Abaruumi 12 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 12:1-21

Ssaddaaka Ennamu

112:1 a Bef 4:1 b Bar 6:13, 16, 19; 1Pe 2:5Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo. 212:2 a 1Pe 1:14 b 1Yk 2:15 c Bef 4:23 d Bef 5:17So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.

312:3 Bar 15:15; Bag 2:9; Bef 4:7Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza. 412:4 1Ko 12:12-14; Bef 4:16Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo. 512:5 1Ko 10:17Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo. 612:6 a 1Ko 7:7; 12:4, 8-10 b 1Pe 4:10, 11Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri, 712:7 Bef 4:11oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza; 812:8 a Bik 15:32 b 2Ko 9:5-13oba omulala okugumya banne mu kubazzaamu amaanyi, oba omulala mu kugaba, oba omulala, okufuga n’obunyiikivu, n’omulala okulaga ekisa nga musanyufu.

Okwagala

912:9 1Ti 1:5Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi, 1012:10 a Beb 13:1 b Baf 2:3nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa, 1112:11 Bik 18:25mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama, 1212:12 a Bar 5:2 b Beb 10:32, 36nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba. 1312:13 1Ti 3:2Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.

1412:14 Mat 5:44Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga. 1512:15 Yob 30:25Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba. 1612:16 a Bar 15:5 b Yer 45:5; Bar 11:25Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.

1712:17 a Nge 20:22 b 2Ko 8:21Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna. 18Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna; 19abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama. 20“Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.” 21Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.