Koseya 8 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 8:1-14

Isirayiri Akungula Embuyaga

18:1 a Ma 28:49; Yer 4:13 b Kos 4:6; 6:7“Ffuwa ekkondeere.

Empungu eri ku nnyumba ya Mukama

kubanga abantu bamenye endagaano yange

ne bajeemera amateeka gange.

2Isirayiri bankaabira nga boogera nti,

‘Katonda waffe, tukumanyi.’

3Naye Isirayiri baleseeyo ekirungi;

omulabe kyaliva abayigganya.

48:4 a Kos 13:10 b Kos 2:8Balonda bakabaka nga sikkirizza,

balonda abakulembeze be sikakasizza.

Beekolera ebifaananyi ebyole

mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.

58:5 a Kos 10:5 b Yer 13:27Kanyuga ebweru ekifaananyi ky’ennyana yo, ggwe Samaliya.

Obusungu bwange bubabuubuukirako.

Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?

6Bava mu Isirayiri.

Ennyana eyo omuntu eyakuguka mu by’okuweesa, ye yagikola

so si Katonda.

Era ennyana eyo eya Samaliya

eribetentebwa.

78:7 a Nge 22:8; Is 66:15; Kos 10:12-13; Nak 1:3 b Kos 2:9“Basiga empewo,

ne bakungula embuyaga.

Ekikolo olw’obutaba na mutwe,

kyekiriva kirema okubala ensigo.

Naye ne bwe kyandibaze,

bannaggwanga bandigiridde.

88:8 a Yer 51:34 b Yer 22:28Isirayiri amaliddwawo;

ali wakati mu mawanga

ng’ekintu ekitagasa.

9Bambuse ne bagenda eri Obwasuli,

ng’endogoyi ey’omu nsiko eri yokka.

Efulayimu aguliridde abaganzi.

108:10 a Ez 16:37; 22:20 b Yer 42:2Newaakubadde nga beetunze eri amawanga,

ndibakuŋŋaanya,

era ndibawaayo eri okubonaabona

nga banyigirizibwa kabaka ow’amaanyi.

118:11 Kos 10:1; 12:11“Newaakubadde nga Efulayimu baazimba ebyoto bingi eby’ebiweebwayo olw’ekibi,

bifuuse byoto bya kukolerako bibi.

12Nabawandiikira ebintu bingi mu mateeka gange,

naye ne babifuula ekintu ekigwira.

138:13 a Yer 7:21 b Kos 7:2 c Kos 4:9 d Kos 9:3, 6Bawaayo ebiweebwayo gye ndi,

ne balya ennyama yaabyo,

Mukama tabasanyukira.

Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe

n’ababonereza olw’ebibi byabwe:

Baliddayo e Misiri.

148:14 a Ma 32:18; Kos 2:13 b Yer 17:27Isirayiri yeerabidde omutonzi we,

n’azimba embiri,

ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe;

naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe,

ne gwokya ebigo byabwe.”