Engero 30 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 30:1-33

Ebigambo ba Aguli

1Bino bye bigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno:

Bw’ati omusajja ono bwe yagamba Isiyeri, Isyeri ono ne Ukali.

2Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera,

sirina kutegeera kwa bantu.

330:3 Nge 9:10Siyize magezi,

so n’oyo Omutukuvu simumanyi.

430:4 a Zab 24:1-2; Yk 3:13; Bef 4:7-10 b Zab 104:3; Is 40:12 c Yob 26:8; 38:8-9 d Lub 1:2 e Kub 19:12Ani eyali alinnye mu ggulu n’akka?

Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu ky’engalo ze?

Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye?

Ani eyatonda enkomerero zonna ez’ensi?

Erinnya lye y’ani, ne mutabani we y’ani?

Mbulira obanga obimanyi.

530:5 a Zab 12:6; 18:30 b Lub 15:1; Zab 84:11Buli kigambo kya Katonda kya mazima,

era aba ngabo eri abo abamwesiga.

630:6 Ma 4:2; 12:32; Kub 22:18Toyongeranga ku bigambo bye,

alemenga okukunenya naawe olabike ng’omulimba.

7Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi Mukama,

tobinnyimanga nga sinnafa:

830:8 Mat 6:11Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala,

ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza,

naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.

930:9 a Yos 24:27; Is 1:4; 59:13 b Ma 6:12; 8:10-14; Kos 13:6 c Ma 8:12Nneme okukkutanga ne nkwegaana

ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?”

Era nnemenga okuba omwavu ne nziba,

ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.

10Tosekeetereranga muweereza eri mukama we,

alemenga okukukolimira, naawe omusango ne gukusinga.

1130:11 Nge 20:20Waliwo abo abakolimira bakitaabwe

ne batasabira na bannyaabwe mukisa;

1230:12 a Nge 16:2; Luk 18:11 b Yer 2:23, 35abo abeeraba ng’abatuukirivu bo mu maaso gaabwe,

ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe.

1330:13 2Sa 22:28; Yob 41:34; Zab 131:1; Nge 6:17Waliwo abo ab’amalala amayitirivu,

abatunuza okwemanya okw’ekitalo,

1430:14 a Yob 4:11; 29:17; Zab 3:7 b Zab 57:4 c Yob 24:9; Zab 14:4 d Am 8:4; Mi 2:2 e Yob 19:22n’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala,

n’emba zaabwe nga zirimu ebiso,

okusaanyaawo abaavu mu nsi,

n’abo abali mu kwetaaga.

1530:15 Nge 27:20Ekinoso kirina bawala baakyo babiri

abaleekaana nti, “Mpa! mpa!”

Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta,

weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”

1630:16 Nge 27:20; Is 5:14; 14:9, 11; Kbk 2:5Amagombe,

olubuto olugumba,

ettaka eritakutta mazzi,

n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!”

1730:17 a Ma 21:18-21; Nge 23:22 b Yob 15:23Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe,

era n’atagondera nnyina,

liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu,

ne liriibwa ensega.

18Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ennyo gye ndi,

weewaawo bina bye sitegeera:

19Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga,

n’omusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja,

n’ekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja,

n’engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.

2030:20 Nge 5:6Bw’ati bwe yeeyisa omukazi omwenzi:

alya n’asiimuula emimwa gye

n’agamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”

21Ensi ekankanira wansi w’ebintu bisatu

weewaawo bina:

2230:22 Nge 19:10; 29:2omuweereza bw’afuuka kabaka,

n’omusirusiru bw’akutta emmere;

23n’omukazi eyadibira mu ddya;

n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.

24Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi,

ebirina amagezi amangi ennyo.

2530:25 Nge 6:6-8Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi,

naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;

2630:26 Zab 104:18obumyu busolo bunafu

naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;

2730:27 Kuv 10:4enzige tezirina kabaka,

kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;

28omunya oyinza okugukwasa engalo,

naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.

29Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula,

weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:

30empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna;

31sseggwanga,

n’embuzi ennume,

ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.

3230:32 Yob 21:5; 29:9Bw’oba ng’obadde okoze eby’obusirusiru ne weegulumiza,

obanga obadde oteekateeka okukola ebibi,

weekomeko weekwate ku mumwa.

33Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo,

n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi,

okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.