Isaaya 23 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 23:1-18

Obunnabbi Obukwata ku Tuulo

123:1 a Yos 19:29; 1Bk 5:1; Yer 47:4; Ez 26; 27; 28; Yo 3:4-8; Am 1:9-10; Zek 9:2-4 b 1Bk 10:22 c Lub 10:4Obunnabbi obukwata ku Tuulo:

Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi,

kubanga Tuulo kizikirizibbwa

ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera.

Ekigambo kyababikulirwa

okuva mu nsi ya Kittimu.

2Musirike mmwe ab’oku kizinga

nammwe abasuubuzi b’e Sidoni

abagaggawalidde ku nnyanja.

323:3 a Is 19:7 b Ez 27:3Ku nnyanja ennene

kwajjirako ensigo za Sikoli,

n’ebyamakungula bya Kiyira bye byali amagoba ga Tuulo,

era yafuuka akatale k’amawanga.

423:4 Lub 10:15, 19Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo ky’ennyanja,

kubanga ennyanja eyogedde nti:

“Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako.

Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.”

5Ekigambo bwe kirijja eri Misiri,

balinakuwalira ebigambo ebiva e Tuulo.

6Muwunguke mugende e Talusiisi,

mukube ebiwoobe mmwe abantu ab’oku kizinga.

723:7 Is 22:2; 32:13Kino kye kibuga kyammwe eky’amasanyu,

ekibuga ekikadde,

ekyagenda okusenga

mu nsi eyeewala?

8Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo,

Tuulo ekitikkira engule,

ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira,

ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi?

923:9 a Yob 40:11 b Is 13:11 c Is 5:13; 9:15Mukama Katonda ow’Eggye yakiteekateeka,

amuggyemu amalala n’ekitiibwa kyonna,

akkakkanye n’abo bonna abamanyifu ku nsi.

10Ne bw’otambula ku lukalu lwonna olw’omugga Kiyira,

tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi.

1123:11 a Kuv 14:21 b Is 25:2; Zek 9:3-4Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja,

n’akankanya obwakabaka bwayo.

Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani

nti ebigo byakyo birizikirizibwa.

1223:12 a Kub 18:22 b Is 47:1Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate,

ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa.

Yambuka osomoke ogende e Kittimu,

naye nayo tolifunirayo kuwummula.”

1323:13 a Is 10:5 b Is 10:7Laba ensi ey’Abakaludaaya

abantu abo abatakyaliwo.

Omwasuli agifudde

ekifo ekibeeramu ensolo ez’omu ddungu.

Baayimusa eminaala gyabwe,

ne bamenya ebigo byabwe,

era n’abazikiriza.

14Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi,

ekigo kyo kizikiriziddwa.

1523:15 Yer 25:22Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gy’emyaka kabaka gy’awangaala. Naye oluvannyuma lw’emyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ng’ekiri mu luyimba olw’omwenzi.

16“Kwata ennanga, otambulire mu kibuga,

ggwe omwenzi eyeerabiddwa.

Ennanga gikube bulungi,

oyimbe ennyimba nnyingi olyoke ojjukirwe.”

1723:17 Ez 16:26; Nak 3:4; Kub 17:1Oluvannyuma lw’emyaka ensanvu, Mukama alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogw’obwamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi. 1823:18 a Kuv 28:36; Zab 72:10 b Is 60:5-9; Mi 4:13Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya Mukama, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa by’ayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi.