Ekyamateeka Olwokubiri 10 – LCB & KJV

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 10:1-22

Ebipande eby’Amayinja Ebyokubiri Okwawandiikwa Amateeka

110:1 Kuv 25:10; 34:1-2Mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tema mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja ebifaanana nga biri ebyasooka, era obajje n’Essanduuko ey’omuti, olyoke oyambuke gye ndi ku lusozi. 210:2 Kuv 25:16, 21Nzija kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka, bye wayasa; olyoke obiteeke mu Ssanduuko.”

310:3 a Kuv 25:5, 10; 37:1-9 b Kuv 34:4Bwe ntyo ne mbajja Essanduuko mu muti ogw’akasiya, ne ntema ne mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja nga bifaanana nga biri ebyasooka, ne ndyoka nyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande byombi mu ngalo zange. 410:4 Kuv 20:1Mukama Katonda n’awandiika ku bipande ebyo ebigambo bye yali awandiise ku bipande biri ebyasooka, ge Mateeka Ekkumi ge yali abalangiridde ku lusozi ng’ali wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. Mukama Katonda n’abinkwasa. 510:5 a Kuv 34:29 b Kuv 40:20 c 1Bk 8:9Bwe ntyo ne nkyusa obuwufu ne nzikirira okuva ku lusozi, ebipande ne mbiteeka mu Ssanduuko gye nabajja, nga Mukama Katonda bwe yandagira, ne kaakano mwe biri.

610:6 a Kbl 33:30-31, 38 b Kbl 20:25-28Abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Beeru Beneyaakani ne batuuka e Mosera. Awo Alooni we yafiira era we yaziikibwa. Mutabani we Eriyazaali n’amusikira n’atandika okukola emirimu gya Alooni egy’Obwakabona. 710:7 Kbl 33:32-34Bwe baava awo ne batambula okutuuka e Gudugoda; bwe baava e Gudugoda ne batuuka e Yotubasa, nga mu nsi eyo mulimu emigga egyali gikulukuta amazzi. 810:8 a Kbl 3:6 b Ma 18:5 c Ma 21:5Mu kiseera ekyo Mukama n’ayawula ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso ga Mukama Katonda, n’okwatulanga emikisa gye mu linnya lye, nga bwe bakyakola n’okutuusa leero. 910:9 Kbl 18:20; Ez 44:28Noolwekyo Abaleevi tebaafuna mugabo wadde ekitundu eky’obusika mu nsi ensuubize nga baganda baabwe ab’ebika ebirala bwe baafuna; kubanga Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wo bwe yabagamba.

1010:10 Kuv 33:17; 34:28Nabeerayo ku lusozi ne mmalayo ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro, ng’omulundi guli ogwasooka. Ne ku mulundi guno Mukama yampuliriza. Mukama Katonda yali tayagala kukuzikiriza. 11Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda okulembere abantu, bakwate olugendo lwabwe, bayingire mu nsi gye nalayirira bajjajjaabwe okugibawa, bagyefunire.”

Ebikulu Katonda bye Yeetaaga

1210:12 a Mi 6:8 b Ma 5:33; 6:13 c Ma 6:5Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna, 13n’okugonderanga amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olw’obulungi bwo?

1410:14 a 1Bk 8:27 b Kuv 19:5Laba, Mukama Katonda wo ye nannyini ggulu, era n’eggulu erisinga okuba waggulu ennyo nalyo lirye, n’ensi ne byonna ebigirimu. 1510:15 Ma 4:37Kyokka era Mukama yakwana bajjajjaabo n’abaagala nnyo, ne yeerondera mmwe, bazzukulu baabwe, okubeera ku ntikko y’amawanga gonna nga bwe kiri leero. 1610:16 a Yer 4:4 b Ma 9:6Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera n’amawagali. 1710:17 a Yos 22:22; Dan 2:47 b Bik 10:34; Bar 2:11Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi. 1810:18 Zab 68:5Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala. 1910:19 Lv 19:34Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi ey’e Misiri. 2010:20 a Mat 4:10 b Ma 11:22 c Zab 63:11Otyanga Mukama Katonda wo era muweerezenga. Munywererengako, era mu linnya lye mw’onoolayiriranga. 2110:21 a Kuv 15:2; Yer 17:14 b Zab 106:21-22Oyo, lye ttendo lyo era ye Katonda wo, eyakukolera ebyamagero ebyo byonna ebikulu ggwe kennyini bye weerabirako n’amaaso go. 2210:22 a Lub 46:26-27 b Lub 15:5; Ma 1:10Bajjajjaabo bwe baaserengeta e Misiri, bonna awamu baali bawera abantu nsanvu; kaakano Mukama Katonda wo abafudde bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.

King James Version

Deuteronomy 10:1-22

1At that time the LORD said unto me, Hew thee two tables of stone like unto the first, and come up unto me into the mount, and make thee an ark of wood. 2And I will write on the tables the words that were in the first tables which thou brakest, and thou shalt put them in the ark. 3And I made an ark of shittim wood, and hewed two tables of stone like unto the first, and went up into the mount, having the two tables in mine hand. 4And he wrote on the tables, according to the first writing, the ten commandments, which the LORD spake unto you in the mount out of the midst of the fire in the day of the assembly: and the LORD gave them unto me.10.4 commandments: Heb. words 5And I turned myself and came down from the mount, and put the tables in the ark which I had made; and there they be, as the LORD commanded me.

6¶ And the children of Israel took their journey from Beeroth of the children of Jaakan to Mosera: there Aaron died, and there he was buried; and Eleazar his son ministered in the priest’s office in his stead. 7From thence they journeyed unto Gudgodah; and from Gudgodah to Jotbath, a land of rivers of waters.

8¶ At that time the LORD separated the tribe of Levi, to bear the ark of the covenant of the LORD, to stand before the LORD to minister unto him, and to bless in his name, unto this day. 9Wherefore Levi hath no part nor inheritance with his brethren; the LORD is his inheritance, according as the LORD thy God promised him. 10And I stayed in the mount, according to the first time, forty days and forty nights; and the LORD hearkened unto me at that time also, and the LORD would not destroy thee.10.10 first…: or, former days 11And the LORD said unto me, Arise, take thy journey before the people, that they may go in and possess the land, which I sware unto their fathers to give unto them.10.11 take…: Heb. go in journey

12¶ And now, Israel, what doth the LORD thy God require of thee, but to fear the LORD thy God, to walk in all his ways, and to love him, and to serve the LORD thy God with all thy heart and with all thy soul, 13To keep the commandments of the LORD, and his statutes, which I command thee this day for thy good? 14Behold, the heaven and the heaven of heavens is the LORD’s thy God, the earth also, with all that therein is. 15Only the LORD had a delight in thy fathers to love them, and he chose their seed after them, even you above all people, as it is this day. 16Circumcise therefore the foreskin of your heart, and be no more stiffnecked. 17For the LORD your God is God of gods, and Lord of lords, a great God, a mighty, and a terrible, which regardeth not persons, nor taketh reward: 18He doth execute the judgment of the fatherless and widow, and loveth the stranger, in giving him food and raiment. 19Love ye therefore the stranger: for ye were strangers in the land of Egypt. 20Thou shalt fear the LORD thy God; him shalt thou serve, and to him shalt thou cleave, and swear by his name. 21He is thy praise, and he is thy God, that hath done for thee these great and terrible things, which thine eyes have seen. 22Thy fathers went down into Egypt with threescore and ten persons; and now the LORD thy God hath made thee as the stars of heaven for multitude.