 5:16; Bef 6:2 b Kuv 21:17; Lv 20:9Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Oyo anaavumanga kitaawe ne nnyina battanga mutte,’ 5Naye mmwe mugamba nti, Buli agamba kitaawe oba nnyina nti, ‘Ekirabo kye nandikuwadde nkiwaddeyo eri Katonda,’ omuntu oyo teyeetaaga kussaamu kitaawe kitiibwa. 6Noolwekyo tassaamu kitaawe oba nnyina kitiibwa. Bwe mutyo ne mudibya etteeka lya Katonda olw’obulombolombo bwammwe. 7Mmwe bannanfuusi! Nnabbi Isaaya yayogera bulungi ebyobunnabbi ebibakwatako bwe yagamba nti,

8“ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa.’

Naye emitima gyabwe gindi wala.

915:9 a Bak 2:20-22 b Is 29:13; Mal 2:2‘Okusinza kwabwe kwa bwereere.

Kubanga bayigiriza amateeka abantu ge beekoledde.’ ”

10Yesu n’ayita ekibiina n’abagamba nti, “Mumpulirize era mutegeere. 1115:11 a Bik 10:14, 15 b nny 18Omuntu ky’alya si kye kimwonoonyesa, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke, kye kimwonoonyesa.”

12Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omanyi ebigambo byo nga bwe binyiizizza Abafalisaayo?”

1315:13 Is 60:21; 61:3; Yk 15:2Naye Yesu n’addamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu ky’ataasimba kigenda kusimbulwa. 1415:14 a Mat 23:16, 24; Bar 2:19 b Luk 6:39Noolwekyo mubaleke. Bakulembeze abazibe b’amaaso. Bafaanana omuzibe w’amaaso akulembera muzibe munne, kubanga bombi bagenda kugwa mu kinnya.”

1515:15 Mat 13:36Peetero n’amugamba nti, “Tunnyonnyole olugero olwo.”

1615:16 Mat 16:9Yesu n’abagamba nti, “Nammwe era temunnategeera? 17Temumanyi nti buli muntu ky’alya kigenda mu lubuto mwe kiva n’akifulumiza mu kiyigo? 1815:18 Mat 12:34; Luk 6:45; Yak 3:6Naye ebintu ebiva mu kamwa, biva mu mutima ne byonoona omuntu. 1915:19 Bag 5:19-21Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola. 2015:20 Bar 14:14Ebyo bye byonoona omuntu, naye okulya nga tonaabye mu ngalo, tekwonoona muntu.”

Okukkiriza kw’Omukanani

2115:21 Mat 11:21Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni. 2215:22 a Mat 9:27 b Mat 4:24Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”

23Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira.”

2415:24 Mat 10:6, 23; Bar 15:8Naye Yesu n’addamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.”

2515:25 Mat 8:2Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”

26Yesu n’amuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”

27Omukazi n’addamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”

2815:28 Mat 9:22Awo Yesu n’amugamba nti, “Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala.” Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.

Yesu Aliisa Enkumi Ennya

29Yesu n’avaayo n’ajja emitala okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alinnya ku lusozi n’atuula eyo. 3015:30 Mat 4:23Abantu bangi ne bajja gy’ali, ne bamuleetera, abakoozimbye, n’abatayogera n’abalala bangi ne babassa we yali n’abawonya. 3115:31 Mat 9:8Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, n’ababadde bakoozimbye nga bawonye, n’ababadde abalema nga batambula, n’ababadde abazibe b’amaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.

3215:32 Mat 9:36Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, “Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo.”

33Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?”

34Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Tulinawo emigaati musanvu n’ebyennyanja bitono.”

35Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi, 3615:36 Mat 14:19n’addira emigaati omusanvu n’ebyennyanja, bwe yamala okwebaza, n’abimenyaamenyamu, n’awa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina. 3715:37 Mat 16:10Buli muntu n’alya n’akkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu. 38Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana. 39Awo Yesu n’asiibula ekibiina, n’asaabala mu lyato n’agenda mu nsalo y’e Magadani.

Habrit Hakhadasha/Haderekh

הבשורה על-פי מתי 15:1-39

1יום אחד הגיעו מירושלים מספר פרושים וסופרים כדי לחקור את ישוע.

2”מדוע תלמידיך אינם מקיימים את המסורת היהודית העתיקה?“ דרשו לדעת. ”מדוע תלמידיך אינם נוטלים את ידיהם לפני האוכל?“

3השיב להם ישוע: ”ומדוע עוברת המסורת שלכם על מצוותיו של אלוהים? 4למשל, כתוב בתורה:15‏.4 טו 4 שמות כ 12, כא 17 ’כבד את אביך ואת אמך… ומקלל אביו ואמו מות יומת!‘ 5‏-6אולם אתם אומרים שמותר לאדם להתעלם מצרכי הוריו העניים, אם ייתן ’לעבודת האלוהים‘ את מה שיכול היה לתת להם. וכך אתם מפרים את מצוותו של אלוהים, כדי לקיים מסורת וחוקים שהומצאו על־ידי בני־אדם. 7צבועים שכמוכם! הנביא ישעיהו תיאר אתכם נכונה כשאמר:15‏.7 טו 7 ישעיהו כט 13

8’ניגש העם הזה בפיו,

ובשפתיו כבדוני ולבו רחק ממני;

9ותהי יראתם אותי מצות אנשים מלומדה‘. “

10ישוע אסף סביבו את הקהל ואמר: ”הקשיבו לדבריי והשתדלו להבינם: 11מה שמטמא את האדם זה לא מה שנכנס לפה אלא מה שיוצא מהפה – זה מטמא את האדם!“

12תלמידיו באו אליו ואמרו: ”בדבריך אלה העלבת את הפרושים!“

13ישוע השיב להם: ”כל צמח שלא נשתל על־ידי אבי – ייעקר. 14התעלמו מהם; הפרושים אינם אלא מורי־דרך עיוורים המדריכים עיוורים אחרים, ובסופו של דבר יפלו כולם יחד לתוך בור!“

15שמעון פטרוס ביקש מישוע שיסביר למה התכוון באמרו שאנשים מטמאים את עצמם ממה שיוצא מן הפה.

16”האם אינך מבין?“ שאל אותו ישוע. 17”האם אינך רואה שכל מה שאתה אוכל עובר דרך מערכת העיכול ויוצא שוב החוצה? 18אולם מילים רעות יוצאות מתוך לב רע ומטמאות את האומר אותן. 19כי מתוך הלב יוצאות מחשבות רעות, מעשי רצח, ניאוף, זנות, גניבה, שקר ורכילות. 20דברים אלה הם המטמאים את האדם. אכילה ללא נטילת ידיים אינה מטמאת את האדם.“

21ישוע עזב את האזור ההוא והלך אל אזור צור וצידון.

22אישה כנענית שגרה שם באה אל ישוע והתחננה: ”אדוני, בן־דוד, רחם עלי! שד אחז בבתי והוא מענה אותה ללא הרף.“ 23אולם ישוע לא ענה לה – אף לא מילה אחת. תלמידיו ביקשו ממנו לגרש אותה: ”אמור לה ללכת מכאן, כי היא מציקה לנו כל היום בתחינותיה.“

24”נשלחתי אל צאן האובדות של בית ישראל בלבד“, אמר ישוע לאישה. 25אולם האישה נפלה לרגליו ושוב ביקשה: ”אדוני, עזור לי!“

26”אין זה צודק לקחת את לחמם של הילדים ולהשליכו לכלבים“, ענה לה ישוע.

27”נכון, אדוני,“ השיבה האישה, ”אבל גם לגורי הכלבים מותר לאכול את הפירורים שנופלים מעל שולחן אדוניהם.“

28”אישה,“ אמר לה ישוע, ”יש בך אמונה רבה, ולכן תתמלא בקשתך.“ באותו רגע בתה נרפאה.

29ישוע חזר לכינרת, עלה על גבעה והתיישב שם. 30ההמונים הביאו אליו פיסחים, עיוורים, בעלי־מום, אילמים וחולים אחרים, הניחו אותם לפניו, והוא ריפא את כולם. 31כאשר העם ראה את האילמים מפטפטים בהתרגשות, קטועי האיברים מקבלים איברים חדשים, נכים קופצים ורוקדים והעיוורים מביטים סביבם, נדהמו ושבחו את אלוהי ישראל.

32לאחר מכן קרא ישוע לתלמידיו ואמר: ”אני מרחם על אנשים אלה; הם נמצאים אתי כאן שלושה ימים, ולא נשאר להם מה לאכול. אינני רוצה לשלוח אותם רעבים, כי הם עלולים להתעלף בדרך.“

33”מאין נשיג במדבר הזה מספיק אוכל לכל ההמון?“ שאלו התלמידים.

34”כמה ככרות לחם יש לכם?“ שאל אותם ישוע. ”שבע,“ ענו, ”וכמה דגים קטנים.“

35ישוע ציווה על העם לשבת על הארץ, 36לקח את שבע ככרות הלחם ואת הדגים, הודה לאלוהים עליהם, חילק אותם למנות ונתן לתלמידים, כדי שיגישו ליושבים. 37‏-38אכלו לשובע (כארבעת־אלפים איש לא כולל נשים וילדים), כאשר אספו את השאריות הם מילאו שבעה סלים!

39לאחר מכן שלח ישוע את האנשים לביתם, והוא עצמו עלה לסירה ושט למגדל.