Balam 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Balam 14:1-20

Samusooni Awasa

114:1 Lub 38:12Awo Samusooni n’aserengeta e Timuna14:1 Timuna kyali kibuga mu Ddaani (Yos 19:43). Abafirisuuti baateranga okukibeeramu ng’Abayisirayiri tebannakiwambira ddala n’alaba omukazi mu bawala ab’Abafirisuuti. 214:2 Lub 21:21; 34:4N’addayo eka, n’ategeeza kitaawe ne nnyina ng’agamba nti, “Nalabye omukazi ku bawala ab’Abafirisuuti mu Timuna. Kale mumumpasize kaakano.”

314:3 a Lub 24:4 b Ma 7:3 c Kuv 34:16Awo kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti, “Tewali mukazi n’omu mu baganda bo newaakubadde mu Bantu bange gw’oyinza kuwasa, olyoke ogende ofune omukazi okuva mu Bafirisuuti abatali bakomole?”

Naye Samusooni n’addamu kitaawe nti, “Mpasiza oyo kubanga ye gwe nsiimye.” 414:4 a Yos 11:20 b Bal 13:1Kitaawe ne nnyina tebaamanya ekyo nga kyava eri Mukama Katonda, kubanga Mukama yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Mu biro ebyo Abafirisuuti be baafuganga Isirayiri. 5Awo Samusooni ne kitaawe ne nnyina ne bagenda e Timuna. Bwe baali basemberedde ennimiro z’emizabbibu egy’omu Timuna, empologoma ento n’ewuluguma nga bw’emulumba. 614:6 Bal 3:10; 13:25Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’ayuzaayuza empologoma n’emikono gye ng’ayuzaayuza akabuzi akato, naye n’atabaako ky’ategeeza kitaawe newaakubadde nnyina. 7Samusooni n’aserengeta n’agenda n’anyumya n’omukazi era n’amusiima.

8Ebbanga bwe lyayitawo, n’addayo okumuwasa, naye aba ali ku lugendo, n’akyama okulaba omulambo gw’empologoma, era laba, nga mu mulambo gw’empologoma mulimu enjuki n’omubisi gw’enjuki. 9N’atoola ku mubisi n’engalo ze, n’atambula n’agenda. Bwe yasiŋŋaana kitaawe ne nnyina nabo n’abawaako ne balya, wabula n’atabagamba nti omubisi ogwo gwe balya aguggye mu mulambo gw’empologoma.

10Awo n’aserengeta ne kitaawe eri omukazi, era Samusooni n’akolerayo embaga ng’empisa y’abawasa bwe yali. 11Abafirisuuti bwe bajja okulaba Samusooni, ne bamuwa bannaabwe amakumi asatu okumuwerekerako.

1214:12 a 1Bk 10:1; Ez 17:2 b Lub 29:27 c Lub 45:22; 2Bk 5:5Awo Samusooni n’abagamba nti, “Kaakano ka mbakokkolere ekikokko. Bwe mulikivvuunula ennaku omusanvu ez’embaga nga tezinnaggwaako, ndibawa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu. 13Naye bwe kinaabalema okuddamu, muteekwa okumpa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu.” Ne bamugamba nti, “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”

14N’abagamba nti,

“Mu muli mwavaamu ekyokulya

Mu w’amaanyi mwavaamu ekiwoomerera.”

Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvvuunula ekikokko.

1514:15 a Bal 16:5; Mub 7:26 b Bal 15:6Awo ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko. Bwe kitaabe bwe kityo tujja kukwokya omuliro ggwe n’ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutunyaga, si bwe kiri?” 1614:16 Bal 16:15Mukazi wa Samusooni n’agenda gy’ali ng’akaaba amaziga, ng’agamba nti, “Ddala ddala onkyawa so tonjagala. Wakokkolera abasajja b’omu bantu bange ekikokko, naye n’otakivvuunula.”

N’amuddamu nti, “Laba sinnakivuunulira kitange newaakubadde mmange, noolwekyo lwaki nkikuvuunulira?” 1714:17 Es 1:5N’amukaabirira okumala ebbanga eryo lyonna ery’embaga, olwo n’alyoka akimuvuunulira, kubanga yamwetayirira nnyo. N’oluvannyuma omukazi n’annyonnyola abasajja b’omu bantu be ekikokko. 1814:18 nny 14Awo ku lunaku olw’omusanvu enjuba nga tennagwa abasajja ab’omu kibuga ne bagamba Samusooni nti,

“Kiki ekisinga omubisi gw’enjuki okuwoomerera?

Kiki ekisinga empologoma amaanyi?”

N’abaddamu nti,

“Singa temwalimya nnyana yange,

temwandivuunudde kikokko kyange.”

1914:19 a Kbl 11:25; Bal 3:10; 6:34; 11:29; 13:25; 15:14; 1Sa 11:6; 16:13; 1Bk 18:46; 2By 24:20; Is 11:2 b 1Sa 11:6Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’aserengeta e Asukulooni14:19 Asukulooni kyali kibuga ky’Abafirisuuti. n’atta abasajja amakumi asatu, n’abambulamu ebyambalo byabwe, engoye zaabwe n’aziwa abavvuunula ekikokko. N’anyiiga nnyo, n’ayambuka n’addayo ewa kitaawe. 2014:20 Bal 15:2, 6; Yk 3:29Mukazi wa Samusooni ne bamuwa mukwano gwe, eyabeeranga ne Samusooni.