Danyeri 12 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 12:1-13

Ebiseera eby’Enkomerero

112:1 a Dan 10:13 b Dan 9:12; Mat 24:21; Mak 13:19; Kub 16:18 c Kuv 32:32; Zab 56:8 d Yer 30:7“Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera eky’okubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kw’amawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa. 212:2 Is 26:19; Mat 25:46; Yk 5:28-29Bangi ku beebase mu nfuufu ey’ensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n’abalala eri ensonyi n’okuswazibwa okutaggwaawo. 312:3 a Dan 11:33 b Mat 13:43; Yk 5:35 c 1Ko 15:42Abo abalina okutegeera balyakaayakana ng’okumasamasa kw’omu bbanga; n’abo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe. 412:4 a Is 8:16 b nny 9, 13; Kub 22:10Naye ggwe Danyeri, bikka era osse envumbo ku kitabo okutuusa ekiseera eky’enkomerero lwe kirituuka. Bangi balitambula eno n’eri, era n’okumanya n’amagezi kulyeyongera.”

512:5 Dan 10:4Nze Danyeri ne ndyoka ndaba, laba babiri abalala nga bayimiridde mu maaso gange, omu ku lubalama lw’omugga olumu, n’omulala ku lubalama lw’omugga olulwolekedde. 612:6 a Ez 9:2 b Dan 8:13Omu ku bo n’agamba omusajja, eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’ayambadde linena nti, “Kiritwala bbanga ki ebyewuunyisa ebyo byonna okutuukirira?”

712:7 a Kub 10:5-6 b Dan 7:25 c Dan 8:24 d Luk 21:24; Kub 10:7Omusajja eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’ayambadde linena, n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo n’omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, ne mmuwulira ng’alayira eri oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe, ng’ayogera nti, “Waliyitawo ebbanga lya myaka esatu n’ekitundu. Era amaanyi g’abantu abatukuvu bwe galimalibwawo, ebintu ebyo byonna ne biryoka bituukirira.”

8Ne mpulira naye ne sitegeera. Kyennava mbuuza nti, “Mukama wange, biki ebiriva mu ebyo byonna?”

912:9 nny 4N’anziramu nti, “Weetambulire makubo go, Danyeri, kubanga ebigambo bibikiddwako era n’ekitabo kissibbwako envumbo okutuusa ekiseera eky’enkomerero. 1012:10 a Dan 11:35 b Is 32:7; Kub 22:11 c Kos 14:9Bangi balitukuzibwa ne balongoosebwa obutabaako na bbala, naye abatali batuukirivu balyeyongera okukola ebibi. Ku batali batuukirivu tekuliba ategeera, naye ab’amagezi baliba n’okutegeera.

1112:11 Dan 8:11; 9:27; Mak 13:14*“N’okuva mu kiseera ekya ssaddaaka eya buli lunaku ng’eggyiddwawo n’eby’emizizo ebizikiriza nga biteekeddwawo, waliyitawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda. 1212:12 a Is 30:18 b Dan 8:14Alina omukisa oyo alirindirira n’atuuka ku nkomerero ey’ennaku olukumi mu bisatu mu asatu mu ttaano.

1312:13 a Is 57:2 b Zab 16:5“Naye ggwe tambula makubo go okutuusa enkomerero lwe lituuka. Oliwummula, ne ku nkomerero oligolokoka n’oweebwa omugabo gwo gwe wategekerwa.”