Ezera 3 – LCB & JCB

Luganda Contemporary Bible

Ezera 3:1-13

Okuddaabiriza Ekyoto

13:1 a Nek 7:73; 8:1 b Lv 23:24Omwezi ogw’omusanvu bwe gwatuuka, Abayisirayiri ne bava mu bibuga gye baali, ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi nga bali bumu. 23:2 a Ezr 2:2; Nek 12:1, 8; Kag 2:2 b Kag 1:1; Zek 6:11 c 1By 3:17 d Kuv 20:24; Ma 12:5-6Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bakabona banne, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n’ab’ennyumba ye ne batandika okuzimba ekyoto kya Katonda wa Isirayiri, okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa nga bwe kyawandiikibwa, mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda. 33:3 a Ezr 4:4; Dan 9:25 b Kuv 29:39; Kbl 28:1-8Newaakubadde nga baalina entiisa ey’abamawanga agaali gabeetoolodde, basooka okuzimba ekyoto ku musingi gwakyo ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bawaayo eby’enkya n’eby’akawungeezi. 43:4 Kuv 23:16; Kbl 29:12-38; Nek 8:14-18; Zek 14:16-19Era ng’etteeka bwe liri, ne bakwata embaga ey’ensiisira ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng’omuwendo ogwetaagibwa buli lunaku bwe gwali. 53:5 a Kbl 28:3, 11, 14; Bak 2:16 b Lv 23:1-44; Kbl 29:39N’oluvannyuma baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli kiseera, omwezi nga gwa kaboneka ne ku buli mbaga zonna ezaatukuzibwa eza Mukama ezaalagirwa, ate n’ekiweebwayo ekya buli muntu eyawaayo eri Mukama ekiweebwayo awatali kuwalirizibwa. 6Okuva ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu ne batandika okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, newaakubadde ng’omusingi gwa yeekaalu ya Mukama gwali tegunnazimbibwa.

Okuddaabiriza Yeekaalu

73:7 a 1By 14:1 b Is 35:2 c Ezr 1:2-4; 6:3Ne bawa abazimbi n’ababazzi ensimbi, ne bawa n’ab’e Sidoni n’ab’e Tuulo ebyokulya n’ebyokunywa n’amafuta, okuleeta emivule okuva mu Lebanooni okugituusa ku nnyanja e Yopa, ng’ekiragiro kya Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe kyali.

83:8 a Zek 4:9 b 1By 23:24Awo mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri nga batuuse awali yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe bakabona n’Abaleevi ne bonna abajja e Yerusaalemi okuva mu buwaŋŋanguse ne batandika omulimu ogw’okuzimba, era ne beerondamu abaali ab’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okusingawo, okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 93:9 Ezr 2:40Awo Yesuwa ne batabani be ne baganda be, ne Kadumyeri ne batabani be, ne bazzukulu ba Yuda, nga bayambibwako ne batabani ba Kenedadi n’Abaleevi bonna ne bavunaanyizibwa okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.

103:10 a Ezr 5:16 b Kbl 10:2; 1By 16:6 c 1By 25:1 d 1By 6:31 e Zek 6:12Awo abazimbi bwe baamala okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe ne bavaayo nga bakutte amakondeere, n’abaleevi, bazzukulu ba Asafu, nga bakutte ebitaasa, ne bayimirira mu bifo byabwe okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isirayiri bwe yateekateeka. 113:11 a 1By 16:34, 41; 2By 7:3; Zab 107:1; 118:1 b Nek 12:24Ne bayimba ennyimba ez’okwebaza n’okutendereza Mukama nga boogera nti,

“Mulungi,

n’okwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.”

Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw’ennyumba ya Mukama gwali guzimbiddwa. 123:12 Kag 2:3, 9Naye bangi ku bakabona n’Abaleevi abakadde, n’Abakulu b’ebika, abaalaba yeekaalu eyasooka, ne bakaaba nnyo ng’amaloboozi gaabwe gawulikika bwe baalaba ng’omusingi gwa yeekaalu empya guzimbiddwa, newaakubadde ng’abalala bangi baasanyuka nnyo nga bwe baleekaana; 133:13 Yob 8:21; Zab 27:6; Is 16:9nga si kyangu okwawula amaloboozi g’abo abaali bakaaba n’abaali basanyuka, kubanga abantu bonna baawowogana mu ddoboozi ery’omwanguka, era n’amaloboozi gaabwe ne gawulirwa wala.

Japanese Contemporary Bible

エズラ記 3:1-13

3

祭壇の再建

1-2第七の月(ユダヤ歴による。太陽暦では九月)になると、帰還者たちはめいめいの故郷から、エルサレムに集まって来ました。エホツァダクの子ヨシュアは、仲間の祭司やシェアルティエルの子ゼルバベル、およびその氏族の者とともに、神の人モーセの律法に記されているとおり焼き尽くすいけにえをささげるために、イスラエルの神の祭壇を築きました。 3祭壇を元の位置にすえ、さっそく、朝ごと夕ごとに焼き尽くすいけにえをささげました。人々は周囲の国々からの攻撃を恐れていたからです。

4彼らはモーセの律法どおり仮庵の祭りを守り、祭りの間は毎日、定められた焼き尽くすいけにえをささげました。 5このほか、安息日、新月の祝い、種々の例祭のため、それぞれ定められた品々をささげました。また、人々の自発的なささげ物もささげられました。 6祭司が主にいけにえをささげ始めたのは、第七の月の一日でした。まだ神殿の土台が築かれる前のことです。

神殿再建の開始

7次いで彼らは、石工や大工を雇い、ツロやシドンからは杉材を買いつけ、食料品、ぶどう酒、オリーブ油などを代金にあてました。レバノン山から切り出された杉材は、クロス王の許可を得て、地中海沿岸を海路ヨッパまで運ばれました。

8実際に神殿再建が開始されたのは、エルサレムに帰還した翌年の第二の月のことでした。すべての帰還者たちはゼルバベル、ヨシュア、およびその仲間の祭司やレビ人の指揮のもとで働き続けました。二十歳以上のレビ人は現場監督にあたり、 9この大事業の総責任は、ヨシュア、カデミエル、ヘナダデはじめ、その子や親族が負うことになりました。みな、レビ人でした。

10神殿の土台が完成した時、ダビデ王の定めた様式にのっとって、祭司は祭服を着てラッパを吹き鳴らし、アサフの子孫はシンバルを打ち鳴らして、主を賛美しました。 11彼らは神をたたえ、感謝する歌を歌いました。「主はすばらしい。その愛と恵みは、とこしえまでもイスラエルに。」これを受けて、民はみなが大声で賛美し、土台の完成を喜びました。

12しかし、ソロモン時代の壮麗な神殿を知っている祭司、レビ人、指導者など多くの年長者は、声を上げて泣きました。 13歓喜とも悲嘆ともつかない叫び声が遠くまでとどろき渡りました。