Engero 25 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 25:1-28

Engero Endala Eza Sulemaani

125:1 a 1Bk 4:32 b Nge 1:1Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.

225:2 Nge 16:10-15Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda,

naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.

3Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi,

bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.

4Effeeza giggyeemu ebisejja,

olyoke ofune omuweesi ky’anaakozesa.

525:5 a Nge 20:8 b 2Sa 7:13 c Nge 16:12; 29:14Ggyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka,

entebe ye ey’obwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.

6Teweekuzanga mu maaso ga kabaka,

wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.

725:7 Luk 14:7-10Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,”

kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa.

825:8 Mat 5:25-26Amaaso go bye galabye

tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga,

kubanga oluvannyuma onookola otya

munno bw’anaakuswaza?

9Bw’owozanga ne muliraanwa wo,

tobikkulanga kyama kya muntu mulala,

10akiwulira aleme okukuswaza;

n’onyoomebwa ebbanga lyonna.

1125:11 nny 12; Nge 15:23Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde,

kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.

1225:12 nny 11; Zab 141:5; Nge 13:18; 15:31Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi,

bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.

1325:13 Nge 10:26; 13:17Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu,

bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma,

aweweeza emmeeme ya bakama be.

14Ng’ebire n’empewo omutali nkuba,

omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.

Muliraanwa n’Omulabe

1525:15 a Mub 10:4 b Nge 15:1Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,

n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.

1625:16 nny 27Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala,

si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.

17Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo,

si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.

1825:18 Zab 57:4; Nge 12:18Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we,

ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.

19Okwesiga omuntu ateesigika,

kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.

20Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti,

era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu,

bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.

21Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye,

bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.

2225:22 a Zab 18:8 b 2Sa 16:12; 2By 28:15; Mat 5:44; Bar 12:20*Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe,

era Mukama alikuwa empeera.

23Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba,

n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.

2425:24 Nge 21:9Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba,

kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.

2525:25 Nge 15:30Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta,

bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.

26Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese,

bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.

2725:27 a nny 16 b Nge 27:2; Mat 23:12Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi,

bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.

28Omuntu ateefuga

ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.