Isaaya 28 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 28:1-29

Zikusanze Efulayimu

128:1 a nny 3; Is 9:9 b Is 9:4 c Kos 7:5Zikusanze engule ey’amalala g’abatamiivu aba Efulayimu,

zikusanze ekimuli ekiwotoka28:1 Ekimuli ekiwotoka, ye Samaliya. eky’obulungi bw’ekitiibwa kye,

ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu,

Zikusanze ekibuga ky’abo abatamiivu.

228:2 a Is 40:10 b Is 30:30; Ez 13:11 c Is 29:6 d Is 8:7Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala,

ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza,

ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba,

bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi.

328:3 nny 1Engule ey’amalala ey’abatamiivu ba Efulayimu

aligibetenta n’ebigere bye.

428:4 a nny 1 b Kos 9:10; Nak 3:12Ekimuli ekyo ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye

ekiri waggulu w’ekiwonvu ekigimu,

kiriba ng’ettiini erisooka okwengera nga n’amakungula tegannatuuka,

era omuntu bw’aliraba alinoga n’alirya.

528:5 Is 62:3Mu biro ebyo Mukama Katonda ow’Eggye

aliba ngule ya kitiibwa,

engule ennungi

ey’abantu be abaasigalawo.

628:6 a Is 11:2-4; 32:1, 16 b Yk 5:30 c 2By 32:8Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya

oyo atuula n’asala emisango,

Aliba nsibuko ya maanyi

eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki.

728:7 a Is 22:13 b Is 56:10-12 c Is 24:2 d Is 9:15 e Is 29:11; Kos 4:11Ne bano nabo batagala olw’omwenge,

era bawabye olw’ekitamiiza;

Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza,

era bawabye olw’omwenge;

bawabye olw’ekitamiiza,

batagala ne bava mu kwolesebwa,

era tebasalawo nsonga.

828:8 Yer 48:26Weewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye,

tewakyali kifo kiyonjo.

928:9 a nny 26; Is 30:20; 48:17; 50:4; 54:13 b Zab 131:2 c Beb 5:12-13“Ani gw’agezaako okuyigiriza?

Ani gw’annyonnyola obubaka bwe?

Abaana abaakalekayo okuyonka

oba abo abaakaggibwa ku mabeere?

10Kubanga kola okole, kola okole

Ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro,

Wano katono na wali katono.”

1128:11 a Is 33:19 b 1Ko 14:21*Weewaawo, Katonda alyogera eri abantu abo

n’emimwa emigenyi mu lulimi olugwira,

1228:12 Is 11:10; Mat 11:28-29abo be yagamba nti,

Kino kye kifo eky’okuwummuliramu eri oyo akooye,

era kye kifo eky’okuwerera

naye ne bagaana okuwuliriza.

1328:13 a Mat 21:44 b Is 8:15Noolwekyo ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali

kola okole, kola okole,

ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro,

wano katono na wali katono,

balyoke bagende bagwe kya bugazi,

era balitegebwa, era ne batuukako ebisago ne bawambibwa.

1428:14 Is 1:10Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abantu abanyoomi,

mmwe abafuga abantu ababeera mu Yerusaalemi ne mubanyooma.

1528:15 a nny 2, 18; Is 8:7-8; 30:28; Dan 11:22 b Is 9:15 c Is 29:15Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.”

1628:16 a Zab 118:22; Is 8:14-15; Mat 21:42; Bik 4:11; Bef 2:20 b Bar 9:33*; 10:11*; 1Pe 2:6*Mukama Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja,

ejjinja eryagezesebwa, ery’oku nsonda,

ery’omuwendo, okuba omusingi;

oyo alyesiga taliterebuka.

1728:17 a Is 5:16 b 2Bk 21:13Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima,

n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza,

era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba,

n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.

1828:18 a Is 7:7 b nny 15 c Dan 8:13N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka,

n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera.

Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja,

kiribagwira.

1928:19 a 2Bk 24:2 b Yob 18:11Weewaawo buli lwe kinaayitanga,

kinaabagwiranga

buli lukya emisana n’ekiro.”

Era okutegeera obubaka buno

kirireeta ntiisa njereere.

2028:20 Is 59:6Weewaawo ekitanda kimpi okwegololerako,

ne bulangiti nnyimpi okwebikka.

2128:21 a 1By 14:11 b Yos 10:10, 12; 1By 14:16 c Is 10:12; Luk 19:41-44Weewaawo Mukama aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu,

era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu eky’e Gibyoni,

alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa,

atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa.

2228:22 a Is 10:22 b Is 10:23Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera.

Nawulira okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye

ng’awa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna.

23Muwulirize, era muwulire eddoboozi lyange;

Musseeyo omwoyo, muwulire kye ŋŋamba.

24Omulimi bw’alima nga yeetegekera okusimba, alima lutata?

Alima bw’ayimirira n’atema amavuunike mu ttaka?

2528:25 a Mat 23:23 b Kuv 9:32Bw’amala okulyanjaala, tasigamu mpinnamuti, n’asaasaanya kumino?

Tasiga ŋŋaano mu kifo kyayo,

ne sayiri mu kibanja kyayo,

n’omukyere mu nnimiro yaagwo?

26Katonda we amuwa ebiragiro,

n’amuyigiriza ekkubo etuufu.

27Empinnamuti teziwuulibwa na luso,

newaakubadde okunyiga kumino ne nnamuziga w’eggaali.

Empinnamuti zikubibwa na muggo

ne kumino n’ekubibwa n’oluga.

28Empeke eteekwa okuseebwa okuvaamu omugaati,

So n’omuntu tagiwuula butamala.

Newaakubadde ng’agitambulizaako nnamuziga w’eggaali lye eriwuula,

Embalaasi ze si zeezigisa.

2928:29 a Is 9:6 b Bar 11:33Bino byonna nabyo biva eri Mukama Katonda ow’Eggye,

ow’ekitalo mu kuteesa ebigambo,

asinga amagezi.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 28:1-29

北國必遭審判

1以法蓮酒徒引以為榮的華冠有禍了!

它座落在醉酒者肥美的山谷頂上,

它的榮美如將殘之花。

2看啊,主已經派來一位強壯有力的人,

他像冰雹和毀滅的暴風,

又像洶湧氾濫的洪水,

他必把那華冠猛力摔在地上。

3以法蓮酒徒引以為榮的華冠必被踐踏。

4那肥美山谷上將殘的榮美之花,

必像夏季到來之前早熟的無花果,

人一看見它就把它摘去吞掉。

5到那日,萬軍之耶和華必做祂餘民的榮冠和華冕。

6祂必使審判官公正斷案,

賜力量給守城退敵之人。

7但祭司和先知也因喝酒而搖搖晃晃,

因烈酒而東倒西歪。

他們因烈酒而搖搖晃晃、

酩酊大醉、東倒西歪,

他們錯解異象,糊塗判案。

8桌子上到處都是嘔吐之物,

一片狼藉。

9他們抱怨我說:

「他想教導誰知識呢?

他想把信息解釋給誰呢?

是剛剛斷奶、離開母懷的嬰孩嗎?

10因為他的教導只是命命令令、命命令令、律律例例、律律例例、這裡一點、那裡一點。」

11因此,耶和華必用外族人的口和語言來教訓他們。

12耶和華曾對他們說:

「這是安歇之地,

讓疲乏的人安歇吧。

這是安歇之地。」

他們卻不肯聽。

13所以,對他們來說,

耶和華的話成了命命令令、命命令令、律律例例、律律例例、這裡一點、那裡一點,

以致他們走路時仰面跌倒,摔傷,落網,被捉。

14你們這些好譏諷、在耶路撒冷統管百姓的人啊,

要聽耶和華的話。

15你們說:

「我們已經和死亡立約,

與陰間結盟。

災難席捲而來的時候,

我們會安然無恙,

因為我們以謊言為庇護所,

以詭詐為藏身處。」

16所以主耶和華說:

「看啊,我要在錫安放一塊基石,

一塊經過考驗的石頭,

一塊根基穩固的寶貴房角石,

信靠的人必不致蒙羞。

17我必以公平為準繩,

以公義作線錘。

冰雹必砸碎你們虛謊的庇護所,

洪水必淹沒你們的藏身處。

18你們和死亡所立的約必被廢棄,

與陰間的結盟必不能長久。

災難席捲而來的時候,

你們必遭毀滅。

19災難必不分晝夜、日復一日地掃過,

每次掃過都必將你們擄去。」

明白這信息的人都必驚恐萬分。

20你們的床太小,不能舒身;

你們的被子太窄,不足裹身。28·20 此處的床和被子象徵他們虛假的安全感。

21耶和華必像在毗拉心山一樣挺身而出,

像在基遍谷一樣發怒,

要完成祂奇異的作為,

成就祂不尋常的工作。

22現在你們不要再譏諷了,

以免捆綁你們的繩索勒得更緊,

因為我已從主——萬軍之耶和華那裡聽到毀滅全國的諭旨。

23你們要側耳聽我的聲音,

留心聽我的話語。

24難道農夫會一直耕地而不撒種嗎?

難道他會一直犁地、耙地嗎?

25他耙平土地之後,

難道不種小茴香、大茴香嗎?

不按行種小麥,

在合適的地方種大麥,

在田邊種粗麥嗎?

26因為上帝指點他,教導他耕種之道。

27打小茴香不用大槌,用棍子;

打大茴香不用石磙,用棒子。

28做餅的糧食要磨碎,

沒有人會不停地在場上碾壓糧食。

馬拉著石磙在場上軋過,

也不會把麥子磨碎。

29這些知識都是萬軍之耶和華所賜的,

祂有奇妙的謀略和偉大的智慧。