Lukka 19 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Lukka 19:1-48

Zaakayo Omusolooza w’Omusolo

119:1 Luk 18:35Awo Yesu n’atuuka mu kibuga Yeriko, n’ayitamu. 2Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo. 3N’afuba okulaba Yesu, naye n’atasobola ng’ali mu kibiina ky’abantu kubanga yali mumpi. 419:4 a 1Bk 10:27; 1By 27:28; Is 9:10 b Luk 18:37Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ng’ayitawo.

5Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.” 6Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu.

719:7 Mat 9:11Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.”

819:8 a Luk 7:13 b Luk 3:12, 13 c Kuv 22:1; Lv 6:4, 5; Kbl 5:7; 2Sa 12:6Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”

919:9 Luk 3:8; 13:16; Bar 4:16; Bag 3:7Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu. 1019:10 Ez 34:12, 16; Yk 3:17Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”

Olugero lw’Ensimbi

1119:11 a Mat 3:2 b Luk 17:20; Bik 1:6Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu n’abagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo. 12N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo. 1319:13 Mak 13:34Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera mina19:13 Mina ye yali empeera eyaweebwanga omukozi oluvannyuma lw’emyezi esatu kkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’

14“Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’

15“Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu.

16“Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’

1719:17 a Nge 27:18 b Luk 16:10“Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’

18“Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’

19“Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’

20“Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi. 2119:21 Mat 25:24Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’

2219:22 a 2Sa 1:16; Yob 15:6 b Mat 25:26“Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga, 23kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’

24“N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’

25“Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’

2619:26 Mat 13:12; 25:29; Luk 8:18“N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako. 27Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’ ”

Yesu Ayingira mu Yerusaalemi n’Ekitiibwa

2819:28 Mak 10:32; Luk 9:51Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’atambula ng’akulembedde abayigirizwa be okwolekera Yerusaalemi. 2919:29 a Mat 21:17 b Mat 21:1Bwe yali asemberera ebibuga Besufaage ne Besaniya ng’ali ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n’atuma abayigirizwa be babiri n’abagamba nti, 30“Mugende mu kabuga akatuli mu maaso bwe munaaba mwakakayingira, munaalaba omwana gw’endogoyi, oguteebagalwangako, nga gusibiddwa awo. Mugusumulule, muguleete wano. 31Singa wabaawo ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ Mumuddamu nti, ‘Mukama waffe agwetaaga.’ ”

3219:32 Luk 22:13Awo abaatumibwa ne bagenda ne basanga omwana gw’endogoyi nga Yesu bwe yabagamba. 33Era bwe baali nga bagusumulula bannannyini gwo ne bababuuza nti, “Lwaki musumulula omwana gw’endogoyi ogwo?”

34Ne baddamu nti, “Mukama waffe agwetaaga.”

35Omwana gw’endogoyi ne baguleeta eri Yesu, ne bagwaliirako eminagiro gyabwe, Yesu n’agwebagala. 3619:36 2Bk 9:13Bwe yali ng’agenda, abantu ne baaliira ebyambalo byabwe mu luguudo.

3719:37 Mat 21:1Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky’abayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi ery’omwanguka olw’ebyamagero bye yali akoze nga boogera nti,

3819:38 a Zab 118:26; Luk 13:35 b Luk 2:14“Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!”

“Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!”

3919:39 Mat 21:15, 16Naye abamu ku Bafalisaayo abaali mu kibiina ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, lagira abayigirizwa bo basirike!”

4019:40 Kbk 2:11Yesu n’abaddamu nti, “Mbategeeza nti ssinga bo basirika, amayinja gano ganaaleekaana!”

Yesu Akaabira Yerusaalemi

4119:41 Is 22:4; Luk 13:34, 35Awo Yesu bwe yali ng’asemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, n’akikaabira. 42N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba. 4319:43 Is 29:3; Yer 6:6; Ez 4:2; 26:8; Luk 21:20Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda, 4419:44 a Zab 137:9 b Mat 24:2; Mak 13:2; Luk 21:6 c 1Pe 2:12ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”

Yesu mu Yeekaalu

45Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abaali batundiramu. 4619:46 a Is 56:7 b Yer 7:11N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga ya kusinzizangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’ ”

4719:47 a Mat 26:55 b Mat 12:14; Mak 11:18Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bagezaako okufuna akaagaanya we banaamuttira. 48Naye ne balemwa kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwuliriza.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

路加福音 19:1-48

撒該悔改

1耶穌進了耶利哥,正從城裡經過。 2有個人名叫撒該,是稅吏長,家財豐厚。 3他想看看耶穌,可是因為周圍人多,他身材矮小,無法看見。 4他便跑到前面,爬上一棵桑樹觀看,因為耶穌會從那裡經過。

5耶穌走到那裡,抬頭招呼他說:「撒該,快下來!今天我要住在你家。」

6撒該連忙爬下來,興高采烈地帶耶穌回家。 7百姓見狀,都埋怨說:「祂怎麼到一個罪人家裡作客?」

8撒該站起來對主說:「主啊,我要把我一半的財產分給窮人。我欺騙過誰,就還誰四倍。」

9耶穌說:「今天救恩臨到這家了,因為他也是亞伯拉罕的子孫。 10人子來是要尋找和拯救迷失的人。」

十個奴僕的比喻

11眾人在聽的時候,耶穌又為他們講了一個比喻,因為祂快到耶路撒冷了,人們以為上帝的國馬上就要降臨了。

12耶穌說:「有一位貴族要到遠方去受封為王,然後返回。 13臨行前,他召集了十個奴僕,發給每人一千個銀幣,吩咐他們,『你們在我出門期間要用這些錢做生意。』

14「可是他的人民卻憎恨他,他們隨後派一個代表團去請願說,『我們不要這人作我們的王。』

15「那貴族受封為王回來後,召齊十個奴僕,想知道他們做生意賺了多少。 16第一個奴僕上前稟告說,『主啊,我用你給我的一千個銀幣賺了一萬個銀幣。』

17「主人說,『好,你真是個好奴僕!你既然在小事上忠心,就派你管理十座城。』

18「第二個奴僕上前說,『主啊,我用你給我的一千個銀幣賺了五千個銀幣。』

19「主人說,『我派你管理五座城。』

20「另一個奴僕上前說,『主啊,這是你先前給我的一千個銀幣,我一直把它包在手帕裡。 21因為你很嚴厲,沒有存還要取,沒有種還要收,所以我怕你。』

22「主人聽了,對那奴僕說,『你這個惡奴僕!我要按你自己的話定你的罪。你既然知道我很嚴厲,沒有存還要取,沒有種還要收, 23為什麼不把我的銀幣存進錢莊,到我回來時可以連本帶利收回來?』

24「接著,他吩咐站在旁邊的奴僕,『收回他那一千個銀幣,賞給那個賺了一萬銀幣的。』

25「他們說,『主啊,那個人已經有一萬銀幣了。』

26「主人答道,『我告訴你們,凡有的,還要給他更多;凡沒有的,連他僅有的也要奪走。 27至於那些反對我作王的仇敵,把他們捉回來,在我面前處決。』」

騎驢進耶路撒冷

28耶穌說完這個比喻,就走在眾人前面上耶路撒冷去。

29快到橄欖山附近的伯法其伯大尼時,耶穌派了兩個門徒,說: 30「你們去前面的村莊,進村的時候,必看見一頭從來沒有人騎過的驢駒拴在那裡,你們把牠解開牽來。 31若有人問你們為什麼把牠解開,就說,『主要用牠。』」

32兩個門徒出去後,所遇見的情形正如耶穌所說的。 33當他們解開驢駒時,主人果然問他們:「你們為什麼解開驢駒?」

34他們說:「主要用牠。」

35他們牽著驢駒回去見耶穌,又把自己的外衣搭在驢背上,扶耶穌上驢。

36耶穌騎著驢前行,眾人用外衣為祂鋪路。 37祂正走下橄欖山,將近耶路撒冷的時候,眾門徒因為以往所見的神蹟奇事,就歡騰起來,高聲讚美上帝:

38「奉主名來的王當受稱頌!

天上有平安,至高處有榮耀!」

39百姓中有幾個法利賽人對耶穌說:「老師,你要責備你的門徒。」

40耶穌說:「我告訴你們,如果他們閉口不言,這些石頭都要呼喊了!」

為耶路撒冷哀哭

41耶穌快到耶路撒冷時,看見那城就哀哭, 42說:「今天你若知道那能帶給你平安的事就好了!可惜這事現在是隱藏的,你看不見! 43因為有一天敵人要在你周圍築起壁壘把你團團圍住,四面攻擊你。 44他們要把你夷為平地,毀滅你城牆裡的兒女,不會留下兩塊疊在一起的石頭,因為你沒有認識到上帝眷顧你的時刻。」

耶穌潔淨聖殿

45耶穌進入聖殿趕走裡面做買賣的人, 46並對他們說:「聖經上說,『我的殿要成為禱告的殿』,你們竟把它變成了賊窩。」

47祂天天在聖殿教導人,祭司長、律法教師和百姓的官長都想殺祂, 48只是無從下手,因為百姓都十分喜愛聽祂講道。