Ezeekyeri 8 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 8:1-18

Eby’ekivve mu Yeekaalu

18:1 a Ez 14:1 b Ez 33:31 c Ez 1:1-3Awo mu mwaka ogw’omukaaga, mu mwezi ogw’omukaaga ku lunaku olwokutaano, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n’abakadde ba Yuda, nga batudde mu maaso gange omukono gwa Mukama Katonda ne gunzikako. 28:2 Ez 1:4, 26-27Bwe natunula ne ndaba ekifaananyi ky’omuntu, okuva mu kiwato kye okukka wansi ngali ng’omuliro, n’okuva mu kiwato kye okwambuka ng’ayakaayakana ng’ekyuma ekyaka omuliro. 38:3 a Ez 3:12; 11:1 b Kuv 20:5; Ma 32:16N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya. 48:4 a Ez 1:28 b Ez 3:22Era awo we waali ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri, ng’okwolesebwa kwe nalaba mu kyererezi.

58:5 Zab 78:58; Yer 32:34Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso eri Obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba mu mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggi lw’ekyoto ne ndaba ekifaananyi eky’obuggya.

68:6 Ez 5:11N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olaba kye bakola, ebigambo eby’ekivve ennyumba ya Isirayiri byekolera wano, nga bangobera wala n’ekifo kyange ekitukuvu? Naye oliraba ebintu eby’ekivve ebisingawo.”

7Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggya. Ne ndaba ekituli mu bbugwe. 8N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano sima mu bbugwe.” Ne nsima mu bbugwe, ne ndabayo omulyango.

9Awo n’aŋŋamba nti, “Yingira olabe ebikolwa ebitali bya butuukirivu n’eby’ekivve bye bakola eyo.” 108:10 Kuv 20:4Ne nnyingira ne ndaba, era ku bisenge ne ndabako ebyekulula ebya buli kika kyonna, n’ensolo ez’emizizo ne bakatonda abalala bonna ab’ennyumba ya Isirayiri. 118:11 a Kbl 16:17 b Kbl 16:35Abakadde nsanvu ab’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, ne Yaazaniya mutabani wa Safani, ng’ayimiridde wakati mu bo. Buli omu ku bo yali akute ekyoterezo mu mukono gwe, ng’ekire eky’akaloosa ak’obubaane kinyooka okuva mu byo.

128:12 Zab 10:11; Is 29:15; Ez 9:9N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olabye abakadde b’ennyumba ya Isirayiri bye bakola mu nzikiza, buli omu ng’ali mu ssabo lya katonda we? Bagamba nti, ‘Mukama tatulaba, era Mukama yeerabira ensi.’ ” 13N’addamu n’aŋŋamba nti, “Oliraba ebintu eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”

14Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggi olw’Obukiikakkono ogw’ennyumba ya Mukama, ne ndaba abakazi abatudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi. 15N’aŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Oliraba eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”

168:16 a Yo 2:17 b Ma 4:19; 17:3; Yob 31:28; Yer 2:27; Ez 11:1, 12Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya Mukama, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya Mukama wakati w’ekisasi n’ekyoto, nga waliwo abasajja ng’amakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya Mukama, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba.

178:17 a Ez 9:9 b Ez 16:26N’ambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu eby’ekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi n’ebikolwa eby’obukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe! 188:18 a Ez 9:10; 24:14 b Is 1:15; Yer 11:11; Mi 3:4; Zek 7:13Kyendiva mbabonereza n’obusungu; siribakwatirwa kisa newaakubadde okubasonyiwa, era ne bwe balindekaanira siribawuliriza.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以西結書 8:1-18

聖城中的可憎之事

1第六年六月五日,我正在家中與猶大的眾長老同坐,主耶和華的能力降在我身上。 2我觀看,只見有一位形狀像人,祂的腰部以下像火,腰部以上像閃亮的金屬。 3祂好像伸出一隻手,抓住我的頭髮。在異象中,靈把我舉到天地之間,將我帶到耶路撒冷聖殿內院的北門,那裡供奉著惹耶和華憤恨的神像。 4我忽然看見那裡有以色列上帝的榮耀,跟我在平原所見的一樣。

5祂對我說:「人子啊,你舉目北望。」於是,我舉目朝北一望,見在祭壇門的北面有惹耶和華憤恨的神像。 6祂又對我說:「人子啊,你看見以色列人的所作所為了嗎?他們在這裡行那些極其可憎的事,以致我遠離我的聖所。你會看到更可憎的事。」

7祂帶我到院子的門口,我看見牆上有一個洞。 8祂對我說:「人子啊,你挖這牆。」我挖開牆後,看見一道門。 9祂對我說:「你進去看看他們在這裡做的邪惡可憎的事吧。」 10我進去後,看見四周的牆上畫滿了各種爬蟲、可憎的獸類和以色列人拜的神像。 11神像前面站著以色列的七十個長老,沙番的兒子雅撒尼亞也在當中,他們每人手中都拿著香爐,煙霧繚繞。 12祂又對我說:「人子啊,你看見以色列的長老在自己藏神像的房間裡暗中所做的了嗎?他們說,『耶和華看不見我們,祂已經拋棄了這片土地。』」 13祂繼續說:「你會看到他們做更可憎的事。」

14祂帶我來到耶和華的殿外院的北門,看見一些婦女坐在那裡為搭模斯神像哭泣。 15祂對我說:「人子啊,你看見了嗎?你會看到更可憎的事。」

16祂帶我來到耶和華殿的內院,在殿門口,走廊和祭壇中間約有二十五個人背向耶和華的殿,面向東方朝拜太陽。 17祂又對我說:「人子啊,你看見了嗎?猶大人的這些可憎行徑還算小事嗎?他們到處行殘暴之事,再三惹我發怒,手拿樹枝舉向鼻前祭拜偶像。 18因此,我必憤怒地對待他們,我必不顧惜他們,也不憐憫他們,即使他們大聲向我呼求,我也不聽。」