Ezeekyeri 36 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 36:1-38

Obunnabbi eri Ensozi za Isirayiri

1“Omwana w’omuntu, yogera obunnabbi eri ensozi za Isirayiri, ogambe nti, Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama. 236:2 a Ez 25:3 b Ma 32:13 c Ez 35:10Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, omulabe yayogera nti, ‘Otyo, ensozi ez’edda kaakano zaffe.’ 336:3 Zab 44:13-14Kyemwava muwa obunnabbi ne mwogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga baabacocca ne babayigganya enjuuyi zonna amawanga amalala ne gabeetwalira, era ne mufuuka eky’okwogerwako era ne baboogerako eby’obulimba, 436:4 a Ez 6:3 b Ma 11:11; Zab 79:4; Ez 34:28kyemunaava muwulira ekigambo kya Mukama Katonda mmwe ensozi za Isirayiri: Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu, n’eri ebifulukwa n’ebibuga ebyafuuka amatongo ebyanyagibwa ne bifuuka eby’okusekererwa eri amawanga gonna okwetooloola 536:5 Yer 50:11; Ez 25:12-14; 35:10, 15Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Njogerera mu busungu bwange obungi eri amawanga amalala n’eri Edomu yonna, abajjula okusanyuka n’ettima mu mitima gyabwe, ne baddira ensi yange ne bagifuula eyaabwe banyage obugagga bwayo.’ 636:6 Zab 123:3-4; Ez 34:29Kyonoova owa obunnabbi eri ensi ya Isirayiri n’oyogera eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu nti, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Njogera nga nzijudde obuggya n’obusungu kubanga mwasekererwa nnyo amawanga. 7Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndayira nti amawanga agabeetoolodde nago galisekererwa.

836:8 Is 27:6“ ‘Naye mmwe ensozi za Isirayiri mulireeta amatabi gammwe ne mubalira abantu bange Isirayiri ebibala byammwe kubanga banaatera okudda ewaabwe. 9Mbalumirwa era ndibatunuulira n’ekisa, era abalimi balikabala ettaka lyammwe ne basigamu ensigo, 1036:10 nny 33; Is 49:17-23era ndibaaza mmwe, ennyumba yonna eya Isirayiri. Ebibuga birituulwamu, n’ebyali ebifulukwa biriddaabirizibwa. 1136:11 a Mi 7:14 b Yer 31:28; Ez 16:55Ndyaza abantu n’ensolo, era abantu balyeyongera n’ensolo ne zeeyongera. Ndibazzaayo mu bifo byammwe eby’edda, era ndibakolera ebirungi ebisingawo ku bye nabakolera, mulyoke mumanye nga nze Mukama. 1236:12 Ez 47:14, 22Ndikkiriza abantu bange, Isirayiri babatambulireko, era balibeddiza, nammwe muliba mugabo gwabwe nga temukyaddamu kubaggyako baana baabwe.

1336:13 Kbl 13:32“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga abantu baboogerako nti, “Musaanyaawo abantu ne mumalawo ezzadde lye ggwanga lyammwe,” 14kyemuliva mutaddayo kusaanyaawo bantu newaakubadde okubamalako ezzadde ly’eggwanga lyo, bw’ayogera Mukama Katonda. 1536:15 Zab 89:50-51; Ez 34:29Toliwulira nate okusekererwa kw’amawanga newaakubadde okunyoomebwa wadde eggwanga lyo okugwa, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

16Nate ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 1736:17 Yer 2:7“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bwe baaberanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe, era n’ebikolwa byabwe byali ng’obutali bulongoofu obw’omukazi mu biseera bye. 1836:18 2By 34:21Olw’omusaayi gwe baayiwa mu nsi, ate n’olw’okusinza bakatonda abalala kwe beeyonoonyesa, kyennava mbayiwako ekiruyi kyange. 1936:19 a Ma 28:64 b Ez 39:24Naye mbasaasaanyiza mu mawanga, ne basaasaana mu nsi. Era nabasalira omusango ng’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali. 2036:20 a Bar 2:24 b Is 52:5; Yer 33:24; Ez 12:16Buli gye baagendanga mu mawanga baaswazanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga kyayogerwanga nti, ‘Bano bantu ba Mukama, naye baagobebwa mu nsi ye.’ 2136:21 Zab 74:18; Is 48:9Nafaayo ku linnya lyange ettukuvu, ennyumba ya Isirayiri lye yaswaza mu mawanga gye baagenda.

2236:22 a Bar 2:24* b Zab 106:8“Kale nno gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ggwe ennyumba ya Isirayiri bino sibikola ku lulwo, naye ku lw’erinnya lyange ettukuvu lye mwavumisa mu mawanga gye mwagenda. 2336:23 a Ez 20:41 b Zab 126:2; Is 5:16Ndiraga obutukuvu bw’erinnya lyange ekkulu, eryavumisibwa mu mawanga, erinnya lye mwavumisa mu bo, era amawanga galimanya nga nze Mukama, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe ndyolesa obutukuvu bwange mu mmwe mu maaso gaabwe.

2436:24 Ez 34:13; 37:21“ ‘Ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi zonna ne mbakomyawo mu nsi yammwe. 2536:25 a Beb 9:13; 10:22 b Zab 51:2, 7 c Zek 13:2Ndibamaansirako amazzi amayonjo, era ndibaggyako obutali bulongoofu bwammwe bwonna n’okuva ku bakatonda abalala bonna, ne mbafuula abalongoofu. 2636:26 a Yer 24:7 b Zab 51:10; Ez 11:19Ndibawa omutima omuggya era ne nteeka n’omwoyo omuggya mu mmwe. Ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja ne mbawa omutima ogw’ennyama. 2736:27 Ez 37:14Era ndibawa Omwoyo wange alibakubiriza okugoberera ebiragiro byange n’okukuuma obulungi amateeka gange. 2836:28 a Yer 30:22 b Ez 14:11; 37:14, 27Mulibeera mu nsi gye nawa bajjajjammwe, nammwe mulibeera bantu bange, nange ne mbeera Katonda wammwe. 2936:29 Ez 34:29Ndibalokola mu butali bulongoofu bwammwe bwonna, era nditumya emmere ey’empeke ne ngyaza nnyo muleme okulumwa enjala. 3036:30 Lv 26:4-5; Ez 34:27; Kos 2:21-22Ndyaza ebibala eby’oku miti n’ebimera eby’omu nnimiro, nga temukyasekererwa nate mu mawanga olw’enjala. 3136:31 Ez 6:9; 20:43Olwo mulijjukira amakubo gammwe amabi n’ebikolwa byammwe ebitali birungi, era mulyetamwa olw’ebibi byammwe n’olw’ebikolwa byammwe eby’emizizo. 3236:32 Ma 9:5Mukimanye ng’ebyo sibikola ku lwammwe, bw’ayogera Mukama Katonda. Muswale olw’ebikolwa byammwe, mmwe ennyumba ya Isirayiri.

33“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ku lunaku lwe ndibanaalizaako ebibi byammwe byonna, abantu balidda mu bibuga byammwe n’ebifulukwa biriddaabirizibwa. 34Ensi eyazika eririmibwa, ereme kuba nga bwe yali mu maaso gaabo bonna abaagiyitangamu. 3536:35 a Yo 2:3 b Is 51:3Balyogera nti, “Ensi eno eyali ezise, kaakano efuuse ng’ennimiro Adeni, n’ebifulukwa n’ebibuga ebyali bifuuse amatongo, kaakano mulimu ababibeeramu, era biriko ne bbugwe.” 3636:36 Ez 17:22; 22:14; 37:14; 39:27-28Olwo n’amawanga agaasigalawo agabeetoolodde galimanya nga nze Mukama, naddaabiriza ebyayonoonebwa, n’ennimiro n’ebyali bizise. Nze Mukama nkyogedde, era ndikituukiriza.’

37“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nate ndiwuliriza ennyumba ya Isirayiri ne mbakolera kino, era ndyaza abantu baabwe babeere bangi ng’ekisibo ky’endiga. 3836:38 1Bk 8:63; 2By 35:7-9Balyala ng’ebisibo eby’endiga ez’okuweebwayo e Yerusaalemi ku mbaga ezaalagirwa, era n’ebibuga ebyali amatongo ndibijjuza ebibinja by’abantu. Kale balimanya nga nze Mukama.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以西结书 36:1-38

预言赐福以色列

1“人子啊,你要向以色列的山岭发预言说,‘以色列的山岭啊,你们要听耶和华的话! 2主耶和华这样说,仇敌说,哈哈,这古老的山峰归我们了!’ 3所以你要发预言,宣告主耶和华这样说,‘你们被蹂躏、掠夺,归了列国所有,成了外族人的话柄和笑谈。 4因此,以色列的山岭、溪流、幽谷、荒地、废墟以及那些被外族人掳掠和讥讽的城邑啊,你们要听主耶和华的话。’ 5主耶和华说,‘我要在怒火中斥责列国和以东,他们幸灾乐祸,满腹愤恨,把我的土地据为己有,侵占其中的草场。’ 6所以你要对以色列说预言,告诉以色列的山冈溪谷,耶和华这样说,‘因为你们曾遭受外族人的羞辱,我为你们满怀义愤。 7所以我誓言要让你们四围的外族人也受羞辱。这是主耶和华说的。

8“‘以色列的山岭啊,你们要为我的以色列子民长出枝叶,结出果子,因为他们快要回来了。 9看啊,我要帮助你们,垂顾你们,使你们被耕种。 10我要增加居住在你们那里的以色列人,使城邑有人居住,废墟得以重建。 11我要使你们那里的人畜兴旺,多多繁衍,我要使人们居住在你们那里,好像以前一样,让你们比以前更兴盛。这样,你们就知道我是耶和华。 12我要引领我的以色列子民在你们那里出入,使你们成为他们的产业,不再夺走他们的儿女。’ 13主耶和华说,‘虽然人们说你们吞吃以色列人、夺走他们的儿女。 14但你们今后必不再吞吃以色列人,不再夺走他们的儿女。这是主耶和华说的。 15我必不再使你们听见外族人的辱骂和嘲笑,也不再使你们的国民丧失子女。这是主耶和华说的。’”

16耶和华对我说: 17“人子啊,当以色列人住在本土时,他们的恶行玷污了那里,他们的行为在我眼中就像经期的妇女一样污秽。 18他们杀人流血,祭拜偶像,玷污了那地方,所以我要把我的烈怒倾倒在他们身上, 19把他们驱散到列国,分散到列邦,照他们的行为报应他们。 20他们无论分散到何处,都使我的圣名受到亵渎,因为外族人都谈论他们说,‘这些人是耶和华的子民,却不得不离开耶和华的土地。’ 21我顾惜我的圣名,就是以色列人在所去的列国亵渎的圣名。

22“因此,你要告诉以色列人,主耶和华这样说,‘以色列人啊,我要行这事并非因为你们的缘故,而是因为我圣名的缘故,就是你们在所去列国亵渎的圣名。 23我要使我伟大的名,就是你们在列国中所亵渎的名,彰显它的圣洁。我要当着列国的面在你们身上彰显我的圣洁,那时他们就知道我是耶和华。这是主耶和华说的。 24我要从列邦列国招聚你们,领你们返回故土。 25我要在你们身上洒清水洁净你们,洗净你们所有的污秽,除掉你们心中一切的偶像。 26我要赐你们一颗新心,把新的灵放在你们里面。我要除去你们的石心,赐给你们一颗肉心。 27我要把我的灵放在你们里面,使你们恪守我的律例,谨遵我的典章。 28你们必安居在我赐给你们祖先的土地上。你们要做我的子民,我要做你们的上帝。 29我要拯救你们脱离各样的污秽之事。我要使你们五谷丰登,不让饥荒侵害你们。 30我要使树木硕果累累,田间出产丰盛,免得你们因饥荒再被外族人讥笑。 31那时,你们便会想起自己邪恶的行径,并因自己的罪恶和可憎行为而厌恶自己。 32主耶和华说,你们应当知道,我这样做并不是为了你们。以色列人啊,你们应当为自己的行为抱愧蒙羞。’

33“主耶和华说,‘在我洗净你们一切罪恶的日子,我要使你们的城邑有人居住,废墟得以重建。 34荒凉之地必有人耕种,路人再也看不见荒地。 35他们会说,以前的荒凉之地如今竟变得像伊甸园,被毁坏废弃的荒凉城邑已经设防,有人居住。 36这样,你们四周其余的民族便知道我耶和华已重建毁坏之处,重新耕种荒废之地。我耶和华言出必行。’

37“主耶和华说,‘我要再次答应以色列人的恳求,使他们的人口增加,多如羊群。 38我要使毁坏的城邑住满人,多如耶路撒冷在节期所献上的羊群。这样,他们就知道我是耶和华。’”