Abafiripi 4 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Abafiripi 4:1-23

Okuyigiriza

14:1 Baf 1:8Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.

24:2 Baf 2:2Ewudiya ne Sintuke mbeegayirira mukkiriziganye mu Mukama waffe. 3Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.

44:4 Bar 12:12; Baf 3:1Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga. 54:5 Beb 10:37; Yak 5:8, 9Era mubeere n’okuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi. 64:6 a Mat 6:25-34 b Bef 6:18Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. 74:7 Is 26:3; Yk 14:27; Bak 3:15N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.

8Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako. 94:9 a Baf 3:17 b Bar 15:33Ebyo bye mwayiga, n’ebyo bye mwafuna ne muwulira, ebyo mubirowoozengako.

Okwebaza

104:10 2Ko 11:9Nasanyuka nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw’ebbanga muzzeemu okundowoozaako buggya, kubanga mwali munzisaako nnyo omwoyo, naye temwalina mukisa ku kiraga. 114:11 1Ti 6:6, 8Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga. 124:12 a 1Ko 4:11 b 2Ko 11:9Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu. 134:13 2Ko 12:9Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

144:14 Baf 1:7Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange. 154:15 a Baf 1:5 b 2Ko 11:8, 9Mmwe, Abafiripi, mumanyi nti bwe nava e Makedoniya nga nakatandika okubuulira Enjiri, tewali Kkanisa n’emu eyampaayo akantu olw’ebyo bye yafuna okuggyako mmwe mwekka. 164:16 a Bik 17:1 b 1Bs 2:9Kubanga ddala ddala bwe nnali mu Sessaloniika mwampeereza emirundi ebiri. 174:17 1Ko 9:11, 12Soogera kino lwa kubanga njagala okufuna ekirabo, wabula kye njagala kwe kulaba ng’ekibala kyeyongera ku lwammwe. 184:18 a Baf 2:25 b 2Ko 2:14Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, kino kisinzidde mu ebyo bye mwampeereza, Epafuladito bye yandeetera. Biri ng’akaloosa akalungi ennyo aka ssaddaaka esanyusa era esiimibwa Katonda. 194:19 a Zab 23:1; 2Ko 9:8 b Bar 2:4Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.

204:20 a Bag 1:4 b Bar 11:36Katonda Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

214:21 Bag 1:2Munnamusize buli mutukuvu mu Kristo Yesu; era n’abooluganda abali wano nange babalamusizza.

224:22 Bik 9:13Era n’abatukuvu bonna babatumidde, naye okusingira ddala abo abali mu lubiri lwa Kayisaali.

23Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

Amiina.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

腓立比書 4:1-23

保羅的勸勉

1我所親愛、所想念的弟兄姊妹,你們就是我的喜樂,我的冠冕。我親愛的弟兄姊妹,你們要靠主堅定不移。 2我懇求友阿蝶循都姬要在主裡同心。 3忠心的同工啊,請你幫助她們二人,因為她們曾與我、革利免和其他同工一起為福音辛勞,這些人的名字都記錄在生命冊上了。

4你們要靠主常常喜樂!我再說,你們要喜樂! 5要讓眾人都知道你們是謙和寬容的人。主快來了。 6你們應該一無掛慮,凡事要藉著禱告和祈求,以感恩的心將你們的需要告訴上帝。 7這樣,上帝那超越人所能理解的平安必在基督耶穌裡保守你們的心思意念。

8最後,弟兄姊妹,你們要思想一切真實、可敬、公義、純潔、可愛、有好名聲、有美德和值得讚許的事情。 9你們從我身上學習、領受、看到和聽到的,都要照著去行。這樣,賜平安的上帝就必與你們同在。

致謝

10我在主裡真是非常喜樂,因為你們現在又一次關心我。其實你們向來都很關心我,只是沒有機會。 11我並非有缺乏才這樣說,因為我已經學會在任何處境中都能知足。 12我知道如何過貧窮的日子,也知道如何過富足的日子。我學到了秘訣,不論飽足或饑餓,豐裕或缺乏,在任何情況下都可以處之泰然。 13靠著賜我力量的那位,我凡事都能做。

14然而,你們與我共患難,真是太好了。 15腓立比人啊!你們也知道,在我離開馬其頓傳福音的初期,除了你們以外,沒有別的教會供應我的需要。 16即使我在帖撒羅尼迦的時候,你們也不止一次供應過我的需要。 17我不求得到你們的饋贈,只希望你們所做的會帶給你們更大的賞賜。 18我現在樣樣都有,豐富有餘。我從以巴弗提手上收到了你們送給我的禮物,已經充足了。這些饋贈是蒙上帝悅納的馨香祭物。 19我的上帝必按照祂在基督耶穌裡的榮耀,豐豐富富地賜給你們所需用的一切。

20願榮耀歸給我們的父上帝,直到永永遠遠。阿們!

問候

21請代我問候在基督耶穌裡的眾聖徒。我這裡的弟兄姊妹也問候你們。 22所有的聖徒,特別是在凱撒宮裡工作的人,都問候你們。

23願主耶穌基督的恩典與你們的靈同在!