Eseza 9 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Eseza 9:1-32

19:1 a Es 8:12 b Yer 29:4-7 c Es 3:12-14; Nge 22:22-23Ku lunaku olw’ekkumi n’ebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe b’Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa. 29:2 a nny 15-18 b Es 8:11, 17; Zab 71:13, 24Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna ebitundu byonna ebya Kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubaleetako obulabe, so tewaali muntu eyayaŋŋanga okubayinza, kubanga entiisa yali egudde ku bantu bonna abamawanga gonna. 39:3 Ezr 8:36Awo abakungu bonna ab’ebitundu, n’abaamasaza, ne bagavana n’abasigire ba kabaka abaafuganga ne bayamba Abayudaaya, kubanga entiisa yali ebakutte olwa Moluddekaayi. 49:4 a Kuv 11:3 b 2Sa 3:1; 1By 11:9Moluddekaayi yali akulaakulanye mu lubiri, era n’ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna ebitundu byonna, ate era ne yeeyongera amaanyi n’obuyinza.

59:5 Ezr 4:6Awo Abayudaaya ne batta era ne bazikiriza abalabe baabwe bonna n’ekitala, era ne bakola nga bwe baayagala abo abaabakyawa. 6Mu lubiri olw’e Susani, Abayudaaya batta ne bazikiriza abasajja ebikumi bitaano. 7Ate era batta Palusandasa, ne Dalufoni, ne Asupasa, 8Polasa, ne Adaliya, ne Alidasa, 9Palumasuta, ne Alisayi, ne Alidayi, ne Vaizasa 109:10 a Es 5:11 b Lub 14:23; 1Sa 14:32; Es 3:13; 8:11abatabani ekkumi aba Kamani mutabani wa Kammedasa omulabe w’Abayudaaya. Naye tebaakwata ku munyago.

11Ku lunaku olwo, Kabaka n’ategeezebwa omuwendo gw’abo abattibwa mu lubiri e Susani. 129:12 Es 5:6; 7:2Awo Kabaka n’agamba Nnabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse era bazikirizza abasajja ebikumi bitaano, ate era ne batabani ba Kamani ekkumi nabo battiddwa. Kale kyenkana wa kye bakoze mu bitundu bya Kabaka ebirala? Kiki ky’osaba kaakano? Onookiweebwa. Era kiki kye weegayirira? Kale n’akyo kinaakolebwa.”

139:13 a Es 5:11 b Ma 21:22-23Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, enkya Abayudaaya baweebwe olukusa okukola nga ekiragiro ekya leero bwe kibadde era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi giwanikibwe ku miti.”

149:14 Ezr 6:11Amangwago Kabaka n’alagira kikolebwe. Ekiragiro ne kirangirirwa mu Susani, era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi ne giwanikibwa. 159:15 Lub 14:23; Es 8:11Awo ku lunaku olw’ekkumi n’enya mu mwezi ogwa Adali, Abayudaaya mu Susani ne beekuŋŋaanya, era ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani, naye ne batakwata ku munyago.

169:16 a Es 4:14 b Ma 25:19 c 1By 4:43Mu kiseera kyekimu Abayudaaya abalala abaali mu bitundu bya Kabaka nabo ne bakuŋŋaana okwerwanirira, n’okufuna ne bafuna okuwummula eri abalabe baabwe. Ne batta emitwalo nsanvu mu etaano ku bo naye ne batakwata ku munyago. 179:17 1Bk 3:15Bino byabaawo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula era ne balufuula lunaku lwa kuliirangako mbaga n’olw’okusanyukirangako.

Entandikwa y’Embaga Eyitibwa Pulimu

18Abayudaaya ab’omu Susani ne bakuŋŋaananga ku lunaku olw’ekkumi n’essatu ne ku lunaku olw’ekkumi n’ennya, ate ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olw’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako.

199:19 a Es 3:7 b nny 22; Ma 16:11, 14; Nek 8:10, 12; Es 2:9; Kub 11:10Abayudaaya ab’omu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi Adali okuba olunaku okuliirangako embaga n’olw’okusanyukirangako, era olunaku olw’okuweerazaganirako ebirabo.

20Awo Moluddekaayi n’awandiika ebyabaawo byonna, era n’aweereza Abayudaaya bonna abaali mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero ebbaluwa, mu matwale ag’okumpi n’agewala, 21ng’abalagira okukuumanga olunaku olw’ekkumi n’ennya n’olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwa Adali nga lwa mbaga, 229:22 a Es 4:14 b Nek 8:12; Zab 30:11-12 c 2Bk 25:30era nga kye kiseera Abayudaaya kye baafunirako eddembe eri abalabe baabwe, ate era nga gwe mwezi obuyinike bwabwe lwe bwafuulibwa essanyu, n’okunakuwala kwabwe ne kukoma. Moluddekaayi n’abiwandiika okujjukira ennaku ezo ng’ennaku ez’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako, ate era n’okuweerezaganya ebyokulya ebirungi, era n’okugabiranga abaavu ebirabo.

23Awo Abayudaaya ne basuubiza okukola nga bwe baatandika, nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira. 249:24 a Kuv 17:8-16 b Es 3:7 c Lv 16:8Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya bonna, yali asalidde Abayudaaya olukwe okubazikiriza, era ng’akubye akalulu Puli, okubasaanyaawo n’okubazikiriza. 259:25 a Zab 7:16 b Ma 21:22-23 c Es 7:10Naye Eseza bwe yakimanyisa Kabaka, Kabaka n’awa ekiragiro mu buwandiike nti olukwe olubi Kamani lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe, era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kalabba. 269:26 nny 20; Es 3:7Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ng’erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw’ebigambo byonna ebyawandiikibwa mu bbaluwa, n’olw’ebyo bye baalaba, n’ebyabatuukako, 27Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza, era ne basuubiriza ezzadde lyabwe n’abo bonna abanaabeegattangako, nti awatali kwekwasa nsonga yonna, bateekwa okukwatanga ennaku ezo zombi buli mwaka ng’ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng’ebiro byazo bwe byali. 28Ennaku ezo zijjukirwenga ku mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza era na buli kibuga, era ennaku zino eza Pulimu, Abayudaaya tebalekangayo okuzijagulizaangako, wadde okuzeerabira.

299:29 Es 2:15Awo Nnabagereka Eseza muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n’obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo eyookubiri eya Pulimu. 309:30 Es 1:1Ebbaluwa ne ziweerezebwa, mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) eby’obwakabaka bwa Akaswero, 319:31 a Es 4:16 b Es 4:1-3n’okuwa ebiragiro nti ennaku ezo eza Pulimu zikuumibwenga mu biro byazo nga Omuyudaaya Moluddekaayi ne Nnabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeyama bo bennyini n’ezzadde lyabwe okusinziira ku biseera byabwe bye baayitamu eby’okusiiba n’okukungubaga. 32Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu, era ne kiwandiikibwa mu byafaayo.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以斯帖记 9:1-32

犹太人的反击

1十二月,即亚达月十三日,是执行王谕旨的日子。那天,犹太人的仇敌原本想辖制他们,却反而被他们辖制。 2犹太人在亚哈随鲁王的各省各城聚集起来,攻击那些要害他们的人,无人能抵挡他们,因为各族都惧怕他们。 3各省的官员、总督、省长和为王办事的人因惧怕末底改,就都帮助犹太人。 4因为末底改已是王宫要员,他的名声传遍各省,权势日盛。 5犹太人用刀击杀所有敌人,任意消灭恨他们的人。 6犹太人单在书珊城就杀了五百人。 7他们还杀了巴珊大他达分亚斯帕他8坡拉他亚大利雅亚利大他9帕玛斯他亚利赛亚利代瓦耶撒他10这十人是犹太人的仇敌哈曼的儿子、哈米大他的孙子。但犹太人没有动他们的财物。

11当天,王获悉在书珊城被杀的人数, 12便对以斯帖王后说:“犹太人在书珊城杀了五百人,还杀了哈曼的十个儿子,在其余各省就更不知怎样了!现在你要什么?必赐给你。你还有何要求?必为你成就。” 13以斯帖回答说:“王若愿意,就请恩准书珊城的犹太人明天仍执行今天的谕旨,并把哈曼十个儿子的尸体吊在木架上。” 14王允准了,便在书珊城颁布谕旨,哈曼十个儿子的尸体便被吊了起来。 15亚达月十四日,书珊城的犹太人再次聚集起来,在城中杀了三百人,但没有动他们的财物。

16王其他各省的犹太人也都聚集起来自卫,得以脱离仇敌。他们杀了七万五千个仇敌,但没有动他们的财物。 17这事发生在亚达月十三日。十四日,犹太人休息,并以此日为设宴欢庆的日子。 18书珊城的犹太人在十三、十四日聚集杀敌,十五日才休息,并以此日为设宴欢庆的日子。 19因此,住在乡村的犹太人都以亚达月十四日为设宴欢庆的节日,并互赠礼物。

普珥节

20末底改把这些事记录下来,写信给亚哈随鲁王国内远近各省的犹太人, 21吩咐他们每年在亚达月十四、十五日守节期, 22设宴欢庆,互赠礼物,周济穷人,以纪念犹太人在此月此日得以脱离仇敌,化忧为乐,转悲为喜。

23犹太人接受了末底改写给他们的信,同意每年庆祝这个节日。 24因为犹太人的仇敌亚甲哈米大他的儿子哈曼曾经阴谋毁灭犹太人,曾经抽普珥,即抽签,要杀戮、灭绝他们。 25但王知道这阴谋后,便降旨使哈曼谋害犹太人的恶计落到他自己头上,将他及其众子吊在木架上。 26他们借用普珥这个词,称这两天为普珥节。犹太人因这信上的一切话,又因所看见、所经历的事, 27就为自己、自己的后代和归属他们的人定下规矩:每年必按时守这两天为节日,永不废弃。 28各省各城、家家户户、世世代代都要纪念、遵守这节日,使犹太人永不中断过普珥节,他们的后代也不可忘记。

29亚比孩的女儿以斯帖王后和犹太末底改以全权写第二封信,嘱咐犹太人守这普珥节, 30用和善、真诚的话写信给亚哈随鲁王国一百二十七省的所有犹太人, 31嘱咐他们照犹太末底改以斯帖王后的指示,按他们为自己及其后代所规定的,按时守普珥节,禁食哀哭。 32以斯帖的命令确定了普珥节,这命令被记载下来。