Koseya 12 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 12:1-14

112:1 a Ez 17:10 b 2Bk 17:4Efulayimu alya mpewo;

agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna,

era bongera ku bulimba ne ku ttemu.

Bakola endagaano n’Obwasuli,

n’aweereza n’amafuta e Misiri.

212:2 a Mi 6:2 b Kos 4:9Mukama alina ensonga ne Yuda,

era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.

Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.

312:3 a Lub 25:26 b Lub 32:24-29Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro,

ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.

412:4 Lub 28:12-15; 35:15Yameggana ne malayika n’amuwangula,

n’akaaba n’amwegayirira.

Yamusisinkana e Beseri,

n’ayogera naye.

512:5 Kuv 3:15Mukama Katonda ow’Eggye,

Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.

612:6 a Mi 6:8 b Kos 6:1-3; 10:12; Mi 7:7Naye oteekwa okudda eri Katonda wo;

kuuma okwagala n’obwenkanya,

olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.

712:7 Am 8:5Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,

era anyumirwa okukumpanya.

812:8 Zab 62:10; Kub 3:17Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti,

“Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.

Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi

wadde okwonoona kwonna.”

912:9 a Lv 23:43; Kos 11:1 b Nek 8:17Nze Mukama Katonda wo,

eyakuggya mu Misiri;

ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,

nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.

1012:10 a Ez 20:49 b 2Bk 17:13; Yer 7:25Nayogera eri bannabbi,

ne mbawa okwolesebwa kungi,

ne mbagerera engero nga mpita mu bo.

1112:11 a Kos 6:8 b Kos 4:15 c Kos 8:11Gireyaadi butali butuukirivu

era n’abantu baamu butaliimu.

Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka,

era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.

1212:12 a Lub 28:5 b Lub 29:18Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;12:12 Alamu bwe bukiikakkono obw’ebugwanjuba bwa Mesopotamiya

Isirayiri yaweereza okufuna omukazi,

era okumufuna yalundanga ndiga.

1312:13 Kuv 13:3; Is 63:11-14Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,

era n’akozesa nnabbi okumukuuma.

1412:14 a Ez 18:13 b Dan 11:18Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza,

Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa,

n’amusasula olw’obunyoomi bwe.