Lukka 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Lukka 4:1-44

Okukemebwa kwa Yesu

14:1 a nny 14, 18 b Luk 3:3, 21 c Luk 2:27Awo Yesu, ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’avaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo n’amutwala mu ddungu, 24:2 Kuv 34:28; 1Bk 19:8n’akemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala n’emuluma.

3Setaani n’agamba Yesu nti, “Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.”

44:4 Ma 8:3Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ”

54:5 Mat 24:14Awo Setaani n’amulinnyisa waggulu, mu kaseera katono n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi. 64:6 Yk 12:31; 14:30; 1Yk 5:19Setaani n’amugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala. 7Bw’onoofukamira n’onsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo.”

84:8 Ma 6:13Naye Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw’oweerezanga yekka.’ ”

9Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi. 10Kubanga kyawandiikibwa nti,

“ ‘Katonda aliragira bamalayika be

bakukuume.

114:11 Zab 91:11, 12Era balikuwanirira mu mikono gyabwe,

oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’ ”

124:12 Ma 6:16Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”

134:13 a Beb 4:15 b Yk 14:30Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, n’amuviira okutuusa ekiseera ekirala.

Yesu Atandika Omulimu gwe mu Ggaliraaya

144:14 a Mat 4:12 b Mat 9:26Awo Yesu n’akomawo mu Ggaliraaya ng’ajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, n’ayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo. 154:15 Mat 4:23N’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna ne bamutendereza.

164:16 a Mat 2:23 b Mat 13:54Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma. 17Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula omuzingo gw’empapula n’alaba awagamba nti,

184:18 Yk 3:34“Omwoyo wa Mukama ali ku nze.

Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri.

Antumye okubuulira abasibe okuteebwa,

n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe,

n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,

194:19 Lv 25:10; Is 61:1, 2n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.”

204:20 nny 17; Mat 26:55N’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. 21N’atandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!”

224:22 Mat 13:54, 55; Yk 6:42; 7:15Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?”

234:23 a nny 16 b Mak 1:21-28; 2:1-12Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala muliyinza n’okuŋŋamba mu lugero luno nti, ‘Omusawo, weewonye,’ nga mugamba nti, ‘Buli kye twawulira mu Kaperunawumu, kikolere na wano mu kyalo kyo.’ ”

244:24 Mat 13:57; Yk 4:44Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe! 254:25 1Bk 17:1; 18:1; Yak 5:17, 18Naye mazima mbagamba nti, waaliwo bannamwandu bangi mu biseera bya nnabbi Eriya, mu Isirayiri enkuba bwe yamala emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, n’enjala n’egwa mu nsi yonna. 264:26 1Bk 17:8-16; Mat 11:21Naye nnabbi Eriya teyatumibwa eri omu ku bannamwandu abo, wabula yatumibwa eri nnamwandu ow’e Zalefaasi mu Sidoni. 274:27 2Bk 5:1-14Ne mu biseera bya nnabbi Erisa waaliwo abagenge4:27 kiyinza okuba endwadde endala ez’olususu bangi mu Isirayiri, naye tewali n’omu ku bo eyalongoosebwa okuggyako Naamani Omusuuli.”

28Bonna abaali mu kuŋŋaaniro ne bakwatibwa obusungu olw’ebigambo ebyo, 294:29 Kbl 15:35; Bik 7:58; Beb 13:12ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru w’ekibuga ku bbangabanga ly’olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi. 304:30 Yk 8:59; 10:39Naye n’abayitamu wakati ne yeetambulira.

Yesu Agoba Dayimooni

314:31 nny 23; Mat 4:13Awo Yesu n’alaga e Kaperunawumu, ekibuga eky’e Ggaliraaya n’abayigirizanga ku nnaku eza Ssabbiiti. 324:32 a Mat 7:28 b nny 36; Mat 7:29Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza.

33Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko ddayimooni n’atandika okuwowoggana nti, 344:34 a Mat 8:29 b Mak 1:24 c Yak 2:19 d nny 41; Mak 1:24“Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu ow’e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.”

354:35 nny 39, 41; Mat 8:26; Luk 8:24Yesu n’amuboggolera ng’agamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni n’asuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, n’amuvaako nga tamulumizza.

364:36 a Mat 7:28 b nny 32; Mat 7:29; 10:1Buli muntu n’atya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira n’obuyinza n’amaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.” 374:37 nny 14; Mat 9:26Amawulire agakwata ku Yesu ne gabuna mu kitundu ekyo kyonna ekyetoolodde awo.

Yesu Awonya Abalwadde Bangi

38Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, n’alaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe. 394:39 nny 35, 41Yesu n’ayimirira okumpi n’omulwadde we yali, n’alagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde n’awona, n’asituka n’abaweereza!

404:40 a Mak 5:23 b Mat 4:23Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde ab’endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, n’abassaako emikono buli omu n’amuwonya. 414:41 a Mat 4:3 b nny 35 c Mat 8:4Abamu baaliko baddayimooni, Yesu n’abalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, n’atabaganya kukyogerako.

42Bwe bwakya Yesu n’alaga mu kifo etali bantu. Ekibiina ky’abantu ne bamunoonya, okutuusa lwe baamulaba ne balaga gy’ali ne bamwegayirira aleme kubavaako. 434:43 Mat 3:2Naye n’abaddamu nti, “Kinsaanira okubuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda ne mu bifo ebirala kubanga eyo y’ensonga kyenava ntumibwa.” 444:44 Mat 4:23Yesu ne yeeyongera okubuulira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Buyudaaya.