Abaruumi 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 4:1-25

Ibulayimu Yaweebwa Obutuukirivu lwa Kukkiriza

1Kale kiki kye tunaayogera ku jjajjaffe Ibulayimu ku bikwata ku by’omubiri? 24:2 1Ko 1:31Singa Ibulayimu yaweebwa obutuukirivu lwa bikolwa, yandyenyumirizza, naye si eri Katonda. 34:3 nny 5, 9, 22; Lub 15:6; Bag 3:6; Yak 2:23Ebyawandiikibwa bitugamba bitya? Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.

44:4 Bar 11:6Omuntu bw’akola omulimu, asasulwa empeera ye. Empeera gy’aweebwa, teba kirabo. 5Katonda tayinza kukusembeza olw’ebikolwa byo. Katonda asembeza aboonoonyi olw’okukkiriza kwe balina mu ye. 6Kabaka Dawudi naye yayogera kye kimu ku muntu ono Katonda gw’awa obutuukirivu obutavudde mu bikolwa bye ng’agamba nti:

7“Baweereddwa omukisa,

abasonyiyiddwa ebyonoono byabwe,

ne baggyibwako ebibi byabwe.

84:8 Zab 32:1, 2; 2Ko 5:19Aweereddwa omukisa omuntu,

Mukama gw’atalibalira kibi.”

94:9 a Bar 3:30 b nny 3Kale omukisa guno, gw’abakomole bokka oba n’abatali bakomole? Ebyawandiikibwa bitugamba nti okukkiriza kwa Ibulayimu kwamubalirwa okuba obutuukirivu. 10Kale, kwamubalirwa kutya? Ng’akomolebbwa oba nga tannakomolebwa? Nedda si ng’akomolebbwa naye nga tannakomolebwa. 114:11 a Lub 17:10, 11 b nny 16, 17; Luk 19:9 c Bar 3:22Akabonero ke yafuna ak’okukomolebwa, ye nvumbo ku butuukirivu olw’okukkiriza kwe, nga tannakomolebwa, alyoke abeere jjajja w’abo bonna abakkiriza nga si bakomole, nabo balyoke babalirwe obutuukirivu. 12Ate era ye jjajja w’abantu bonna, abakomole, era abatambulira mu kkubo ery’okukkiriza, jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.

134:13 a Bag 3:16, 29 b Lub 17:4-6Ibulayimu n’ezzadde lye tebaaweebwa kisuubizo eky’okulya ensi yonna, ng’omugabo gwe, lwa kukwata mateeka. Katonda, ensi yagimusuubiza lwa butuukirivu obwamuweebwa olw’okukkiriza. 144:14 Bag 3:18Kale obanga baweebwa obusika lw’amateeka, okukkiriza kuba tekugasa, era nga n’ekisuubizo tekirina makulu. 154:15 a Bar 7:7-25 b Bar 3:20; 7:7Katonda anyiiga Amateeka ge bwe gatagonderwa. Naye bwe wataba mateeka, tewaba mateeka ga kujeemera.

164:16 a Bar 3:24 b Bar 15:8Noolwekyo ekisuubizo kijja lwa kukkiriza, kiryoke kiweebwe lwa kisa, eri ezzadde lyonna, so si ezzadde erigondera amateeka lyokka naye n’eri ezzadde erya Ibulayimu olw’okukkiriza; era oyo ye jjajjaffe ffenna. 174:17 a Lub 17:5 b Yk 5:21 c Is 48:13 d 1Ko 1:28Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w’amawanga amangi.” Ye jjajjaffe mu maaso g’oyo gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alaba ebitaliiwo ng’ebiriwo, era atonda ebintu ebiggya.

184:18 a nny 17 b Lub 15:5Katonda yasuubiza Ibulayimu abazzukulu bangi. Ne bwe kyalabika ng’ekitasoboka, Ibulayimu yalina okukkiriza mu Katonda, n’oluvannyuma n’abeera jjajja w’amawanga mangi, okusinziira ku ekyo ekyayogerwa nti, “Ezadde lyo bwe liriba.” 194:19 a Beb 11:11, 12 b Lub 17:17 c Lub 18:11Teyatendewererwa mu kukkiriza, newaakubadde nga yali wa myaka nga kikumi, nga n’omubiri gwe munafu nnyo, ate nga ne Saala mugumba. 204:20 Mat 9:8Teyabuusabuusa kisuubizo kya Katonda mu butakkiriza, naye yaweebwa amaanyi lwa kukkiriza; n’agulumiza Katonda. 214:21 Lub 18:14Yakakasiza ddala nti Katonda kye yasuubiza asobola okukituukiriza, 224:22 nny 3era bwe kityo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu. 23Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti, “Kyamubalirwa okuba obutuukirivu;” 244:24 a Bar 15:4; 1Ko 9:10 b Bar 10:9 c Bik 2:24naye era naffe, abakkiririza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu. 254:25 Is 53:5, 6Kristo yaweebwayo okuttibwa olw’ebibi byaffe, n’azuukizibwa tulyoke tuweebwe obutuukirivu.