Makko 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Makko 15:1-47

Yesu Atwalibwa eri Piraato

115:1 a Mat 27:1; Luk 22:66 b Mat 5:22 c Mat 27:2Amangwago mu makya olukiiko lwa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka lwe Lukiiko Olukulu lwonna, ne bakuŋŋaana ne basiba Yesu, ne bamuweereza ewa Piraato.

215:2 nny 9, 12, 18, 26; Mat 2:2Piraato n’abuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”

Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”

3Awo bakabona abakulu ne bamulumiriza ebintu bingi. 4Naye Piraato n’addamu n’amubuuza nti, “Lwaki toliiko ky’oddamu? Laba bakulumiriza ebintu bingi.”

515:5 Mak 14:61Naye Yesu n’asirika busirisi, era Piraato n’amwewuunya nnyo.

6Ku buli mbaga, Piraato yabateeranga omusibe omu gwe baabanga bamusabye. 7Omu ku basibe mu kiseera ekyo yali ayitibwa Balaba, eyali asibiddwa ne bajeemu banne olw’okutta abantu nga bakola obwegugungo. 8Awo Piraato n’agenda eri ekibiina n’ababuuza nga bwe yateranga okukola.

915:9 nny 2N’ababuuza nti, “Mwandyagadde mbasumululire kabaka w’Abayudaaya?” 10Kubanga yamanya nga bakabona abakulu bamuwaddeyo lwa buggya. 1115:11 Bik 3:14Naye bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina babateere Balaba sso ssi Yesu.

12Naye Piraato n’addamu n’ababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka w’Abayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?”

13Ne bawowoggana nti, “Mukomerere!”

14Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.”

1515:15 Is 53:6Awo Piraato okusanyusa ekibiina, n’abasumululira Balaba. N’awaayo Yesu akomererwe ng’amaze okumukuba.

Abaserikale baduulira Yesu

1615:16 Yk 18:28, 33; 19:9Awo Abaserikale ne batwala Yesu mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo, ne bayita bannaabwe bonna abakuuma olubiri, ne bakuŋŋaana. 17Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe. 1815:18 nny 2Ne balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka w’Abayudaaya!” 19Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira. 2015:20 Beb 13:12Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.

Yesu akomererwa ku musaalaba

2115:21 a Mat 27:32 b Bar 16:13 c Mat 27:32; Luk 23:26Bwe baali bagenda ne basanga omusajja erinnya lye Simooni ow’e Kuleene,15:21 Kuleene kyali kibuga kikulu mu nsi y’e Libiya esangibwa mu bukiikakkono bwa Ssemazinga Afirika. Kyalimu Abayudaaya bangi, era kirabika nga Simooni yali omu ku Bayudaaya abaabeeranga mu kibuga ekyo abaali bazze okukwata Embaga ey’Okuyitako mu Yerusaalemi kitaawe wa Alegezanda ne Luufo eyali ava mu kyalo, ne bamuwaliriza yeetikke omusaalaba gwa Yesu. 22Awo ne batwala Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo nti Ekifo ky’Ekiwanga. 2315:23 nny 36; Zab 69:21; Nge 31:6Ne baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye n’amugaana.15:23 Wayini atabuddwamu envumbo kyali kyakunywa ekyakendezanga ku bulumi. Envumbo kimera ekisangibwa mu ddungu ly’e Buwalabu ne mu bitundu ebimu ebya Afirika 2415:24 Zab 22:18Awo ne bamukomerera ku musaalaba.

Ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 25Baamukomerera ku ssaawa ssatu ez’enkya. 2615:26 nny 2Ne batimba ekipande waggulu w’omutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti,

“Kabaka w’Abayudaaya.”

27Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, n’omulala ku kkono. 28Bwe kityo Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti, “Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka.” 2915:29 a Zab 22:7; 109:25 b Mak 14:58; Yk 2:19Awo abaali bayitawo, ne bakoteka ku mitwe gyabwe nga bamuduulira, nga bwe bagamba nti, “Mumulaba! Wagamba okumenya Yeekaalu n’okugizimbira ennaku ssatu, 30weerokole, okke wansi okuva ku musaalaba.”

3115:31 Zab 22:7Bakabona abakulu n’abawandiisi nabo baali bayimiridde awo nga baduulira Yesu, nga bagamba nti, “Yalokola balala, naye ye tasobola kwerokola! 3215:32 a Mak 14:61 b nny 2Ggwe! Kristo, Kabaka wa Isirayiri! Kale kka ove ku musaalaba naffe tunaakukkiriza!” N’abanyazi ababiri abaakomererwa naye, nabo ne bamuvuma.

Okufa kwa Yesu

3315:33 Am 8:9Okuva ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu okutuukira ddala ku ssaawa mwenda ez’olweggulo, ekizikiza ne kikwata ensi yonna. 3415:34 Zab 22:1Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi eddene nti, “Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?” Amakulu nti, “Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?”

35Abamu ku bantu abaali bayimiridde awo bwe baamuwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”

3615:36 nny 23; Zab 69:21Awo ne wabaawo eyadduka n’addira ekyangwe n’akijjuza wayini omukaatuufu, n’akisonseka ku luti, n’akiwanika eri Yesu anyweko, nga bw’agamba nti, “Mumuleke, ka tulabe obanga Eriya anajja n’amuwannulayo!”

3715:37 Yk 19:30Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi ddene, n’awaayo obulamu bwe.

3815:38 Beb 10:19, 20Eggigi15:38 Eggigi ly’omu yeekaalu, lye lyayawulanga Ekifo Ekitukuvu n’Awatukuvu w’Awatukuvu. Okuyulikamu okw’ejjiji kyategeeza nga Kristo bwe yali ayingidde mu ggulu ku lwaffe, naffe tulyoke tuyingire mu Watukuvu w’Awatukuvu ery’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuviira ddala waggulu okutuuka wansi. 3915:39 a nny 45 b Mak 1:1, 11; 9:7; Mat 4:3Omuserikale Omuruumi eyakuliranga ekibinja ky’abaserikale ekikumi eyali ayimiridde okwolekera omusaalaba gwa Yesu, bwe yalaba enfa gye yafaamu, n’agamba nti, “Ddala ddala, omusajja ono abadde Mwana wa Katonda!”

4015:40 a Zab 38:11 b Mak 16:1; Luk 24:10; Yk 19:25Waaliwo abakazi abaali bayimiridde awo nga beesuddeko akabanga nga balengera, okwali Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose. 4115:41 Mat 27:55, 56; Luk 8:2, 3Abo baayitanga naye mu Ggaliraaya era nga bamuweereza, n’abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.

Okuziikibwa kwa Yesu

4215:42 Mat 27:62; Yk 19:31Awo bwe bwawungeera, kubanga lunaku lwa kuteekateeka, olunaku olukulembera Ssabbiiti, 4315:43 a Mat 5:22 b Mat 3:2; Luk 2:25, 38Yusufu ow’e Alimasaya, nga mukungu mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, naye eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda, n’aba muvumu n’agenda eri Piraato okusabayo omulambo gwa Yesu. 44Piraato ne yeewuunya nnyo okuba nti Yesu yafudde dda. N’atumya omuserikale Omuruumi eyali akulembera banne ekikumi, n’amubuuza obanga Yesu yafudde dda. 4515:45 nny 39Bwe yakikakasa okuva eri omuserikale, Piraato n’awa Yusufu omulambo. 4615:46 Mak 16:3Awo Yusufu n’agula olugoye olwa linena, n’amuggya ku musaalaba, n’amuzinga mu lugoye olwa linena, n’amuteeka mu ntaana eyali etemeddwa mu lwazi, n’ayiringisa ejjinja n’aggalawo omulyango gw’entaana. 4715:47 nny 40Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina Yose baaliwo era baalaba Yesu we yateekebwa.