Ekyamateeka Olwokubiri 9 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 9:1-29

19:1 a Ma 4:38; 11:23, 31 b Ma 1:28Wulira, Ayi Isirayiri. Osemberedde olunaku lw’ojja okusomokerako omugga Yoludaani, oyingire mu nsi omuli amawanga agakusinga obunene, ogyetwalire ogyefunire. Olisangamu ebibuga ebinene ebyebulunguddwa ebigo ebyawanvuwa okutuuka ku ggulu. 29:2 Kbl 13:22, 28, 32-33Abantu baayo be batabani ba Anaki, ba maanyi era bawanvu. Obamanyi bulungi, era wawulirako dda nga boogerwako nti, “Ani ayinza okwolekera Abanaki?” 39:3 a Ma 31:3; Yos 3:11 b Ma 4:24; Beb 12:29 c Kuv 23:31; Ma 7:23-24Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo y’akukulembera buli gy’oba olaga yonna, era ng’ali ng’omuliro ogusaanyaawo buli kintu. Ab’amaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bw’akusuubizza.

49:4 a Ma 8:17 b Lv 18:21, 24-30; Ma 18:9-14Mukama Katonda wo bw’alimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno n’okugifuna olw’obutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go. 59:5 a Tit 3:5 b Lub 12:7; 13:15; 15:7; 17:8; 26:4Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi ky’amawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize n’ekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. 69:6 nny 13; Kuv 32:9; Ma 31:27Osaana okitegeere ng’ensi eno ennungi Mukama Katonda gy’akuwa okugyefunira tagikuwa lwa kubanga oli mutuukirivu; kubanga oli muntu alina ensingo enkakanyavu.

Ennyana eya Zaabu

7Ojjukiranga, era tosaana kwerabiranga, nga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo ng’oli mu ddungu. Okuviira ddala ku lunaku lwe wava mu nsi ey’e Misiri mubadde mujeemera Mukama n’okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino. 89:8 Kuv 32:7-10; Zab 106:19Ku lusozi Kolebu mwanyiiza Mukama Katonda, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo n’okwagala n’ayagala okubazikiriza. 99:9 Kuv 24:12, 15, 18; 34:28Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby’amayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi. 109:10 Kuv 31:18; Ma 4:13Mukama Katonda n’ampa ebipande bibiri eby’amayinja nga biwandiikiddwako n’engalo ya Katonda. Ku byo kwali kuwandiikiddwako amateeka Mukama ge yali abalangiridde ng’ali ku lusozi wakati mu muliro ku lunaku olwo nga mwenna mukuŋŋaanye.

11Ku nkomerero y’ennaku amakumi ana n’ebiro amakumi ana Mukama Katonda n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja nga bye bipande eby’endagaano. 129:12 a Kuv 32:7-8; Ma 31:29 b Bal 2:17Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”

139:13 nny 6; Kuv 32:9; Ma 10:16Era Mukama Katonda ne yeeyongera n’aŋŋamba nti, “Neetegerezza abantu bano, ne ndaba nga bantu abalina ensingo enkakanyavu, nga ggwanga lya mputtu. 149:14 a Kuv 32:10 b Kbl 14:12; Ma 29:20Leka mbazikirize, erinnya ly’eggwanga lyabwe ndisangulewo wansi w’eggulu. Ndikuggyamu eggwanga eddene era ery’amaanyi okusinga eggwanga lyabwe.”

159:15 Kuv 19:18; 32:15Bwe ntyo ne nkyuka ne nva ku lusozi ne nserengeta, ne ndeka ng’olusozi lwaka omuliro. Ebipande byombi eby’amateeka eby’endagaano nabirina mu mikono gyange gyombi. 169:16 Kuv 32:19Bwe natunula ne ndaba nga mwonoonye mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mwali mwekoledde ekitali Katonda nga mukibumbye okufaanana ng’ennyana; mwali mukyuse mangu okuva mu kkubo Mukama lye yali abalagidde. 17Bwe ntyo ne nzirira ebipande byombi bye nnali nkutte mu ngalo zange ne mbikasuka wansi ne byatikirayatikira mu maaso gammwe nga nammwe mulaba.

189:18 Kuv 34:28Ate ne nziramu okweyala wansi awali Mukama Katonda nga bwe nakola olubereberye ku Lusozi Sinaayi, Mukama bwe yali amaliridde okubazikiririza ddala yeefunire eggwanga eddala; ne sirya ku mmere wadde okunywa ku tuzzi okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, olw’ekibi kye mwali mukoze, bwe mwakola ebitasaana mu maaso ga Mukama Katonda ne mumusunguwaza. 199:19 a Kuv 32:10-11, 14 b Ma 10:10Ne ntya nnyo olw’obusungu bwa Mukama Katonda n’ekiruyi kye, kubanga yali abasunguwalidde nnyo ng’ayinza n’okubazikiriza. Naye era Mukama n’ampuliriza ne ku mulundi ogwo. 20Era Mukama yali asunguwalidde nnyo Alooni nga n’okumuzikiriza ayinza okumuzikiriza. Naye mu kiseera ekyo ne Alooni ne mmusabira nnyo. 219:21 Kuv 32:20Ne nzirira ennyana eyabaleetera okusobya, ne ngyokya mu muliro. Ne ngisekulasekula ne ngisa, n’efuuka olufufugge. Olufufugge olwo ne nduyiwa mu kagga akaali kakulukutira ku lusozi olunene.

229:22 a Kbl 11:3 b Kuv 17:7 c Kbl 11:34Mukama, mwayongera okumusunguwaza bwe mwali e Tabera, n’e Masa, n’e Kiberosu Kataava.

239:23 Zab 106:24Era Mukama bwe yabasindika okuva e Kadesubanea, yabagamba nti, “Mwambuke mwetwalire ensi gye mbawadde.” Naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. Temwamwesiga wadde okumugondera. 249:24 nny 7; Ma 31:27Kasookedde mbamanya, ebbanga eryo lyonna mubadde mujeemera Mukama Katonda.

Musa Yeegayirira Mukama ku lwa Isirayiri

259:25 nny 18Bwe ntyo ne nambaala ku ttaka nga neevuunise mu maaso ga Mukama, okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro; kubanga Mukama Katonda yali agambye nti ajja kubazikiriza. 269:26 Kuv 32:11Ne nsaba Mukama nti, Ayi Mukama Katonda, bano be bantu bo, era obusika bwo bwennyini, be wanunula n’obaggya mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi. 27Nkusaba ojjukire abaddu bo, era abaweereza bo, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo osonyiwe obukakanyavu bw’eggwanga lino, n’obunafu bwalyo n’ebibi byalyo. 289:28 Kuv 32:12; Kbl 14:16Ab’omu nsi mwe watuggya baleme okugamba nti, “Olwokubanga Mukama yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era olwokubanga yali abakyaye nnyo, kyeyava abaggyayo mu Misiri alyoke abattire mu ddungu.” 299:29 a Ma 4:20; 1Bk 8:51 b Ma 4:34; Nek 1:10Kubanga lino lye ggwanga lyo, be bantu bo ab’obusika bwo, be waggya mu Misiri n’obuyinza bwo obungi, n’omukono gwo ogw’amaanyi.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

申命記 9:1-29

以色列人的悖逆

1以色列人啊,你們要聽!今天你們要過約旦河,去趕出那些比你們強大的民族。他們住在城牆高聳入雲的大城裡, 2是長得高大威猛的亞衲人。你們瞭解他們,也聽人說過,『誰能抵擋亞衲人呢?』 3但今天你們要知道,你們的上帝耶和華要走在你們前面,像烈火一樣吞噬他們。祂要制伏他們,使你們迅速趕走他們,毀滅他們,正如祂對你們的應許。

4「你們的上帝耶和華趕走他們以後,你們不要以為耶和華帶領你們佔領那片土地是因為你們公義,其實是因為那裡的民族邪惡,耶和華才將他們從你們面前趕走。 5你們能佔領他們的土地並非因為你們公義、行為正直。你們的上帝耶和華從你們面前趕走那些民族,是因為他們邪惡,也是為了實現祂給你們祖先亞伯拉罕以撒雅各的誓言。 6你們要知道,耶和華賜給你們那佳美之地不是因為你們有好品德。其實你們是頑固不化的人。

7「要牢記你們在曠野怎樣觸怒你們的上帝耶和華。從你們離開埃及那天到現在,你們屢屢背叛耶和華。 8何烈山,你們觸怒了耶和華,以致祂要毀滅你們。 9那時,我上山去接受耶和華與你們立約的石版,在山上待了四十晝夜,不吃也不喝。 10耶和華把兩塊立約的石版交給我,上面刻著那天你們聚會時祂在山上的火焰中對你們說的話,是祂用手指刻上去的。 11四十晝夜後,耶和華把那兩塊刻著約的石版交給我, 12對我說,『快下山吧,你從埃及領出來的百姓已經敗壞了。他們這麼快就偏離了我吩咐他們走的道,為自己鑄造了神像。』

13「耶和華又對我說,『我已看出,這是頑固不化的百姓。 14不要攔我,我要毀滅他們,從世上抹去他們的名字。我要使你的子孫成為一個比他們更強大的民族。』 15我雙手拿著那兩塊石版,轉身從烈火熊熊的山上下來, 16看見你們為自己鑄造了牛犢像,得罪了你們的上帝耶和華,這麼快就偏離了耶和華吩咐你們走的道, 17就當著你們的面摔碎了那兩塊石版。

18「我又俯伏在耶和華面前,四十晝夜不吃不喝,因為你們犯了大罪,做耶和華憎惡的事,惹祂發怒。 19耶和華向你們發烈怒,要毀滅你們,我非常懼怕。但耶和華再次垂聽了我的祈求。 20耶和華對亞倫非常憤怒,以致要殺掉他,於是我也為他祈求。 21我焚燒了你們鑄造的罪惡之物——牛犢像,把它磨成細粉,撒在從山上流下來的溪水中。

22「你們在他備拉瑪撒基博羅·哈他瓦三番四次地觸怒耶和華。 23你們的上帝耶和華吩咐你們離開加低斯·巴尼亞,去佔領祂賜給你們的土地,你們卻背叛祂,不信靠祂,也不聽從祂。 24自從我認識你們以來,你們就不斷地背叛耶和華。

25「因為耶和華說要毀滅你們,我就俯伏在耶和華面前四十晝夜, 26向祂祈求說,『主耶和華啊,求你不要毀滅你的子民!他們是你的產業,是你用大能的手從埃及拯救出來的。 27求你看在你僕人亞伯拉罕以撒雅各的份上,不要計較這個民族的頑固和罪惡, 28免得你帶領我們離開之地的人說,你不能把他們領到你應許給他們的地方,你憎惡他們,所以把他們帶到曠野殺了。 29他們畢竟是你的子民,你的產業,是你伸出大能的臂膀從埃及帶出來的。』