Luusi 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Luusi 3:1-18

Luusi mu Gguuliro lya Bowaazi

13:1 Lus 1:9Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n’amugamba nti, “Lwaki sikunoonyeza maka ag’okubeeramu, bakulabiririre eyo? 23:2 Ma 25:5-10; Lus 2:1Ewa Bowaazi gy’obadde n’abaweereza be abawala, ye muganda waffe. Kale, ekiro kya leero ajja kuba ng’awewa sayiri mu gguuliro. 33:3 2Sa 14:2Kale naaba osaabe obuwoowo, era oyambale engoye zo ezisinga obulungi. Oluvannyuma oserengete mu gguuliro3:3 Sayiri yassibwanga ensolo nga zimulinnyirira emisana. N’oluvannyuma abarimi beeyambisanga empewo ey’akawungeezi okulondamu empeke. Empewo yafuwanga kasasiro n’erekawo empeke mu gguuliro; naye tomuganya kumanya nti wooli, okutuusa ng’amaze okulya n’okunywa. 4Oluvannyuma ng’agalamiddeko wansi, weetegereze ekifo w’agalamidde, ogende obikkule ku bigere bye emirannamiro, naawe ogalamire awo; anaakubuulira eky’okukola.”

53:5 Bef 6:1; Bak 3:20Awo Luusi n’amugamba nti, “Nzija kukola nga bw’ondagidde.” 6N’aserengeta mu gguuliro, n’akola byonna nga nnyazaala we bwe yamulagira.

73:7 Bal 19:6, 9, 22; 2Sa 13:28; 1Bk 21:7; Es 1:10Awo Bowaazi bwe yamala okulya n’okunywa, era nga musanyufu, n’agenda n’agalamira ku mabbali g’entuumo ye ŋŋaano. Luusi naye n’asooba mpola mpola, n’abikkula ku bigere bye, n’agalamira awo kumpi naye. 8Ekiro mu ttumbi, Bowaazi ne yeekanga, bwe yeekyusa n’alaba omukazi agalamidde kumpi n’ebigere bye.

93:9 a Ez 16:8 b nny 12; Lus 2:20N’amubuuza nti, “Ggwe ani?” Luusi n’addamu nti, “Nze Luusi omuweereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika3:9 Omusajja okuddira olugoye lwe n’alubikka omukyala, kaali kabonero akalaga ng’omusajja oyo bwe yeetegese okuwasa omukyala oyo.” 10Bowaazi n’amuddamu nti, “Mukama Katonda akuwe omukisa muwala ggwe, olw’ekisa ekinene kyondaze okusinga eky’olubereberye, kubanga togenze wa bavubuka, abagagga oba abaavu. 113:11 Nge 12:4; 31:10Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna ky’onoosaba. Abantu bange bonna ab’omu kibuga, bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza. 123:12 a nny 9 b Lus 4:1Kya mazima ddala ndi mununuzi wo, naye waliwo ansingako. 133:13 a Ma 25:5; Lus 4:5; Mat 22:24 b Bal 8:19; Yer 4:2Beera wano okutuusa obudde lwe bunaakya. Kale bw’anaayagala okukutwala, kinaaba kirungi; naye bw’anaaba nga tasiimye, Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, nnaakutwala.”

143:14 Bar 14:16; 2Ko 8:21N’agalamira kumpi n’ebigere bye okutuusa enkeera, naye n’agolokoka nga tebunnalaba addeyo eka. Naye Bowaazi n’amukuutira nti, “Kireme okumanyibwa nti omukazi yazzeeko mu gguuliro.” 15Era n’amugamba aleete omunagiro gw’ayambadde; n’agukwata, n’amugerera ebigero mukaaga ebya sayiri, n’abimutikka, oluvannyuma Luusi n’addayo mu kibuga.

16Bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi n’amubuuza nti, “Byagenze bitya muwala wange?” N’amubuulira ebintu byonna Bowaazi bye yamukoledde, 17era n’ayongerako nti, “Yampadde ebigero bino omukaaga ebya sayiri, n’aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”

183:18 Zab 37:3-5Nawomi n’amugamba nti, “Gumiikiriza, muwala wange, olabe ebigambo gye binakkira, kubanga leero omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa ensonga eyo lw’anagimala.”