Abaruumi 6 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 6:1-23

Okuba Abalamu mu Kristo

16:1 nny 15; Bar 3:5, 8Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? 26:2 Bak 3:3, 5; 1Pe 2:24Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? 36:3 Mat 28:19Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? 46:4 a Bak 2:12 b Bar 7:6; Bag 6:15; Bef 4:22-24; Bak 3:10Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.

56:5 2Ko 4:10; Baf 3:10, 11Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. 66:6 a Bef 4:22; Bak 3:9 b Bag 2:20; Bak 2:12, 20 c Bar 7:24Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. 7Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.

8Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye 96:9 a Bik 2:24 b Kub 1:18Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. 106:10 nny 2Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.

116:11 nny 2Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. 12Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. 136:13 a nny 16, 19; Bar 7:5 b Bar 12:1; 1Pe 2:24Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda. 146:14 a Bag 5:18 b Bar 3:24Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.

Baddu ba butuukirivu

15Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe. 166:16 a Yk 8:34; 2Pe 2:19 b nny 23Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu. 176:17 a Bar 1:8; 2Ko 2:14 b 2Ti 1:13Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. 186:18 nny 7, 22; Bar 8:2Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda.

196:19 a Bar 3:5 b nny 13Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’ebirowoozo eby’obugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’obutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu. 206:20 nny 16Bwe mwali abaddu b’ekibi, temwafugibwanga butuukirivu. 216:21 nny 23Kale mwagasibwa ki mu kukola ebintu ebyo, ebibaleetera ensonyi? Enkomerero yaabyo kufa. 226:22 a nny 18 b 1Ko 7:22; 1Pe 2:16Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. 236:23 a Lub 2:17; Bar 5:12; Bag 6:7, 8; Yak 1:15 b Mat 25:46Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

羅馬書 6:1-23

與基督同死同活

1那麼,我們該怎麼說呢?我們可以繼續犯罪,使恩典顯得更豐富嗎? 2絕不可以!我們既然向罪死了,豈可繼續活在罪中? 3難道你們不知道,我們受洗歸屬基督耶穌是和祂一同死嗎? 4我們藉著洗禮和祂一同死了,埋葬了,這樣我們的一舉一動可以有新生命的樣式,正如基督藉著父的榮耀從死裡復活一樣。

5如果我們和基督一同死了,也必和祂一同復活。 6我們知道,我們的舊人已經和祂一同釘在十字架上,使辖制我們身體的罪失去力量,使我們不再做罪的奴隸。 7因為人一旦死了,便脫離了罪。

8如果我們與基督同死,相信也必與祂同活。 9因為我們知道,基督既然從死裡復活了,就不會再死,死亡也不能再控制祂。 10祂死,是向罪死,只死一次;祂活,卻是向上帝永遠活著。 11這樣,你們應當看自己是向罪死了,但向上帝則看自己是活在基督耶穌裡。

12所以,不要讓罪辖制你們必死的身體,使你們順從身體的私慾; 13也不要將你們的身體獻給罪作不義的工具,而是要像一個從死裡復活的人將自己奉獻給上帝,把身體獻給上帝作義的工具。 14罪不能再主宰你們,因為你們已經不在律法之下,而是在恩典之中。

做義的奴僕

15那麼,我們在恩典之中,不在律法之下,就可以任意犯罪嗎?絕不可以! 16你們難道不明白嗎?你們獻身給誰、服從誰,就是誰的奴隸。做罪的奴隸,結局是死亡;作上帝的奴僕,就被稱為義人。 17感謝上帝!你們從前雖然做過罪的奴隸,現在卻衷心服從了所傳給你們的教導, 18從罪中得到釋放,成為義的奴僕。

19因為你們有人性的軟弱,我就從人的立場向你們解釋。以前你們將身體獻給骯髒不法的事,任其奴役,助長不法。現在你們要將身體奉獻給義,為義效勞,成為聖潔的人。 20你們做罪的奴隸時,不受義的約束, 21做了現在想起來也覺得羞恥的事,得到了什麼益處呢?那些事只能導致死亡! 22但現在你們已從罪中得到釋放,作了上帝的奴僕,這樣會使你們聖潔,最終得到永生。 23因為罪的代價就是死亡,而上帝藉著主基督耶穌賜下的禮物則是永生。