Isaaya 62 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 62:1-12

Erinnya lya Sayuuni Eriggya

162:1 Is 1:26Ku lwa Sayuuni ssiisirike,

era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule,

okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala,

obulokozi bwe ng’ettaala eyaka.

262:2 a Is 52:10; 60:3 b nny 4, 12Amawanga galiraba obutuukirivu bwo,

era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo.

Oliyitibwa erinnya epya

akamwa ka Mukama lye kalikuwa.

362:3 Is 28:5; Zek 9:16; 1Bs 2:19Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama,

enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.

462:4 a Is 54:6 b Yer 32:41; Zef 3:17 c Yer 3:14; Kos 2:19Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa,

ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika.

Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira,

n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa.

Kubanga Mukama akusanyukira

era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.

562:5 Is 65:19Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto

bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira.

Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza,

bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.

662:6 Is 52:8; Ez 3:17Ntadde abakuumi ku bbugwe wo,

ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro.

Mmwe abakoowoola Mukama

temuwummula.

762:7 Mat 15:21-28; Luk 18:1-8Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi

era ng’agifudde ettendo mu nsi.

862:8 Ma 28:30-33; Is 1:7; Yer 5:17Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo

era n’omukono gwe ogw’amaanyi:

“Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo,

era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.

9Naye abo abagikungula be baligirya

ne batendereza Mukama,

n’abo abanoga emizabbibu

be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”

1062:10 a Is 60:11 b Is 11:16; 57:14 c Is 11:10Muyiteemu, muyite mu miryango mugende!

Muzimbe oluguudo,

mulugyemu amayinja.

Muyimusize amawanga ebbendera.

1162:11 a Zek 9:9; Mat 21:5 b Kub 22:12 c Is 40:10Laba Mukama alangiridde

eyo yonna ensi gy’ekoma,

nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti,

‘Laba omulokozi wo ajja,

Laba aleeta n’ebirabo bingi,

n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”

1262:12 a nny 4 b 1Pe 2:9 c Is 35:9 d Is 42:16Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu,

Abanunule ba Mukama,

ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala,

Ekibuga Ekitakyali ttayo.