Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Abakkolosaayi 1

Okwebaza n’okusaba

1Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, wamu ne Timoseewo owooluganda, tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo ab’e Kkolosaayi, nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.

Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu, olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri. Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ng’ebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe. Epafula muddu munnaffe omwagalwa omuweereza wa Kristo omwesigwa gye muli, eyabatuusaako Enjiri eyo, ye yatubuulira okwagala kwe mulina mu Mwoyo.

Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo. 10 Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda. 11 Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, 12 nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. 13 Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14 atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

Obulamu bwa Kristo

15 Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. 16 Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. 17 Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa. 18 Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna. 19 Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye, 20 era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.

21 Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe n’ebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ng’abakyawa Katonda. 22 Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa. 23 Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

Okufuba kwa Pawulo ku lw’Ekkanisa

24 Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa. 25 Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza w’Ekkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu. 26 Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be. 27 Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.

28 Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo. 29 Kyenva ntegana nga nfuba nga nkozesa obuyinza Katonda bw’ampa obw’amaanyi.

Habrit Hakhadasha/Haderekh

אגרת פולוס השליח אל-הקולוסי 1

1מאת פולוס, שליחו של ישוע המשיח לפי רצון אלוהים, ומאת טימותיוס אחינו.

אל כל האחים הנאמנים לישוע המשיח בעיר קולוסא.

שלום רב ושפע ברכות מאת האלוהים אבינו וישוע המשיח אדוננו.

אנחנו תמיד מתפללים בעדכם ומודים לאלוהים, אבי אדוננו ישוע המשיח, כי שמענו על אמונתכם החזקה במשיח ועל אהבתכם הנפלאה לכל המאמינים. אנחנו יודעים כי אמונתכם החזקה ואהבתכם הגדולה נובעות מהעובדה שאתם מבינים את מהות התקווה השמורה לכם בשמים, אותה קיבלתם כאשר שמעתם לראשונה את בשורת האמת על המשיח. אותה בשורה נשמעת בכל העולם, ובכל מקום היא משנה את חיי שומעיה, כשם שחייכם השתנו מהיום שבו שמעתם ותפשתם מה רבה אהבת אלוהים.

אפפרס האהוב, חברי לעבודה, סיפר לכם לראשונה את הבשורה. הוא משרת נאמן של המשיח, ומלמד אתכם ועוזר לכם במקומנו. הוא סיפר לנו גם על אהבתכם הנפלאה איש לרעהו, שהיא מתנה מרוח הקודש. לכן לא חדלנו להתפלל בעדכם מאז היום הראשון ששמענו עליכם, וביקשנו מאלוהים שיעזור לכם להבין את רצונו, ושיעניק לכם חכמה להבין דברים רוחניים. 10 ביקשנו גם שאורח-חייכם ימצא-חן תמיד בעיני האדון ויביא לו כבוד, שתמיד תעשו את הטוב ותעזרו לזולת, ושעל-ידי כך תלמדו להכיר את אלוהים טוב יותר.

11 אנחנו מתפללים שאלוהים יחזק ויאמץ אתכם בכוחו וגבורתו, כדי שתוכלו לשאת כל צרה ובעיה בסבלנות ובשמחה, 12 וכדי שתודו לאבינו שבשמים, אשר העניק לנו חלק בכל הברכות הנפלאות שהן מנת חלקם של בני-אלוהים החיים בממלכת האור. 13 אבינו הצילנו מהחשכה והקדרות של ממלכת השטן, והביא אותנו לממלכתו של בנו היקר והאהוב, 14 אשר קנה את חירותנו בדמו וסלח לכל חטאינו.

15 המשיח בן-האלוהים הוא התגלמותו של האלוהים הבלתי-נראה. הוא קדם לכל בריאה, 16 כי הוא למעשה ברא את הכול בשמים ובארץ, את הנראה והבלתי-נראה. מלכים, שליטים, ממלכות ורשויות – הכול נברא על-ידי המשיח ולמענו. 17 הוא היה לפני הכול, והוא זה שמלכד, מאחד ומפעיל את היקום! 18 המשיח הוא ראש הגוף המורכב מקהילת המאמינים שאותה ברא, והוא הראשון שקם מן המתים כדי שיהיה הראשון בכל דבר. 19 אלוהים האב בחר לקבוע בו את מכלול התכונות האלוהיות.

20 בזכות דם המשיח שנצלב ריצה לעצמו אלוהים את כל אשר בשמים ובארץ, 21 כולל אתכם! גם אתם הייתם פעם רחוקים מאוד מאלוהים: הייתם אויביו במחשבותיכם ומעשיכם הרעים, אך הוא סלח לכם וקרב אתכם אליו.

22 על-ידי מותו על הצלב השכין המשיח שלום ביניכם לבין אלוהים, והביאכם לפניו נקיים מכל חטא ואשמה. 23 כל זאת בתנאי שתאמינו בדבר-אלוהים בכל לבכם, ושלא תחדלו להאמין בתקוות הבשורה אשר שמעתם ואשר הושמעה בכל העולם, ואשר לי, פולוס, יש את הכבוד והזכות לשרתה ולבשרה לאחרים.

24 אני אמנם סובל כרגע למענכם, אך איני מתלונן, אלא להפך – אני שמח. כי בגופי אני עוזר להשלים את חלקנו החסר בסבלו של המשיח למען גופו, שהיא הקהילה.

25 אלוהים מינה אותי לשרת את הקהילה, לעזור לה בכל הדרוש ולספר לבני-האדם את סודו. אלוהים שמר סוד זה במשך דורות רבים, אך עתה החליט לגלותו לאוהבים אותו ולחיים למענו. גם לגויים יש חלק בעושר ובכבוד הטמונים בסוד הנפלא הזה! היודעים אתם מהו הסוד? המשיח החי בלבכם! ופירושו של דבר שתיקחו חלק בכבודו הנצחי של אלוהים.

28 אנו מספרים על אודות המשיח לכל מי שמוכן להקשיב לנו; אנו מזהירים ומלמדים כמיטב ידיעתנו, כי ברצוננו להציג כל אדם לפני המשיח נקי מחטא ואשמה, בזכות קורבנו של ישוע המשיח. 29 זוהי עבודתי, ואני מסוגל לבצעה אך ורק בעזרת כוחו של המשיח שפועל בי בגבורה.