Ezeekyeri 38 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 38:1-23

Obunnabbi eri Googi

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 238:2 a Lub 10:2 b Kub 20:8“Omwana w’omuntu tunuuliza amaaso go eri Googi ow’omu nsi ya Magoogi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali, owe obunnabbi gy’ali, 338:3 Ez 39:1oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali. 438:4 a 2Bk 19:28 b Ez 29:4; Dan 11:40Ndikwetoolooza, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndibakulembera n’eggye lyo lyonna, n’embalaasi n’abeebagala embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa mu kibinja ekinene ekirina engabo ennene n’entono, nga bakutte n’ebitala. 538:5 a Lub 10:6 b Ez 27:10Obuperusi, ne Kuusi ne Puuti38:5 Puuli ne Puuti ye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya balibeera wamu nabo, bonna nga balina engabo n’enkuufiira; 638:6 a Lub 10:2 b Ez 27:14era ne Gomeri n’eggye lye lyonna, n’ennyumba ya Togaluma okuva mu bukiikakkono obw’ewala ddala n’eggye lyabwe lyonna, amawanga mangi nga gali wamu nammwe.

738:7 Is 8:9“ ‘Weeteeketeeke beera bulindaala ggwe n’ekibinja kyonna ekikwetoolodde; obaduumire. 838:8 a Is 24:22 b Is 11:11 c Yer 23:6Oluvannyuma olw’ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy’oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, ensi abantu mwe baakuŋŋanyizibwa okuva mu mawanga amangi ku nsozi za Isirayiri ezalekebwawo. Abantu baayo baggyibwa mu mawanga, kaakano bonna batudde mirembe. 938:9 a Is 28:2 b Yer 4:13; Yo 2:2Ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali awamu naawe, muliyambuka mubalumbe, era mulibalumba ng’omuyaga, era muliba ng’ekire ekibisse ku nsi.

1038:10 Zab 36:4; Mi 2:1“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo ebirowoozo biribajjira ne muteesa okukola akabi. 1138:11 Yer 49:31; Zek 2:4Muligamba nti, “Ndirumba ensi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera, ndirumba eggwanga erijjudde emirembe era eriteeteeseteese, bonna nga babeera mu bigango okutali nkomera newaakubadde ebyuma eby’amaanyi. 12Ndibba ne nnyaga ne nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu, abantu abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga ag’enjawulo gye babeera, abalina obugagga bw’ente n’ebintu ebirala, ababeera wakati mu nsi.” 1338:13 a Ez 27:22 b Is 10:6; Yer 15:13Seeba ne Dedani n’abasuubuzi ab’e Talusiisi n’ab’ebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, n’ebisolo byaffe n’ebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?” ’

1438:14 nny 8; Zek 2:5“Noolwekyo omwana w’omuntu kyonoova owa obunnabbi, n’ogamba Googi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo abantu bange Isirayiri bwe baliba ng’abatudde mirembe, temulikiraba? 1538:15 Ez 39:2Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja y’abantu, era eggye eddene. 1638:16 a nny 9 b Is 29:23; Ez 39:21Mulitabaala abantu bange Isirayiri ng’ekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ez’oluvannyuma ndikulinnyisa n’olumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe.

17“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Si mmwe be nayogerako edda nga mpita mu baddu bange bannabbi ba Isirayiri, abaawa obunnabbi mu biro ebyo okumala ebbanga, nga ŋŋenda kubasindika mubalumbe? 18Naye ku lunaku olwo, Googi bw’alirumba ensi ya Isirayiri, ndiraga obusungu bwange, bw’ayogera Mukama Katonda. 1938:19 Zab 18:7; Ez 5:13; Kag 2:6, 21Mu buggya bwange ne mu busungu bwange nnangirira nga njogera nti walibaawo musisi ow’amaanyi mu nsi ya Isirayiri; 2038:20 Kos 4:3; Nak 1:5n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, n’abantu bonna abali ku nsi balikankana olw’okujja kwange. Ensozi zirisuulibwa n’ebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka. 2138:21 a Ez 14:17 b 1Sa 14:20; 2By 20:23; Kag 2:22Nditumira Googi ekitala okuva mu nsozi zange zonna, bw’ayogera Mukama Katonda, era buli muntu alirwana ne muganda we. 2238:22 a Is 66:16; Yer 25:31 b Zab 18:12; Kub 16:21Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako. 2338:23 Ez 36:23Olwo ndyolesa obukulu bwange n’obutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’ ”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以西结书 38:1-23

对歌革的预言

1耶和华对我说: 2“人子啊,你要面向玛各地区的歌革,就是米设土巴的首领,说预言斥责他, 3告诉他,主耶和华这样说,‘米设土巴的首领歌革啊,我要与你为敌。 4我要把你调转过来,用钩子钩住你的腮,把你和你那些全副武装、拿着大小盾牌、挥动刀剑的军队、马匹和骑兵都拖出来。 5你的军队中有拿着盾牌、戴着头盔的波斯人、古实人和人, 6还有歌篾的军队和从遥远的北方来的陀迦玛军队。许多国家的军队都与你在一起。

7“‘你和你的联军都要预备好,你要做他们的统帅。 8再过多日,你必被征召出战。在以后的岁月,你将去攻打一片从战争中恢复的土地,以色列久已荒凉的山上有从各国招聚来的百姓。他们从列国中被领回来,如今都在那里安然居住。 9你和你的军队以及各国的联军一起上来,如暴风来临,又如密云覆盖大地。’

10“‘主耶和华说,“那时你必心起歹念,筹划恶谋。 11你必说,我要攻打那没有围墙和城门保护的乡村,毁灭那毫无戒备、安然居住的百姓。 12我要抢掠他们的财物,下手攻击那曾是废墟的城邑和从各国归来的百姓。他们住在世界的中心,牲畜货物甚多。 13示巴人、底但人以及他施的客商和首领都必问,你是来抢掠吗?你聚集军队是来抢夺金银财宝,掳掠牲畜和货物吗?”’

14“人子啊,你要发预言告诉歌革,主耶和华这样说,‘到那天,当我的以色列子民安然居住的时候,难道你会不知道吗? 15你召集各国联军,组成庞大的军队,骑着马从遥远的北方来。 16歌革啊,你必如密云一样遮天蔽日,前来攻击我的以色列子民。将来,我要领你来攻击我的土地,我要在列国面前借着你彰显我的圣洁,使他们认识我。’

17“主耶和华说,‘歌革啊,我从前借我的仆人——以色列的先知所预言的那位就是你,那时他们预言我要领你上来攻击以色列18歌革上来攻击以色列的时候,我必发烈怒。这是主耶和华说的。 19我要在义愤和烈怒中宣告,那天在以色列必有大地震。 20海里的鱼,空中的鸟,田野的走兽,地上的一切动物和人类都要在我面前战栗。山岭必倒塌,悬崖必崩裂,墙垣必坍塌。 21我要在我的山岭上叫刀剑攻击歌革人,使他们自相残杀。这是主耶和华说的。 22我要用瘟疫、杀戮、暴雨、冰雹、烈火和硫磺惩罚他们和他们的联军。 23我要彰显我的权能和圣洁,使各国的人都认识我。这样他们就知道我是耶和华。’