Engero 10 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Engero 10:1-32

Engero za Sulemaani

110:1 a Nge 1:1 b Nge 15:20; 29:3Engero za Sulemaani:

Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;

naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.

210:2 a Nge 21:6 b Nge 11:4, 19Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa,

naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.

310:3 Mat 6:25-34Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala,

naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.

410:4 a Nge 19:15 b Nge 12:24; 13:4; 21:5Emikono emigayaavu gyavuwaza,

naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.

5Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu,

naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.

610:6 nny 8, 11, 14Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu,

naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.

710:7 a Zab 112:6 b Zab 109:13 c Zab 9:6Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu,

naye erinnya ly’omubi linaavundanga.

810:8 Mat 7:24-27Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro,

naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.

910:9 a Is 33:15 b Zab 23:4 c Nge 28:18Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,

naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.

1010:10 Zab 35:19Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku,

n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.

1110:11 a Zab 37:30; Nge 13:12, 14, 19 b nny 6Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu,

naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.

1210:12 Nge 17:9; 1Ko 13:4-7; 1Pe 4:8Obukyayi buleeta enjawukana,

naye okwagala kubikka ku bibi bingi.

1310:13 a nny 31 b Nge 26:3Amagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera,

naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.

1410:14 Nge 18:6, 7Abantu ab’amagezi batereka okumanya,

naye akamwa k’omusirusiru kaaniriza kuzikirira.

1510:15 a Nge 18:11 b Nge 19:7Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo,

naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.

1610:16 Nge 11:18-19Empeera y’omutuukirivu bulamu,

naye empeera y’omukozi w’ebibi emuleetera kubonerezebwa.

1710:17 Nge 6:23Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu,

naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.

18Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba,

era omuntu akonjera, musirusiru.

1910:19 Nge 17:28; Mub 5:3; Yak 1:19; 3:2-12Mu bigambo ebingi temubula kwonoona,

naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.

20Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo,

naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono.

2110:21 Nge 5:22-23; Kos 4:1, 6, 14Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi,

naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.

2210:22 Lub 24:35; Zab 37:22Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga

era tagwongerako buyinike.

Okuwangaala Okuli mu Kutya Mukama

2310:23 Nge 2:14; 15:21Omusirusiru asanyukira okukola ebibi,

naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.

2410:24 a Is 66:4 b Zab 145:17-19; Mat 5:6; 1Yk 5:14-15Omukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako,

naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.

2510:25 a Zab 15:5 b Nge 12:3, 7; Mat 7:24-27Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa,

naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.

2610:26 Nge 26:6Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso,

n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.

2710:27 a Nge 9:10-11 b Yob 15:32Okutya Mukama kuwangaaza omuntu,

naye emyaka gy’ababi girisalibwako.

2810:28 Yob 8:13; Nge 11:7Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu,

naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.

2910:29 Nge 21:15Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.

3010:30 Zab 37:9, 28-29; Nge 2:20-22Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna,

naye abakozi b’ebibi tebalisigala mu nsi.

3110:31 Zab 37:30Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,

naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.

3210:32 Mub 10:12Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde;

naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

箴言 10:1-32

所羅門的箴言

1以下是所羅門的箴言:

智慧兒使父親快樂,

愚昧兒叫母親擔憂。

2不義之財毫無益處,

公義救人脫離死亡。

3耶和華不讓義人挨餓,

祂使惡人的奢望成空。

4遊手好閒招致貧窮,

勤奮努力帶來富足。

5精明兒夏季時貯藏,

不肖子收成時酣睡。

6祝福臨到義人的頭,

殘暴充滿惡人的口。

7義人流芳於世,

惡人名聲朽爛。

8心存智慧的接受誡命;

說話愚昧的自招滅亡。

9行正道者活得安穩,

走歪路者終必敗露。

10擠眉弄眼,帶來憂傷;

胡言亂語,導致滅亡。

11義人的口是生命之泉,

惡人的口卻充滿殘暴。

12恨能挑起各樣紛爭,

愛能遮掩一切過犯。

13明哲人口中有智慧,

無知者背上受鞭打。

14智者儲藏知識,

愚人口惹禍端。

15錢財是富人的堅壘,

貧乏帶給窮人毀滅。

16義人的報酬是生命,

惡人的果子是懲罰。

17聽從教誨的,走生命之路;

拒絕責備的,必步入歧途。

18暗藏仇恨的滿口虛謊,

散佈流言的愚不可及。

19言多必失,智者慎言。

20義人之舌似純銀,

惡人之心無價值。

21義人的口滋養眾人,

愚人因無知而死亡。

22耶和華的祝福使人富足,

祝福中不加任何憂愁10·22 祝福中不加任何憂愁」或譯「勞苦無法使其加增」。

23愚人以惡為樂,

哲士喜愛智慧。

24惡人所怕的必臨到他,

義人的心願必得實現。

25暴風掃過,

惡人消逝無蹤,

義人永不動搖。

26雇用懶惰人,

如醋倒牙,如煙薰目。

27敬畏耶和華的享長壽,

惡人的壽數必被縮短。

28義人的憧憬帶來歡樂,

惡人的希望終必破滅。

29耶和華的道保護正直人,

毀滅作惡之人。

30義人永不動搖,

惡人無處容身。

31義人的口發出智慧,

詭詐的舌必被割掉。

32義人說話得體合宜,

惡人的口胡言亂語。