Ekyamateeka Olwokubiri 30 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 30:1-20

Obwesigwa bwa Mukama Katonda Obutajjulukuka

130:1 a nny 15, 19; Ma 11:26 b Lv 26:40-45; Ma 28:64; 29:28; 1Bk 8:47Emikisa n’ebikolimo ebyo byonna bye nkutegeezezza, bwe binaakutuukangako n’ojjukiranga ng’oli eyo mu nsi ezo zonna Mukama Katonda wo gy’anaabanga akusaasaanyizza, 230:2 Ma 4:30; Nek 1:9n’okyuka n’odda eri Mukama Katonda wo, n’omugonderanga, n’abaana bo bonna, n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, nga bwe nkulagira leero, 330:3 a Zab 126:4 b Zab 147:2; Yer 32:37; Ez 34:13 c Yer 29:14kale Mukama Katonda wo anaakusaasiranga n’akuzza mu mbeera yo ennungi eneekweyagazanga, ng’akuwumbyewumbye okukuggya eyo gy’anaabanga akusaasaanyirizza. 430:4 Nek 1:8-9; Is 43:6Newaakubadde onoobanga owaŋŋangusiriddwa mu nsi esinga okubeera ey’ewala ennyo wansi w’eggulu, Mukama Katonda wo anaakukuŋŋaanyangayo, n’akuggyayo n’akukomyawo. 530:5 Yer 29:14Mukama Katonda wo anaakukomyangawo mu nsi bajjajjaabo gye baafuna, naawe onoogifunanga. Alikugaggawaza era n’akwaza nnyo okukira bajjajjaabo. 630:6 Ma 10:16; Yer 32:39Mukama Katonda wo alikomola omutima gwo, n’omutima gwa bazzukulu bo, bw’otyo oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, olyoke obeerenga omulamu. 730:7 Ma 7:15Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo ne ku abo abanaakuyigganyanga. 8Bw’otyo n’oddamu okugonderanga Mukama Katonda ng’okwata amateeka ge, ge nkulagira leero. 930:9 Ma 28:11; Yer 31:28; 32:41Bw’atyo Mukama Katonda wo alikugaggawaza mu buli kintu kyonna ky’onookolanga, mu bibala eby’omubiri gwo, ne mu bibala eby’ebisolo byo, ne mu bibala eby’ettaka lyo. Mukama alisanyuka nnyo okukugaggawazanga n’obeeranga bulungi, nga bwe kyamusanyusanga okugaggawazanga bajjajjaabo, 1030:10 Ma 4:29ng’ogondeddenga Mukama Katonda wo, n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye ebiwandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka kino, n’odda eri Mukama Katonda wo n’omukyukiranga n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna.

Okweronderawo ku Bulamu n’Okufa

1130:11 Is 45:19, 23Etteeka lye nkulagira leero terisaana kukukaluubirira, kubanga terikuli wala nnyo. 1230:12 Bar 10:6*Teriri mu ggulu, n’okugamba ne kikugambisa nti, “Ani anaatulinnyirayo mu ggulu n’atulireeterayo tulyoke tuliwulire tuligonderenga?” 13So teriri mitala wa nnyanja, olyoke ogambe nti, “Ani anaatusomokera ennyanja, alituleetere tuwulire bye ligamba, tuligondere?” 14Nedda, ekigambo kiri kumpi ddala ne w’oli, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo, olyoke okigondere. 1530:15 Ma 11:26Kale laba, olwa leero ntadde mu maaso go obulamu n’okufa. 16Kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, awamu n’okukwatanga amateeka ge n’okugobereranga ebiragiro bye byonna. Bw’onookolanga bw’otyo ojjanga kuba mulamu era oyale, ne Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’oyingira okugifuna.

17Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n’otowulira, era bw’onoosendebwasendebwanga okusinzanga bakatonda abalala n’okubaweerezanga, 1830:18 Ma 8:19mbalangirira leero nti, Mugenda kuzikirizibwa; era temuliwangaala mu nsi gy’ogenda okusomokera omugga Yoludaani okugiyingira okugifuna.

1930:19 a Ma 4:26 b nny 1Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu n’ensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu n’okufa; n’emikisa n’ebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe n’ezzadde lyo: 2030:20 a Ma 6:5; 10:20 b Zab 27:1; Yk 11:25ng’oyagalanga Mukama Katonda wo, ng’owuliranga eddoboozi lye, era nga weekwatira ddala ku ye. Kubanga Mukama bwe bulamu bwo n’okuwangaala; alyoke akuwenga emyaka mingi mu nsi Mukama gye yalayirira okugiwa bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo.