Ezeekyeri 17 – LCB & NIVUK

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 17:1-24

Empungu Ebbiri n’Omuzabbibu

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 217:2 Ez 20:49“Omwana w’omuntu, gerera ennyumba ya Isirayiri olugero; 317:3 a Kos 8:1 b Yer 22:23obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Waaliwo empungu ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, ng’erina ebyoya bingi, nga by’amabala agatali gamu, eyajja mu Lebanooni. 4N’eddira obusongenzo bw’omuvule n’emenyako amasanso gaagwo agasooka waggulu amato, n’egwetikka n’egutwala mu nsi ey’abasuubuzi n’egusimba mu kibuga ky’abatunda ebyamaguzi.’

517:5 Ma 8:7-9; Is 44:4“ ‘N’etwala emu ku nsigo ez’ensi eyo, n’egisimba mu ttaka eggimu; n’egisimba okumpi n’amazzi amangi, n’emera n’eba ng’omusafusafu, 6n’ebala n’efuuka omuzabbibu, ne gulanda wansi; amatabi gaagwo ne gakula nga gadda ewaayo, naye emirandira gyagwo ne gisigala wansi waagwo. Ne gufuuka omuzabbibu ne guleeta amatabi n’ebikoola byagwo.’

717:7 Ez 31:4“ ‘Naye ne wabaawo empungu endala ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, n’ebyoya ebingi. Omuzabbibu ne gukuza emirandira gyagwo eri empungu eyo okuva mu kifo we gwasimbibwa, ate ne gwanjuluza n’amatabi gaagwo gy’eri egifukirire. 8Gwali gusimbiddwa mu ttaka eddungi awali amazzi amangi, guleete amatabi era gubale ebibala gubeere omuzabbibu ogwegombesa.’

9“Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Gulibeerera? Tegulisigulwa n’amatabi gaakwo ne gatemebwa ne gukala? Tekiryetagisa omukono ogw’amaanyi oba abantu abangi okugusigulayo. 1017:10 Kos 13:15Ne bwe baligusimbuliza, gulirama? Tegulikalira ddala embuyaga ez’Ebuvanjuba bwe zirigufuuwa, ne gukalira mu kifo we gwakulira?’ ”

11Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 1217:12 a Ez 12:9 b 2Bk 24:15 c Ez 24:19“Gamba ennyumba enjeemu eyo nti, ‘Temumanyi bintu ebyo kye bitegeeza?’ Bategeeze nti, ‘Kabaka w’e Babulooni yagenda e Yerusaalemi, n’awamba kabaka waayo n’abakungu be n’abatwala e Babulooni. 1317:13 2By 36:13N’oluvannyuma n’addira omu ku balangira n’akola naye endagaano, ng’amulayiza. Yatwala n’abasajja abalwanyi abazira ab’omu nsi, 1417:14 Ez 29:14obwakabaka bukkakkane buleme kwegulumiza, era nga mu kukwata endagaano ye mwe balinywerera. 1517:15 a Yer 52:3 b Ma 17:16 c Yer 34:3; 38:18Naye kabaka yamujeemera, n’aweereza ababaka e Misiri okufunayo embalaasi n’eggye eddene. Aliraba omukisa? Omuntu akola ebyo ayinza okuba omulamu? Alimenya endagaano n’awona?’

1617:16 a Yer 52:11; Ez 12:13 b 2Bk 24:17“ ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, alifiira mu Babulooni, mu nsi eya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye n’amenya n’endagaano gye baakola. 1717:17 a Yer 37:7 b Ez 4:2 c Is 36:6; Yer 37:5; Ez 29:6-7Falaawo n’eggye lye eddene, n’ekibiina kye ekinene, tebalibaako kye bamuyamba mu lutalo, bwe balizimba ebifunvu n’ebisenge okuzikiriza obulamu bw’abangi. 1817:18 1By 29:24Olw’okunyooma ekirayiro kye, n’amenya endagaano, n’akola ebintu ebyo byonna ate nga yeewaayo, kyaliva tawona.

1917:19 Ez 16:59“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti, Nga bwe ndi omulamu, ndireeta ku mutwe gwe ekirayiro kye yanyooma, n’endagaano yange gye yamenya. 2017:20 a Ez 12:13; 32:3 b Yer 2:35; Ez 20:36Ndimutegera akatimba kange, n’agwa mu mutego gwange, era ndimuleeta e Babulooni ne musalira omusango olw’obutali bwesigwa bwe gye ndi. 2117:21 a Ez 12:14 b 2Bk 25:11 c 2Bk 25:5Abaserikale be bonna abaliba badduka, balifa ekitala, n’abaliwonawo balisaasaanyizibwa empewo; olwo olitegeera nga nze Mukama, nze nkyogedde.

2217:22 Yer 23:5; Ez 20:40; 36:1, 36; 37:22“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndiddira ettabi okuva ku busongezo bw’omuvule ne ndisimba; era ndimenya amasanso okuva ku matabi gaagwo amato ne ndisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu. 2317:23 Zab 92:12; Is 2:2; Ez 31:6; Dan 4:12; Kos 14:5-7; Mat 13:32Ku ntikko ey’olusozi lwa Isirayiri kwe ndirisimba era lirireeta amatabi ne libala ebibala, ne gaba omuvule ogwegombesa. Ennyonyi eza buli kika ziriwummulira ku gwo, era zirifuna we zituula mu bisiikirize eby’amatabi gaagwo. 2417:24 a Zab 96:12 b Ez 19:12; 21:26; 22:14; Am 9:11Era emiti gyonna egy’omu ttale giritegeera nga nze Mukama ayimpaya omuti omuwanvu, ate ne mpanvuya omuti omumpi. Nkaza omuti ogwakamera, ne mmerusa n’omuti ogubadde gukaze.

“ ‘Nze Mukama Katonda nze nkyogedde, era ndikikola.’ ”

New International Version – UK

Ezekiel 17:1-24

Two eagles and a vine

1The word of the Lord came to me: 2‘Son of man, set forth an allegory and tell it to the Israelites as a parable. 3Say to them, “This is what the Sovereign Lord says: a great eagle with powerful wings, long feathers and full plumage of varied colours came to Lebanon. Taking hold of the top of a cedar, 4he broke off its topmost shoot and carried it away to a land of merchants, where he planted it in a city of traders.

5‘ “He took one of the seedlings of the land and put it in fertile soil. He planted it like a willow by abundant water, 6and it sprouted and became a low, spreading vine. Its branches turned towards him, but its roots remained under it. So it became a vine and produced branches and put out leafy boughs.

7‘ “But there was another great eagle with powerful wings and full plumage. The vine now sent out its roots towards him from the plot where it was planted and stretched out its branches to him for water. 8It had been planted in good soil by abundant water so that it would produce branches, bear fruit and become a splendid vine.”

9‘Say to them, “This is what the Sovereign Lord says: will it thrive? Will it not be uprooted and stripped of its fruit so that it withers? All its new growth will wither. It will not take a strong arm or many people to pull it up by the roots. 10It has been planted, but will it thrive? Will it not wither completely when the east wind strikes it – wither away in the plot where it grew?” ’

11Then the word of the Lord came to me: 12‘Say to this rebellious people, “Do you not know what these things mean?” Say to them: “The king of Babylon went to Jerusalem and carried off her king and her nobles, bringing them back with him to Babylon. 13Then he took a member of the royal family and made a treaty with him, putting him under oath. He also carried away the leading men of the land, 14so that the kingdom would be brought low, unable to rise again, surviving only by keeping his treaty. 15But the king rebelled against him by sending his envoys to Egypt to get horses and a large army. Will he succeed? Will he who does such things escape? Will he break the treaty and yet escape?

16‘ “As surely as I live, declares the Sovereign Lord, he shall die in Babylon, in the land of the king who put him on the throne, whose oath he despised and whose treaty he broke. 17Pharaoh with his mighty army and great horde will be of no help to him in war, when ramps are built and siege works erected to destroy many lives. 18He despised the oath by breaking the covenant. Because he had given his hand in pledge and yet did all these things, he shall not escape.

19‘ “Therefore this is what the Sovereign Lord says: as surely as I live, I will repay him for despising my oath and breaking my covenant. 20I will spread my net for him, and he will be caught in my snare. I will bring him to Babylon and execute judgment on him there because he was unfaithful to me. 21All his choice troops will fall by the sword, and the survivors will be scattered to the winds. Then you will know that I the Lord have spoken.

22‘ “This is what the Sovereign Lord says: I myself will take a shoot from the very top of a cedar and plant it; I will break off a tender sprig from its topmost shoots and plant it on a high and lofty mountain. 23On the mountain heights of Israel I will plant it; it will produce branches and bear fruit and become a splendid cedar. Birds of every kind will nest in it; they will find shelter in the shade of its branches. 24All the trees of the forest will know that I the Lord bring down the tall tree and make the low tree grow tall. I dry up the green tree and make the dry tree flourish.

‘ “I the Lord have spoken, and I will do it.” ’