Engero 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 5:1-23

Okulabula ku Bwenzi

15:1 Nge 4:20; 22:17Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange,

era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,

2olyoke oyige okusalawo okw’amagezi,

era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.

35:3 Zab 55:21; Nge 2:16; 7:5Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,

n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;

45:4 Mub 7:26naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa

era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.

55:5 Nge 7:26-27Ebigere bye bituuka mu kufa,

ebisinde bye biraga emagombe.

65:6 Nge 30:20Tafaayo ku kkubo lya bulamu,

amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

75:7 Nge 7:24Kaakano, batabani bange mumpulirize,

temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.

85:8 Nge 7:1-27Mwewalenga omukazi oyo

era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;

9si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,

n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,

10ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,

n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.

11Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,

ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.

125:12 Nge 1:29; 12:1Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa,

n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,

13era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,

wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.

14Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira

nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”

Obuvunaanyizibwa n’Essanyu mu Bufumbo

15Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo,

n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.

16Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo,

n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?

17Leka bibeere bibyo wekka,

bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.

185:18 a Lu 4:12-15 b Mub 9:9; Mal 2:14Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,

era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.

195:19 Lu 2:9; 4:5Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,

leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.

20Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,

n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?

215:21 a Zab 119:168; Kos 7:2 b Yob 14:16; 31:4; 34:21; Nge 15:3; Yer 16:17; 32:19; Beb 4:13Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna,

era n’akebera n’amakubo ge gonna.

225:22 a Zab 9:16 b Kbl 32:23; Zab 7:15-16; Nge 1:31-32Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego,

era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.

235:23 Yob 4:21; 36:12Alifa, kubanga yagaana okwekuuma,

era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.