Makko 2 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Makko 2:1-28

Yesu Awonya Omulwadde w’Olukonvuba

1Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka. 22:2 nny 13; Mak 1:45Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; n’ababuulira Enjiri. 32:3 Mat 4:24Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana. 4Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke. 52:5 Luk 7:48Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.” 6Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, 72:7 Is 43:25“Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?” 8Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? 9Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? 102:10 Mat 8:20Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti, 11“Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.” 122:12 a Mat 9:8 b Mat 9:33Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”

Yesu Ayita Leevi

132:13 Mak 1:45; Luk 5:15; Yk 6:2Awo Yesu n’addayo nate ku lubalama lw’ennyanja ekibiina ky’abantu ne bajja gy’ali, n’abayigiriza. 142:14 Mat 4:19Awo bwe yali ng’atambula n’alaba Leevi mutabani wa Alufaayo ng’atudde we yasoloolezanga omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Awo Leevi n’asituka n’amugoberera. 15Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Leevi nga bali ku mmere, ng’ali wamu n’abawooza, n’abalina ebibi, n’abayigirizwa be, ng’abantu bangi bamugoberedde, 162:16 a Bik 23:9 b Mat 9:11abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baalaba Yesu ng’alya n’abalina ebibi n’abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki alya n’abawooza n’abalina ebibi?” 172:17 Luk 19:10; 1Ti 1:15Yesu bwe yakiwulira n’abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”

Yesu Bamubuuza ku by’Okusiiba

182:18 Mat 6:16-18; Bik 13:2Abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali basiiba. Abantu ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n’abayigirizwa b’Abafalisaayo basiiba, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?” 19Awo Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala abali n’awasiza omugole bayinza batya okusiiba, ng’awasizza omugole ali nabo? 202:20 Luk 17:22Naye ekiseera kirituuka awasizza omugole bw’alibaggibwako; okuva olwo ne balyoka basiiba. 21Teri muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye olukadde kubanga ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kyeyongera okugaziwa. 22Teri muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba nkadde kubanga omwenge omusu gwabya ensawo enkadde, omwenge ne guyiika, n’ensawo ne ziyulika. Naye omwenge omusu baguteeka mu nsawo mpya.”

Yesu ye Mukama wa Ssabbiiti

232:23 Ma 23:25Awo mu biro ebyo Yesu yali ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne batandika okunoga ku birimba by’emmere ey’empeke. 242:24 Mat 12:2Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti.” 25Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalina okwetaaga n’enjala ng’emuluma, ye ne be yali nabo, 262:26 a 1By 24:6; 2Sa 8:17 b Lv 24:5-9 c 1Sa 21:1-6bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu biro bya Abiyasaali kabona omukulu, n’alya emigaati egy’okulaga n’awaako n’abo be yali nabo, egitakkirizibwa kuliibwako bantu balala okuggyako bakabona.” 272:27 a Kuv 23:12; Ma 5:14 b Bak 2:16N’abagamba nti, “Ssabbiiti yateekebwawo lwa muntu, so si omuntu ku lwa Ssabbiiti. 282:28 Mat 8:20Noolwekyo Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

馬可福音 2:1-28

治好癱子

1幾天後,耶穌回到迦百農。祂在家的消息一傳開, 2立刻有許多人蜂擁而來,連門外也擠滿了人。耶穌正給他們講道的時候, 3有四個人抬著一個癱瘓的人來見祂。 4但因為人太多,他們無法抬到耶穌跟前,就拆掉屋頂,對準耶穌所坐的地方,將癱子連墊子一起縋下去。 5耶穌看見他們的信心,就對癱子說:「孩子,你的罪被赦免了!」 6有幾個律法教師坐在那裡,心裡議論說: 7「這是什麼話?簡直是褻瀆上帝!除了上帝之外,誰能赦罪呢?」

8耶穌立刻看透了他們的心思,就說:「你們為什麼這樣心裡議論呢? 9對癱子說『你的罪得到赦免了』容易呢,還是說『起來,收拾你的墊子走吧』容易呢? 10但我要讓你們知道人子在世上有赦罪的權柄。」於是祂對癱子說: 11「我吩咐你起來收拾你的墊子回家去吧。」 12那人就站起來,馬上收拾好墊子,當著眾人的面走了出去。眾人都十分驚奇,讚美上帝說:「我們從來沒見過這樣的事!」

呼召利未

13耶穌又出去到了湖邊。有一大群人圍攏過來,祂就教導他們。 14耶穌往前走的時候,看見亞勒腓的兒子利未坐在收稅站裡工作,就對他說:「跟從我!」利未就起來跟從了耶穌。

15後來,利未請耶穌和祂的門徒到家裡坐席,同席的還有很多已經跟隨耶穌的稅吏和罪人。 16有幾位法利賽人的律法教師看見耶穌跟稅吏和罪人同席,就問耶穌的門徒:「祂怎麼會跟這些稅吏和罪人一起吃飯呢?」

17耶穌聽見了,就說:「健康的人不需要醫生,有病的人才需要。我來不是要召義人,乃是要召罪人。」

論禁食

18約翰的門徒和法利賽人都在禁食的時候,有人來問耶穌:「約翰的門徒和法利賽人的門徒禁食,為什麼你的門徒不禁食呢?」

19耶穌對他們說:「新郎還在的時候,賓客怎能在婚宴中禁食呢?新郎還跟他們在一起的時候,他們不該禁食。 20但有一天新郎將被帶走,那時他們就要禁食了。

21「沒有人會用新布來補舊衣服,因為新布會把舊衣服扯破,破洞會更大; 22也沒有人把新酒倒進舊皮囊裡,否則新酒會漲破舊皮囊,酒和皮囊都毀了。所以,新酒一定要裝在新皮囊裡。」

安息日的主

23一個安息日,耶穌和門徒走過一片麥田,門徒一邊走一邊搓麥穗吃。 24法利賽人批評耶穌說:「看看你的門徒,他們為什麼做安息日不准做的事?」

25耶穌回答說:「大衛和他的部下在饑餓、缺糧時所做的事,你們沒有讀過嗎? 26亞比亞他做大祭司時,他進入上帝的殿吃了獻給上帝的供餅,還給他的部下吃。這餅只有祭司才可以吃。 27安息日是為人設立的,人不是為安息日設立的。 28所以,人子也是安息日的主。」