Koseya 10 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 10:1-15

110:1 a Ez 15:2 b 1Bk 14:23 c Kos 8:11; 12:11Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde,

ogwabala ebibala byagwo.

Ebibala bye gye byeyongera obungi,

naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto;

n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga,

gye yeeyongera okulungiya empagi ze.

210:2 a 1Bk 18:21 b Kos 13:16 c nny 8 d Mi 5:13Omutima gwabwe mulimba,

era ekiseera kituuse omusango gubasinge.

Mukama alimenya ebyoto byabwe,

era alizikiriza empagi zaabwe.

3Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka

kubanga tetwatya Mukama.

Naye ne bwe twandibadde ne kabaka,

yanditukoleddeyo ki?”

410:4 a Kos 4:2 b Ez 17:19; Am 5:7Basuubiza bingi,

ne balayirira obwereere

nga bakola endagaano;

emisango kyegiva givaayo

ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.

510:5 a Kos 5:8 b 2Bk 23:5 c Kos 8:5; 9:1, 3, 11Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa

olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni.

Abantu baayo baligikungubagira,

ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala,

abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira,

kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.

610:6 a Kos 11:5 b Kos 5:13 c Is 30:3; Kos 4:7Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli

n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo.

Efulayimu aliswazibwa

ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.

710:7 Kos 13:11Samaliya ne kabaka we balitwalibwa

ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.

810:8 a 1Bk 12:28-30; Kos 4:13 b Kos 9:6 c nny 2; Is 32:13 d Luk 23:30*; Kub 6:16Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo,

kye kibi kya Isirayiri.

Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe,

ne gabibikka.

Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,”

n’obusozi nti, “Mutugweko.”

910:9 Kos 5:8Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri

era eyo gye wagugubira.

Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?

1010:10 Ez 5:13; Kos 4:9Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza;

amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo,

ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.

11Efulayimu nnyana ntendeke

eyagala okuwuula;

kyendiva nteeka ekikoligo

mu nsingo ye ennungi.

Ndigoba Efulayimu

ne Yuda ateekwa okulima

ne Yakobo ateekwa okukabala.

1210:12 a Nge 11:18 b Yer 4:3 c Kos 12:6 d Is 45:8Musige ensigo ez’obutuukirivu,

mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo;

mukabale ettaka lyammwe eritali ddime,

kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama,

okutuusa lw’alidda

n’abafukako obutuukirivu.

1310:13 a Yob 4:8; Kos 7:3; 11:12; Bag 6:7-8 b Zab 33:16Naye mwasimba obutali butuukirivu

ne mukungula ebibi,

era mulidde ebibala eby’obulimba.

Olw’okwesiga amaanyi go,

n’abalwanyi bo abangi,

1410:14 a Is 17:3 b Kos 13:16olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu,

n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa,

nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo,

abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.

1510:15 nny 7Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri

kubanga ekibi kyo kinene nnyo.

Olunaku olwo bwe lulituuka,

kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

何西阿书 10:1-15

1以色列是茂盛的葡萄树,硕果累累。

可是,他结果越多,

建造的祭坛就越多;

土地出产越丰富,

他就把神柱装饰得越美丽。

2他们心怀诡诈,必受惩罚。

耶和华要拆毁他们的祭坛,

打碎他们的神柱。

3那时他们会说:

“我们没有君王,

因为我们不敬畏耶和华。

君王能为我们做什么呢?”

4他们说虚话,起假誓,立空盟,

因此不法之事滋长,

犹如田间犁沟中蔓延的毒草。

5撒玛利亚的居民要因伯·亚文的牛犊偶像而恐惧颤抖;

祭拜它的人要哀伤,

供奉它的祭司要痛哭,

因为它的荣耀将离开他们。

6它要被带到亚述去,

作为贡物献给强大的亚述王。

以法莲因此而受人嘲笑,

以色列因自己的偶像而蒙羞。

7撒玛利亚和它的君王要被毁灭,

像漂浮在水面上的枯枝一样消逝。

8亚文10:8 亚文”指伯·亚文,伯·亚文的意思见本卷书4:15节脚注。的丘坛——以色列犯罪之地要被拆毁。

他们的祭坛上要长满荆棘和蒺藜。

他们要向高山说:“遮盖我们吧!”

对小丘说:“倒在我们身上吧!”

9耶和华说:

以色列人啊,从基比亚的日子以来,

你们一直不断地犯罪,从未改变。

难道战祸没有临到基比亚的邪恶之辈吗?

10我要按自己的心意惩罚你们。

列国要联合攻击你们,

惩罚你们的重重罪恶。

11以法莲本是驯服的母牛犊,喜欢打谷,

现在我要把轭套在它肥美的颈项上。

我要使犹大耕田,使雅各10:11 雅各”在旧约中常与“以色列”互换使用,有时指以色列人的先祖雅各,有时指以色列民族。本节的以法莲和雅各都代指北国以色列。耙地。”

12你们要为自己种植公义,

就能收获慈爱。

现在是寻求耶和华的时候,

你们要犁开刚硬的心田,

等祂来使公义如雨浇灌你们。

13可是,你们种的是邪恶,

收的是不义,

吃的是谎言的果实。

因为你们倚靠自己的力量,

仰仗众多的勇士。

14因此,战争的喧嚣将从你们中间传出,

你们的一切堡垒将被摧毁,

恰如沙勒幔摧毁伯·亚比勒

将城中的母子一同摔死。

15伯特利10:15 伯特利”此处代指以色列人。啊,你罪大恶极,

必将遭遇同样的下场。

那日来临时,以色列的王将被彻底消灭。