Engero 9 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 9:1-18

Empagi z’Amagezi Omusanvu

19:1 Bef 2:20-22; 1Pe 2:5Amagezi gazimbye ennyumba yaago,

gagizimbidde ku mpagi musanvu.

29:2 Luk 14:16-23Gategese ennyama yaago ne wayini9:2 Wayini yatabulwangamu ebyakaloosa aka mooli, yeeyongere okuwoomerera. waago;

gategese ekijjulo.

39:3 a Nge 8:1-3 b nny 14Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere

mu bifo ebigulumivu nti,

49:4 Nge 6:32“Buli atalina kutegeera akyameko wano!”

Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,

59:5 Is 55:1“Mujje mulye ku mmere yange

era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.

69:6 Nge 8:35Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu,

era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”

79:7 Nge 23:9Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa,

n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.

89:8 a Nge 15:12 b Zab 141:5Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye

nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.

99:9 Nge 1:5, 7Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi,

yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.

109:10 Yob 28:28; Nge 1:7“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,

era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

119:11 Nge 3:16; 10:27Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo,

era olyongerwako emyaka.

12Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba,

naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”

139:13 a Nge 7:11 b Nge 5:6Omukazi omusirusiru aleekaana,

taba na mpisa era taba na magezi!

149:14 nny 3Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye,

ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,

15ng’akoowoola abo abayitawo,

ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.

16Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.”

Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,

179:17 Nge 20:17“Amazzi amabbe nga gawooma!

emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”

189:18 Nge 2:18; 7:26-27Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira,

era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe.