Isaaya 53 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 53:1-12

153:1 a Bar 10:16* b Yk 12:38*Ani akkiriza ebigambo byaffe,

era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?

253:2 Is 52:14Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu

era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu.

Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali;

tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.

353:3 a nny 4, 10; Luk 18:31-33 b Zab 22:6; Yk 1:10-11Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike.

Tetwayagala na kumutunulako,

ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo,

bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.

453:4 a Mat 8:17* b Yk 19:7Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,

obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.

Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe

kyali kibonerezo okuva eri Katonda.

553:5 a Bar 4:25; 1Ko 15:3; Beb 9:28 b 1Pe 2:24-25Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.

Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.

Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.

Ebiwundu bye, bye bituwonya.

6Ffenna twawaba ng’endiga;

buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye;

Mukama n’amuteekako

obutali butuukirivu bwaffe ffenna.

753:7 Mak 14:61Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa

naye talina kye yanyega,

yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa,

era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika,

bw’atyo bwe yasirika.

853:8 a Dan 9:26; Bik 8:32-33* b nny 12Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa.

Ani amanyi ku bye zadde lye?

Yaggyibwa mu nsi y’abalamu,

ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.

953:9 a Mat 27:57-60 b Is 42:1-3 c 1Pe 2:22*Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi,

n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe,

newaakubadde nga teyazza musango

wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.

1053:10 a Is 46:10 b nny 5 c nny 3 d Zab 22:30Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta,

era n’okumuleetera okubonaabona.

Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde,

era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.

1153:11 a Yk 10:14-18 b Bar 5:18-19Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe,

bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera.

Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu;

era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.

1253:12 a Baf 2:9 b Mat 26:28, 38, 39, 42 c Mak 15:27*; Luk 22:37*; 23:32Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi,

era aligabira bangi omunyago

kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa,

n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi.

Era yeetikka ebibi by’abangi

era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 53:1-12

受苦的仆人

1谁相信我们所传的呢?

耶和华的大能向谁彰显过呢?

2祂像嫩芽一样在耶和华面前长大,

像生长在旱地里的根。

祂没有轩昂俊美的外表可以吸引我们,

没有令我们羡慕的容貌。

3祂被藐视,遭人厌弃,

饱受痛苦,历尽忧患。

人们对祂不屑一顾,

我们也不尊重祂。

4其实祂担当了我们的忧患,

背负了我们的痛苦。

我们却以为是上帝责罚、

击打、苦待祂。

5谁知祂是因我们的过犯而被刺透,

因我们的罪恶而被压伤。

我们因祂所受的刑罚而得到平安,

因祂所受的鞭伤而得到医治。

6我们都像迷路的羊,

各人偏行己路,

但上帝却让祂承担我们众人的罪恶。

7祂遭欺压、受痛苦,

却默然不语,

像被人牵去宰杀的羔羊,

又如在剪毛人手下一声不吭的绵羊。

8祂被逮捕,受审判,被处死。

祂那个世代的人谁会想到祂受鞭打、

从世上被除去是因为我百姓的过犯呢?

9虽然祂没有做过残暴之事,

口中也没有诡诈,

人却将祂与恶人同葬,

祂死后葬在富人的墓穴。

10然而,祂被压伤、

受痛苦是耶和华的旨意;

祂的性命作了赎罪祭53:10 祂的性命作了赎罪祭”或译“耶和华以祂的性命作赎罪祭”。

祂必看见自己的后裔,

祂必长久活着。

耶和华的旨意必在祂手中实现。

11祂必看见自己劳苦的成果,

并心满意足。

耶和华说:“我公义的仆人必凭祂的知识使许多人被算为义人,

祂要担当他们的罪恶。

12我要使祂与伟人同享尊荣,

跟强者同分战利品,

因为祂奉献了自己的生命。

祂被列在罪犯中,

却担当了许多人的罪,

又为罪人代求。”