Ezera 4 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ezera 4:1-24

Abalabe ba Yuda

1Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini4:1 Ababenyamini baali Basamaliya bwe baawulira ng’abaana ba Isirayiri abaali mu buwaŋŋanguse batandise okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, 24:2 a 2Bk 17:24; 19:37 b 2Bk 17:41ne bagenda eri Zerubbaberi n’abakulu b’ebika ne boogera nti, “Mutukkirize tubayambeko okuzimba, kubanga tuli nga mmwe, era tusinza Katonda wammwe, era okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w’e Bwasuli, eyatuleeta wano tuwaayo ssaddaaka eri Katonda wammwe.”

34:3 Ezr 1:1-4; Nek 2:20Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n’abakulu b’ebika bya Isirayiri abalala ne babaddamu nti, “Temulina mugabo naffe mu kuddaabiriza yeekaalu ya Katonda waffe. Tuligizimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ffekka, nga kabaka Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe yatulagira.”

44:4 Ezr 3:3Awo abantu be baalimu ne bamalirira okulemesa abantu ba Yuda, ne babatiisatiisa okuzimba. 5Ne bagulirira abantu okubawakanya n’okulemesa enteekateeka yaabwe, ebbanga lyonna Kuulo kabaka w’e Buperusi lye yafuga, okutuusa Daliyo kabaka w’e Buperusi lwe yalya obwakabaka. 64:6 a Es 1:1; Dan 9:1 b Es 3:13; 9:5Awo ku mirembe gya Akaswero4:6 Akaswero ye Alutagizerugizi nga ky’ajje alye obwakabaka, abalabe baabwe ne baawandiika ebintu eby’obulimba ne baloopa abantu ba Yuda ne Yerusaalemi. 74:7 a Ezr 7:1; Nek 2:1 b 2Bk 18:26; Is 36:11; Dan 2:4Awo mu biro bya Alutagizerugizi, Bisulamu ne Misuledasi ne Tabeeri ne bannaabwe abalala ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa mu nnukuta ez’Aramayika ne mu lulimi Olwaramayika. 8Lekumu ow’essaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa ekwata ku Yerusaalemi.

94:9 Ezr 5:6; 6:6, 13Lekumu ow’essaza ne Simusaayi omuwandiisi awamu ne bannaabwe abalala, abalamuzi n’abakungu, n’Abaperusi, n’Abalukevi, n’Abababulooni, n’Abasusanuki, n’Abaweramu, 104:10 nny 17; Nek 4:2n’amawanga amalala, omukungu Osunappali be yakomyawo, n’abateeka mu bibuga bya Samaliya ne mu bitundu ebirala ebiri emitala w’omugga Fulaati ne bawandiika nti:

11Ebbaluwa gye baawandiikira kabaka yali egamba nti,

Eri kabaka Alutagizerugizi,

Okuva eri abaddu bo abasajja ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati.

124:12 Ezr 5:3, 9Kabaka asaanye ategeere nti Abayudaaya abaava gy’oli ne bajja gye tuli bagenze e Yerusaalemi okuddaabiriza ekibuga ekyo ekijeemu eky’abantu abakozi b’ebibi. Batandise okuddaabiriza emisingi n’okuzaawo bbugwe.

134:13 Ezr 7:24; Nek 5:4Ne nsonga endala, kabaka asaanye akimanye ng’ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw’aliggwa okukola, tebalisasula misolo nate, newaakubadde okuwa empooza, era ekiriva mu ekyo bwe bwakabaka okufiirwa. 14Kale nno, olw’okuba nga tulina obuvunaanyizibwa eri obwakabaka, ate nga tetwandiyagadde kulaba nga kabaka aswazibwa, kyetuvudde tuweereza obubaka buno eri kabaka, 154:15 a Ezr 5:17; 6:1 b Es 3:8banoonye mu bitabo eby’okujjukiza ebya bajjajjaabo. Mu bitabo ebyo ojja kuzuula ng’ekibuga ekyo kibuga kijeemu, ekyalumya emitwe gya bakabaka n’abaamasaza, era nga kifo ekimanyiddwa ng’ekijeemu okuva mu biro eby’edda. Era kyekyava kizikirizibwa. 16Tukakasa kabaka nti ekibuga kino bwe kirizimbibwa ne bbugwe waakyo n’azzibwawo, tolibaako ne ky’osigaza emitala w’omugga Fulaati.

174:17 nny 10Awo kabaka n’abaddamu bw’ati nti:

Eri Lekumu ow’essaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaabeeranga mu Samaliya, ne mu bifo ebirala ebiri mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati,

Mbalamusizza.

18Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera. 194:19 2Bk 18:7Nalagira, okunoonyereza ne kukolebwa, era ne kizuulibwa ng’ekibuga ekyo, okuva edda kijeemera bakabaka4:19 Ekyo kyogera ku bujeemu bwa Keezeekiya ne Yekoyakimu, ne Zeddekiya, era ng’obujeemu n’ekyejo byakolebwanga omwo. 204:20 Lub 15:18-21; Kuv 23:31; Yos 1:4; 1Bk 4:21; 1By 18:3; Zab 72:8-11Yerusaalemi kyalina bakabaka ab’amaanyi abaafuganga essaza lyonna eriri emitala w’omugga Fulaati, era baaweebwanga emisolo, n’empooza okuva mu kitundu ekyo. 21Kaakano muweereze ekiragiro eri abasajja abo bakomye omulimu ogw’okuddaabiriza ekibuga ekyo okutuusa ate bwe ndibalagira. 224:22 Dan 6:2Musseeyo nnyo omwoyo okulaba nga temutenguwa mu nsonga eyo. Lwaki tukkiriza ensonga eyo okugenda mu maaso, okuleeta okufiirwa eri obwakabaka?

234:23 nny 9Amangwago ebbaluwa eyava ewa kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne bayanguwa okugenda eri Abayudaaya e Yerusaalemi, ne babalekesaayo n’amaanyi okugenda mu maaso.

244:24 Nek 2:1-8; Dan 9:25; Kag 1:1, 15; Zek 1:1Awo omulimu ku nnyumba ya Katonda mu Yerusaalemi ne guyimirira okutuusa omwaka ogwokubiri ogw’omulembe gwa Daliyo kabaka w’e Buperusi.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以斯拉記 4:1-24

建殿工作受阻

1猶大便雅憫的敵人聽說流亡者回來要為以色列的上帝耶和華建殿, 2就去見所羅巴伯以色列的族長,對他們說:「請讓我們與你們一同建造,因為我們像你們一樣也尋求你們的上帝。自從亞述以撒哈頓帶我們到這裡以後,我們就一直獻祭給上帝。」 3所羅巴伯耶書亞以色列其餘的族長回答說:「你們不能參與建殿。遵照波斯塞魯士的吩咐,我們要自己為以色列的上帝耶和華建殿。」

4於是,當地人阻撓猶大人,使他們不敢建殿, 5波斯塞魯士統治年間,一直到波斯大流士統治期間,當地人收買謀士,破壞他們的計劃。

阻擾重建耶路撒冷

6亞哈隨魯統治初期,他們寫信控告猶大耶路撒冷的居民。

7波斯亞達薛西統治年間,比施蘭米特利達他別及其同黨上奏亞達薛西。奏章是用亞蘭文寫的,經過翻譯後呈上。 8利宏省長和伸帥書記也寫了奏本給亞達薛西王,控告耶路撒冷人,內容如下: 9利宏省長、伸帥書記和我們的同僚底拿人、亞法薩提迦人、他毗拉人、亞法撒人、亞基衛人、巴比倫人、書珊迦人、底亥人、以攔人, 10以及偉大尊貴的亞斯那巴遷來並安置在撒瑪利亞各城與幼發拉底河西一帶的人民, 11上奏亞達薛西王,

「『幼發拉底河西的臣民奏告亞達薛西王, 12王該知道,從王那裡到我們這裡來的猶太人已經去了耶路撒冷,如今正在重建這座叛逆、罪惡之城,正在重建地基,修築城牆。 13王該知道,如果這城建好,城牆完工,他們將不再進貢、交賦、納稅,王的稅收必受虧損。 14我們既食王祿,就不能坐視王遭受損失,因此上奏於王。 15請王查看先王的記錄,必從中獲悉這城是叛逆之城,危害列王和各省。自古以來,城中叛亂不斷,因此才被毀滅。 16我們願王知道,這城一旦建好,城牆完工,幼發拉底河西之地就不再為王所有了。』」

17王回覆利宏省長、伸帥書記及其住在撒瑪利亞幼發拉底河西一帶的同僚,說:「願你們平安! 18你們呈上的奏章,經過翻譯已奏報給我。 19我已命人查考,發現這城自古以來屢屢背叛列王,是悖逆和叛亂之地。 20強大的君王曾經統管耶路撒冷幼發拉底河西全境,並向人們徵收貢物和賦稅。 21現在你們要下令讓這些人停止建造這城,等候我的諭旨。 22要認真辦理這事,不可遲延,何必容事情惡化,使王受虧損呢?」

23利宏伸帥書記及其同僚接到諭旨後,急忙趕往耶路撒冷,用武力強迫猶太人停工。

恢復建殿工作

24於是,耶路撒冷上帝殿的重建工程停止了,一直停到波斯大流士第二年。