Isaaya 15 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 15:1-9

Obunnabbi Obukwata ku Mowaabu

115:1 a Is 11:14 b Yer 48:24, 41Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa

ne kimalibwawo.

Kiiri15:1 Ali ne Kiiri bye bibuga ebikulu eby’Abamowaabu. ekya Mowaabu nakyo

ne kizikirizibwa mu kiro!

215:2 a Yer 48:35 b Lv 21:5Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi

okukaabira mu ssabo lyabwe.

Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.

Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri

na buli kirevu kyonna kimwereddwa.

315:3 a Yer 48:38 b Is 22:4Beesibye ebibukutu mu nguudo;

ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba.

Buli muntu atema emiranga

n’abikaabira amaziga amayitirivu.

415:4 Kbl 32:3Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,

n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi.

Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,

emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.

515:5 a Yer 48:31 b Yer 48:3, 34 c Yer 4:20; 48:5Omutima gwange gukaabira Mowaabu;

abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali

ne Yegulasuserisiya.

Bambuka e Lakisi

nga bwe bakaaba;

bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu

nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.

615:6 a Is 19:5-7; Yer 48:34 b Yo 1:12Amazzi g’e Nimulimu gakalidde,

omuddo guwotose,

omuddo omugonvu, guggwaawo,

tewali kintu kimera.

715:7 Is 30:6; Yer 48:36Abantu basomoka akagga ak’enzingu

nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.

8Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu;

amaloboozi gatuuse e Yegalayimu,

n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.

915:9 2Bk 17:25Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi,

naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni;

empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu,

ne ku abo abalisigalawo ku nsi.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 15:1-9

關於摩押的預言

1以下是關於摩押的預言:

摩押亞珥城必在一夜之間被摧毀,淪為廢墟;

摩押基珥城必在一夜之間被摧毀,淪為廢墟。

2底本城的人上到神廟,

到他們的邱壇痛哭。

摩押人都剃光頭髮,

刮掉鬍鬚,

尼波米底巴城哀號。

3他們身披麻衣走在街上,

房頂和廣場上都傳出號啕大哭的聲音。

4希實本人和以利亞利人都哭喊,

聲音一直傳到雅雜

因此摩押的戰士大聲喊叫,

膽戰心驚。

5我為摩押感到悲哀。

她的人民逃難到瑣珥伊基拉·施利施亞

他們上到魯希斜坡,邊走邊哭,

在去何羅念的路上為自己的不幸哀哭。

6寧林的河道乾涸,

青草枯萎,植被消失,毫無綠色。

7因此,摩押人把自己積存的財物都運過柳樹河。

8摩押境內哀聲四起,

號啕聲傳到以基蓮

傳到比珥·以琳

9底門的河裡流的都是血,

但我還要降更多災難給底門

獅子必吞噬逃出摩押的人和那裡的餘民。