Koseya 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 2:1-23

12:1 nny 23“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”

Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe

22:2 a nny 5; Is 50:1; Kos 1:2 b Ez 23:45Munenye nnyammwe,

mumunenye,

kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.

Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,

n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;

32:3 a Ez 16:4, 22 b Is 32:13-14nneme okumwambulira ddala

ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa;

ne mmufuula ng’eddungu,

ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa,

ne mmussa ennyonta.

42:4 Ez 8:18Sirilaga kwagala kwange eri abaana be,

kubanga baana ba bwenzi.

52:5 a Yer 3:6 b Yer 44:17-18Nnyabwe yakola obwenzi,

n’abazaalira mu buwemu.

Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi,

n’ebimbugumya n’ebyokwambala,

n’amafuta n’ekyokunywa.”

62:6 Yob 3:23; 19:8; Kgb 3:9Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa,

ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.

72:7 a Kos 5:13 b Yer 2:2; 3:1 c Ez 16:8Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,

naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.

Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,

kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi

okusinga bwe ndi kaakano.”

82:8 a Is 1:3 b Ez 16:15-19; Kos 8:4Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano,

ne wayini n’amafuta,

era eyamuwa effeeza ne zaabu

bye baakozesanga okuweerezanga Baali.

92:9 a Kos 8:7 b Kos 9:2“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde,

ne wayini wange ng’atuuse;

era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo,

bye yayambalanga.

102:10 Ez 16:37Era kyenaava nyanika obukaba bwe

mu maaso ga baganzi be,

so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.

112:11 a Yer 7:34 b Is 1:14; Yer 16:9; Kos 3:4; Am 8:10Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,

n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,

n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.

122:12 a Is 7:23; Yer 8:13 b Is 5:6 c Kos 13:8Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye,

gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’

Ndibizisa,

era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.

132:13 a Kos 11:2 b Ez 16:17 c Kos 4:13 d Kos 4:6; 8:14; 13:6Ndimubonereza olw’ennaku

ze yayotereza obubaane eri Babaali,

ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,

n’agenda eri baganzi be,

naye nze n’aneerabira,”

bw’ayogera Mukama.

14Kale kyendiva musendasenda,

ne mmutwala mu ddungu,

ne njogera naye n’eggonjebwa.

152:15 a Yos 7:24, 26 b Kuv 15:1-18 c Yer 2:2 d Kos 12:9Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,

ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli2:15 Akoli kitegeeza emitawaana oluggi olw’essuubi.

Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,

era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.

16“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,

“olimpita nti, ‘mwami wange;’

toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”

172:17 a Kuv 23:13; Zab 16:4 b Yos 23:7Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke,

so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.

182:18 a Yob 5:22 b Is 2:4 c Yer 23:6; Ez 34:25Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano

n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,

n’ebyewalula ku ttaka,

era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,

bonna ne batuula mirembe.

192:19 a Is 62:4 b Is 1:27Era ndikwogereza ennaku zonna,

ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,

ne mu kwagala ne mu kusaasira.

202:20 Yer 31:34; Kos 6:6; 13:4Ndikwogereza mu bwesigwa,

era olimanya Mukama.

212:21 Is 55:10; Zek 8:12“Ku lunaku olwo,

ndyanukula eggulu,

nalyo ne lyanukula ensi;

222:22 Yer 31:12; Yo 2:19ensi erimeramu emmere ey’empeke,

ne wayini n’amafuta,

nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,2:22 Yezuleeri kitegeeza Katonda asimba

bw’ayogera Mukama.

232:23 a Yer 31:27 b Kos 1:6 c Kos 1:10 d Bar 9:25*; 1Pe 2:10“Ndimwesimbira mu nsi,

ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa,

era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’

era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”